bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 11
1 Samuel 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 12 →
1
Awo Nahasi Omwammoni n'ayambuka n'alumba ekibuga Yabesigileyaadi, n'akizingiza. Abasajja bonna ab'e Yabesi ne bamugamba nti: “Kola naffe endagaano tukuweerezenga.”
2
Nahasi Omwammoni n'abagamba nti: “Nja kukola nammwe endagaano, bwe munakkiriza okubaggyamu amaaso gammwe gonna aga ddyo, ndyoke nfuule Yisirayeli yonna ekyenyinyalwa.”
3
Abakulembeze ba Yabesi ne bamusaba nti: “Tuwe ekiseera kya nnaku musanvu tutume wonna mu Yisirayeli. Bwe wataliba atununula, tulyewaayo gy'oli.”
4
Ababaka bwe baatuuka e Gibeya ekya Sawulo, ne babuulira abantu ebigambo ebyo. Awo abantu bonna ne batema emiranga ne bakaaba amaziga.
5
Sawulo yali ava mu nnimiro, ng'ajja agoba ente, n'abuuza nti: “Abantu babadde ki? Lwaki bakaaba amaziga?” Ne bamubuulira ebigambo eby'abasajja abavudde e Yabesi.
6
Sawulo bwe yawulira ebigambo ebyo, Mwoyo wa Katonda n'ajja ku ye n'amaanyi Sawulo n'asunguwala nnyo.
7
N'addira ente bbiri, n'azitemaatemamu ebitundu n'abiwa ababaka babitwale wonna mu Yisirayeli nga bagamba abantu nti: “Buli ataaveeyo kugoberera Sawulo ne Samweli, ente ze za kutemwatemwa bwe zityo.” Mukama n'akuba abantu entiisa, ne bavaayo nga bali bumu.
8
Sawulo n'ababalira e Bezeki. Abaava mu Yisirayeli baali emitwalo amakumi asatu, n'abaava mu Buyudaaya baali emitwalo esatu.
9
Ne bagamba ababaka abajja nti: “Mugambe abantu b'e Yabesi Gileyaadi nti: ‘Enkya ng'omusana gwase, mujja kununulwa.’ ” Ababaka ne bagenda ne bategeeza Abayabesi, Abayabesi ne basanyuka!
10
Awo Abayabesi kyebaava bagamba Abammoni nti: “Enkya tujja kuvaayo tujje gye muli, mutukoleko byonna bye mwagala.”
11
Awo olwatuuka, ku lunaku olwaddirira, Sawulo n'agabanyaamu basajja be ebibinja bisatu. Ne bayingira mu lusiisira lw'Abammoni ng'obudde bunaatera okukya, ne basanjaga Abammoni okutuusa omusana nga gwase. Abaawonawo ne babuna emiwabo, ne watasigala babiri ku bo abali awamu.
12
Abantu ne bagamba Samweli nti: “Baani abagamba nti Sawulo tajja kutufuga? Baleete tubatte.”
13
Naye Sawulo n'agamba nti: “Tewali n'omu anattibwa olwaleero, kubanga luno lwe lunaku Mukama lw'anunuliddeko Yisirayeli.”
14
Awo Samweli n'agamba abantu nti: “Mujje tugende e Gilugaali tunywerezeeyo obwakabaka.”
15
Bonna ne bagenda e Gilugaali, era nga bali eyo e Gilugaali mu maaso ga Mukama, ne balangirira Sawulo nti ye kabaka. Ne batambira ebitambiro eby'ekiweebwayo mu maaso ga Mukama olw'okutabagana. Era eyo Sawulo n'abantu bonna ne bajagulizaayo nnyo.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31