bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 31
1 Samuel 31
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
1
21 Awo Abafilistiya ne balwanyisa Abayisirayeli, Abayisirayeli ne badduka Abafilistiya, era Abayisirayeli bangi ne battirwa ku lusozi Gilubowa.
2
Abafilistiya ne bawondera Sawulo ne batabani be, ne batta Yonataani, ne Abinadabu ne Malukisuwa batabani ba Sawulo.
3
Olutalo ne lunyigiriza nnyo Sawulo, abalasi b'obusaale ne bamusanga ne bamulasa obusaale n'afuna ebisago eby'amaanyi.
4
Sawulo n'agamba oyo eyakwatanga ebyokulwanyisa bye nti: “Ggyayo ekitala kyo onzite, abo abatali bakomole, baleme okujja ne banzita, ne banswaza.” Naye eyakwatanga ebyokulwanyisa bya Sawulo n'agaana, kubanga yatya nnyo. Sawulo kyeyava akwata ekitala kye n'akyetungako.
5
Awo eyakwatanga ebyokulwanyisa bya Sawulo bwe yalaba nga Sawulo afudde, naye ne yeetunga ku kitala kye, n'afiira wamu naye.
6
Sawulo ne batabani be abasatu, n'omuvubuka eyakwatanga ebyokulwanyisa bye, era ne basajja be bonna ne bafiira wamu ku lunaku olwo.
7
Abayisirayeli abaali emitala w'ekiwonvu, n'abo abaali emitala wa Yorudaani, bwe baalaba ng'eggye lya Yisirayeli lidduse, era nga Sawulo ne batabani be bafudde, ne baabulira ebibuga byabwe, ne badduka. Abafilistiya ne bajja ne babibeeramu.
8
Awo enkeera, Abafilistiya bwe bajja okwambula abafu, ne basanga enjole ya Sawulo, n'emirambo gya batabani be abasatu, nga gigudde ku lusozi Gilubowa.
9
Sawulo ne bamutemako omutwe era ne bamuggyako ebyokulwanyisa bye. Ne batuma ababaka wonna mu nsi y'Abafilistiya okutuusaayo amawulire ago mu masabo, omwali ebifaananyi bye basinza, era ne mu bantu.
10
Ebyokulwanyisa bya Sawulo ne babiteeka mu ssabo lya lubaale omukazi Asitarooti, ne bakomerera enjole ye ku kisenge ky'ekibuga ky'e Betisaani.
11
Abatuuze b'e Yabesigileyaadi bwe baawulira ekyo Abafilistiya kye baakola Sawulo,
12
awo abasajja abazira bonna ne basituka, ne batambula ekiro kyonna, ne bawanulayo enjole ya Sawulo n'emirambo gya batabani be ku kisenge ky'ekibuga Betisaani, ne bagireeta e Yabesi ne bagyokera eyo.
13
Ne batwala amagumba gaabwe ne bagaziika e Yabesi wansi w'omuti omunyulira, era ne basiiba okumala ennaku musanvu.
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31