bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 23
1 Samuel 23
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 24 →
1
Dawudi ne bamubuulira nti Abafilistiya balumbye ekibuga ky'e Keyila, era banyaga n'emmere eyaakakungulwa.
2
Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti: “Ŋŋende nnumbe Abafilistiya?” Mukama n'amuddamu nti: “Genda obalwanyise owonye ekibuga Keyila.”
3
Naye abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti: “Oba nga na wano mu Buyudaaya tuli mu kutya, kale kinaaba kitya bwe tunaagenda n'e Keyila okulwanyisa eggye ly'Abafilistiya?”
4
Awo Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nate, Mukama n'amugamba nti: “Situka oserengete e Keyila, kubanga Abafilistiya nja kubakuwa obawangule.”
5
Awo Dawudi ne basajja be ne bagenda e Keyila, ne balwanyisa Abafilistiya, ne babatta nnyo, ne batwala ente zaabwe. Bw'atyo Dawudi n'awonya ab'omu kibuga Keyila.
6
Abiyataari mutabani wa Ahimeleki bwe yadduka ne yeegatta ku Dawudi, yagenda ne efodi e Keyila.
7
Awo ne babuulira Sawulo nti: “Dawudi azze mu kibuga Keyila.” Sawulo n'agamba nti: “Katonda amungabudde, kubanga azingiziddwa, bw'ayingidde mu kibuga ekirina enzigi eziriko ebisiba.”
8
Awo Sawulo n'ayita abantu bonna okujja mu lutalo okuserengeta e Keyila, bataayize Dawudi ne basajja be.
9
Dawudi bwe yamanya nti Sawulo ateekateeka okumukolako akabi, n'agamba Abiyataari kabona nti: “Leeta wano efodi.”
10
Dawudi n'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda wa Yisirayeli, mazima mpulidde nti Sawulo ateekateeka okujja e Keyila azikirize ekibuga ku lwange.
11
Kale ab'e Keyila banampaayo mu mikono gya Sawulo? Ddala Sawulo anaaserengeta nga nze omuweereza wo bwe mpulidde? Ayi Mukama Katonda wa Yisirayeli, nkwegayiridde mbuulira, nze omuweereza wo.” Mukama n'addamu Dawudi nti: “Sawulo ajja kuserengeta.”
12
Dawudi n'abuuza nti: “Abatuuze b'e Keyila banampaayo ne basajja bange mu mikono gya Sawulo?” Mukama n'addamu nti: “Bajja kukuwaayo.”
13
Awo Dawudi ne basajja be abawera nga lukaaga, ne basituka ne bava e Keyila, ne bagenda buli gye bayinza okugenda. Sawulo bwe yawulira nti Dawudi adduse okuva e Keyila eby'okulumba ekibuga n'abivaako.
14
Dawudi n'abeera mu nsi ey'ensozi, nga yeekwese mu mpuku mu ddungu ly'e Zifu. Sawulo n'amunoonyanga buli lunaku, naye Katonda n'atawaayo Dawudi mu mikono gya Sawulo.
15
Dawudi n'alaba nga Sawulo yali amunoonya okumutta. Olwo, Dawudi yali mu kibira, mu ddungu ly'e Zifu.
16
Yonataani mutabani wa Sawulo, n'asituka n'agenda Dawudi gye yali, n'amugumya nti Katonda taaleme kumukuuma.
17
N'amugamba nti: “Totya, Sawulo kitange tajja kusobola kukukolako kabi. Era ggwe ojja okuba kabaka wa Yisirayeli, nze nkuddirire mu kitiibwa. Ekyo ne Sawulo kitange akimanyi.”
18
Awo bombi ne bakola endagaano mu maaso ga Mukama. Dawudi n'asigala mu kibira, Yonataani n'addayo ewuwe.
19
Awo ab'e Zifu ne bambuka eri Sawulo e Gibeya, ne bagamba nti: “Dawudi yeekwese ewaffe mu mpuku, mu kibira, ku Lusozi Hakila oluli ku ludda olw'ebukiikaddyo olw'eddungu ly'e Buyudaaya.
20
Kale kaakano ayi kabaka nga bw'oyagala ennyo okumukwata, jjangu, ffe tujja kumuwaayo mu mikono gyo.”
21
Sawulo n'agamba nti: “Nga bwe munkwatiddwa ekisa, Mukama abawe omukisa olw'okunkwatirwa ekisa.
22
Mugende mweyongere okwetegereza, mumanye era mulabe ekifo w'abeera, n'omuntu amulabye, kubanga bambuulira nti mugerengetanya nnyo.
23
Kale mulabe era mumanye ebifo byonna, mwe yeekweka n'ateegera, mukomewo mumbuulire ekikakafu, olwo ndyoke ŋŋende nammwe. Kale bw'anaaba mu kitundu ekyo nja kumunoonya, mu nkumi n'enkumi z'Abayudaaya.”
24
Awo ne basituka ne bagenda e Zifu okukukulemberamu Sawulo. Naye Dawudi ne basajja be baali mu ddungu ly'e Mowoni, mu kiwonvu ekiri mu bukiikaddyo, obw'e ddungu ly'e Buyudaaya.
25
Sawulo ne basajja be ne bagenda okumunoonya. Ne babuulira Dawudi. Dawudi kyeyava aserengeta awali olwazi, n'abeera mu ddungu ly'e Mawoni. Awo Sawulo bwe yakiwulira, n'awondera Dawudi mu ddungu ly'e Mawoni.
26
Sawulo n'agenda ku ludda olumu olw'olusozi, nga Dawudi ne basajja be bali ku ludda olulala. Awo Dawudi n'ayanguwa okuvaayo olw'okwewala Sawulo, kubanga Sawulo ne basajja be baali bazingizizza Dawudi ne basajja be enjuyi zonna okubakwata.
27
Naye ne wajja omubaka eri Sawulo, n'agamba nti: “Yanguwa ojje, kubanga Abafilistiya balumbye ensi yo.”
28
Awo Sawulo n'alekera awo okuwondera Dawudi, n'addayo okulwanyisa Abafilistiya. Ekifo ekyo kye baava bakiyita Olwazi Olwawula.
29
Awo Dawudi n'avaayo, n'ayambuka, n'abeera mu mpuku z'e Engedi.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31