bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 9
1 Samuel 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 10 →
1
Waaliwo omusajja ow'amaanyi era omuzira ow'omu kitundu kya Benyamiini, erinnya lye Kiisi, mutabani wa Abiyeeli, Abiyeeli mutabani wa Zerori, Zerori mutabani wa Bekorati, Bekorati mutabani wa Afiya Omubenyamiini.
2
Kiisi yalina mutabani we, erinnya lye Sawulo, nga musajja mulungi nnyo mu ndabika ye, era nga muvubuka. Mu ndabika, tewaali amusinga bulungi mu Bayisirayeli bonna. Okuva ku bibegabega bye okudda waggulu, yali asinga abantu bonna obuwanvu.
3
Awo ezimu ku ndogoyi za Kiisi kitaawe wa Sawulo, zaali zibuze. Kiisi n'agamba mutabani we Sawulo nti: “Twala omu ku baweereza, munoonye endogoyi.”
4
N'ayita mu nsi ey'ensozi eya Efurayimu, n'ayita ne mu kitundu kya Salisa, naye ne bataziraba. Awo ne bayita mu nsi y'e Saalimu, nga teziriiyo. N'ayita mu nsi ey'Ababenyamiini, naye ne bataziraba.
5
Bwe baatuuka mu kitundu ky'e Zufu, Sawulo n'agamba omuweereza we eyali naye nti: “Tuddeyo eka, sikulwa nga kitange aleka okulowooza ku ndogoyi, n'atandika okweraliikirira ffe.”
6
Omuweereza n'amuddamu nti: “Lindako! Mu kibuga muno mulimu omusajja wa Katonda assibwamu ekitiibwa, nga buli ky'ayogera kituukirira. Leka tugende gy'ali, oboolyawo ayinza okutubuulira, eby'olugendo lwaffe lwe tutambula.”
7
Sawulo n'abuuza omuweereza we nti: “Bwe tunaagenda gy'ali, tunaamutwalira kirabo ki? Ensawo zaffe ziweddemu emmere, ate tetulina kintu kirala kyonna kya kumuwa. Tulinawo ki?”
8
Omuweereza era n'addamu nti: “Nnina akasente aka ffeeza, nnyinza okukamuwa, atubuulire gye tuyinza okusanga endogoyi.”
9
(Edda mu Yisirayeli omuntu bwe yagendanga okwebuuza ewa Katonda, ng'agamba nti: “Jjangu tugende ew'omulabi.” Kubanga mu kiseera ekyo omulanzi baamuyitanga mulabi.)
10
Sawulo n'addamu omuweereza we nti: “Oyogedde bulungi, kale tugende.” Awo ne bagenda mu kibuga awaabeeranga omusajja wa Katonda.
11
Bwe baali balinnyalinnya akasozi batuuke mu kibuga, ne basisinkana abawala abaali bava mu kibuga, nga bagenda okusena amazzi, ne bababuuza nti: “Omulabi gy'ali?”
12
Abawala ne babaddamu nti: “Gy'ali, era wuuyo abakulembeddemu. Mwanguwe, yaakatuuka mu kibuga, kubanga olwaleero, abantu bagenda kuwaayo kitambiro mu kifo ekigulumivu.
13
Amangu ddala nga mwakayingira ekibuga mujja kumulaba nga tannayambuka mu kifo ekigulumivu okulya. Abantu tebajja kulya nga tannatuuka, kubanga ye asabira ekitambiro omukisa, olwo abantu abayitiddwa ne balyoka balya. Kale kaakano mwambuke, mujja kumulaba.”
14
Awo Sawulo n'omuweereza we ne bagenda mu kibuga. Bwe baali nga bakiyingiramu, ne balaba Samweli ng'afuluma ng'ajja gye bali, bwe yali ng'agenda mu kifo ekigulumivu.
15
Ng'ekyabulayo olunaku lumu Sawulo okujja, Mukama yali abikkulidde Samweli ekyama ng'agamba nti:
16
“Enkya mu kiseera nga kino, nja kuweereza gy'oli omusajja okuva mu kitundu kya Benyamiini. Onoomufukako omuzigo, abe omukulembeze w'abantu bange Abayisirayeli, era ye alibaggya mu mikono gy'Abafilistiya, kubanga ndabye okubonaabona kw'abantu bange, era okukaaba kwabwe kutuuse gye ndi.”
17
Samweli bwe yalaba Sawulo, Mukama n'amugamba nti: “Oyo ye musajja gwe nakugambyeko. Oyo ye alifuga abantu bange.”
18
Awo Sawulo n'asemberera Samweli mu mulyango, n'agamba nti: “Nkwegayiridde mbuulira ennyumba y'omulabi w'eri.”
19
Samweli n'agamba Sawulo nti: “Nze mulabi. Nkulemberaamu tugende mu kifo ekigulumivu, kubanga mujja kulya nange olwaleero. Enkya ku makya nnaakubuulira ebyo byonna ebiri mu mutima gwo, ndyoke mbasiibule mugende.
20
N'endogoyi zo, ezimaze ennaku essatu nga zibuze tozeeraliikirira, kubanga zirabise. Naye Abayisirayeli bonna bayaayaanira ani? Si ggwe, n'ab'omu nnyumba ya kitaawo yonna?”
21
Sawulo n'addamu nti: “Ndi wa mu kika kya Benyamiini, ekika ekisingirayo ddala obutono mu Yisirayeli, n'ennyumba yaffe ye esembayo okumanyika mu Kika kya Benyamiini, kale kiki ekikuŋŋambisa bw'otyo?”
22
Awo Samweli n'atwala Sawulo n'omuweereza we, n'abayingiza mu kisenge ekinene, n'abatuuza mu kifo eky'oku mwanjo, awamu n'abagenyi abayite, abaali bakunukkiriza mu makumi asatu.
23
Samweli n'agamba omufumbi nti: “Leeta ennyama gye nakuwadde era gye nakugambye nti: ‘Gitereke.’ ”
24
Awo omufumbi n'aleeta ekisambi n'ebyakiriko, n'akiteeka mu maaso ga Sawulo. Samweli n'agamba Sawulo nti: “Eno ye nnyama gye nakuterekedde. Girye, kubanga nagiggyeeko ne ngikuterekera, okuviira ddala mu kaseera ke nagambiddeko nti: ‘Mpise abagenyi.’ ” Bw'atyo Sawulo n'aliira wamu ne Samweli ku lunaku olwo.
25
Bwe baaserengeta mu kibuga okuva mu kifo ekigulumivu, Samweli n'ateesa ne Sawulo, waggulu ku nnyumba.
26
Ne bazuukuka mu makya. Awo olwatuuka, obudde nga bukya, Samweli n'ayita Sawulo waggulu ku nnyumba, ng'agamba nti: “Golokoka, nkusiibule ogende.” Awo Sawulo n'agolokoka, ne bafuluma bombi, ye ne Samweli.
27
Bwe baali nga baserengeta ekibuga we kikoma, Samweli n'agamba Sawulo nti: “Gamba omuweereza ayitewo, atukulemberemu. Bw'anaamala okuyitawo, ggwe oyimirireko wano katono, nkumanyise ekigambo kya Katonda.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31