bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 19
1 Samuel 19
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 20 →
1
Awo Sawulo n'agamba Yonataani mutabani we n'abakungu be bonna batte Dawudi. Naye Yonataani mutabani wa Sawulo yali ayagala nnyo Dawudi.
2
Yonataani n'abuulira Dawudi nti: “Sawulo kitange ayagala kukutta. Kale weekuume, enkya ku makya weekweke mu kifo ekyekusifu, obeere eyo.
3
Nja kugenda nnyimirire kumpi ddala ne kitange mu ttale mw'onooba weekwese, mmubuulire ebikukwatako. Bwe nnaabaako kye mmanya, nja kukikubuulira.”
4
Awo Yonataani n'ayogera birungi ku Dawudi ng'ayogera ne Sawulo kitaawe, n'amugamba nti: “Ayi kabaka, tobaako kabi k'okola ku muweereza wo Dawudi, kubanga naye talina kabi ke yali akukoze, era byonna by'akukolera birungi.
5
Dawudi yateeka obulamu bwe mu kabi lwe yatta Omufilistiya, Mukama n'atuusa Yisirayeli ku buwanguzi obutalojjeka. Bwe wakiraba, wasanyuka. Kaakano lwaki oyagala okukola akabi ku muntu ataliiko musango, ng'otta Dawudi awatali nsonga?”
6
Sawulo n'assa omwoyo ku bigambo bya Yonataani, era n'alayira nti: “Mukama nga bw'ali omulamu, Dawudi tajja kuttibwa!”
7
Awo Yonataani n'ayita Dawudi, n'amubuulira ebigambo ebyo byonna, n'alyoka atwala Dawudi eri Sawulo. Dawudi n'abeeranga ne Sawulo nga bwe yabeeranga edda.
8
Ne wabalukawo olutalo olulala, Dawudi n'alumba Abafilistiya n'abalwanyisa n'abattamu abantu bangi, abaasigalawo ne badduka.
9
Awo omwoyo omubi ogwasindikibwa Mukama gwali ku Sawulo. Yali atudde mu nnyumba ye ng'akutte effumu, nga ne Dawudi ali awo akuba ennanga.
10
Sawulo n'agezaako okufumita Dawudi effumu, likwase n'ekisenge, naye Dawudi n'amwewoma, Sawulo n'afumita kisenge. Ekiro ekyo Dawudi n'adduka n'awona.
11
Awo Sawulo n'atuma ababaka ku nnyumba ya Dawudi, okumuteega bamutte enkeera mu makya. Mikali mukazi wa Dawudi n'amulabula nti: “Bw'otodduke ekiro kino kuwonya bulamu bwo, enkya ojja kuttibwa.”
12
Awo Mikali n'assiza Dawudi mu ddirisa, Dawudi n'adduka n'awona.
13
Awo Mikali, n'akwata ekifaananyi kya lubaale ow'omu maka n'akigalamiza ku kitanda. N'ateeka emitwetwe waakyo omutto ogwakolebwa mu byoya by'embuzi, n'akibikkako olugoye.
14
Ababaka Sawulo be yatuma bwe bajja okukwata Dawudi, Mikali n'abagamba nti Dawudi alwadde.
15
Sawulo n'atuma ababaka baddeyo balabe Dawudi. N'abagamba nti: “Mumusitulire ku kitanda kye, mumuleete wano, mmutte.”
16
Awo ababaka bwe baayingira, ne basanga ekifaananyi kya lubaale ow'omu maka, nga kye kiri ku kitanda, nga n'omutto ogw'ebyoya by'embuzi guli mitwetwe waakyo.
17
Sawulo n'abuuza Mikali nti: “Lwaki onnimbye bw'otyo n'otolosa omulabe wange?” Mikali n'addamu Sawulo nti: “Yaŋŋambye nti bwe simuleka kugenda, ajja kunzita!”
18
Awo Dawudi n'adduka n'awona, n'agenda eri Samweli e Raama, n'amubuulira byonna Sawulo bye yamukola. Awo Dawudi ne Samweli ne bagenda e Nayoti, ne babeera eyo.
19
Ne babuulira Sawulo nti: “Dawudi wuuli ali Nayoti mu Raama.”
20
Sawulo n'atuma ababaka okukwata Dawudi. Ne balaba ekibinja ky'abalanzi nga balanga, nga ne Samweli ali nabo, nga ye mukulembeze waabwe. Awo Mwoyo wa Katonda n'ajja ku babaka ba Sawulo, nabo ne balanga.
21
Awo bwe baabuulira Sawulo, n'atumayo ababaka abalala, era nabo ne balanga. Awo Sawulo n'atuma ababaka omulundi ogwokusatu, era nabo ne balanga.
22
Awo naye n'agenda e Raama. Bwe yatuuka ku luzzi olunene oluli e Seku, n'abuuza nti: “Samweli ne Dawudi bali ludda wa?” Ne wabaawo amubuulira nti: “Bali eri e Nayoti mu Raama.”
23
N'ayolekera Nayoti mu Raama. Mwoyo wa Katonda n'ajja ne ku ye, Sawulo n'agenda ng'alanga okutuusa lwe yatuuka e Nayoti mu Raama.
24
N'ayambulamu ebyambalo bye n'alangira mu maaso ga Samweli. N'agalamira ng'ali bwereere olunaku olwo lwonna n'ekiro kyonna. Wano we waava enjogera egamba nti: “Ne Sawulo yafuuka mulanzi?”
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31