bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 2
1 Samuel 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 3 →
1
Awo Hanna n'asinza Mukama ng'agamba nti: “Mukama ajjuzizza omutima gwange essanyu; anzizizzaamu amaanyi. Nsekerera abalabe bange, mbugaanye essanyu kubanga, ayi Katonda, omponyezza.
2
“Tewali mutuukirivu nga Mukama, tewali mulala amufaanana; tewali ayinza kutukuuma okwenkana Katonda waffe.
3
“Mulekere awo okwenyumiriza, mukomye okwogeza amalala; kubanga Mukama ye Katonda amanyi, era alamula byonna abantu bye bakola.
4
“Emitego gy'abazira gimenyese, naye abanafu beeyongera maanyi.
5
Abo abaalyanga ne bakkuta, kaakano bapakasa okufuna emmere, naye abaalumwanga enjala, tekyabaluma. Omukazi omugumba azadde musanvu, n'oyo eyazaala abangi tasigazizza n'omu.
6
“Mukama aggyawo obulamu n'abuzzaawo; aserengesa emagombe, n'azuukiza.
7
“Mukama ayavuwaza, era agaggawaza. Atoowaza, era ye agulumiza.
8
“Abaavu abayimusa n'abaggya mu nfuufu; abali mu bwetaavu, abaggya ku ntuumu y'ebisasiro, n'abatuuza wamu n'abalangira, n'abateeka mu bifo ebyekitiibwa, kubanga empagi z'ensi za Mukama, era ku mpagi ezo, kwe yateeka ensi kwe tuli.
9
“Aluŋŋamya ebigere by'abamukkiriza; naye ababi babulira mu kizikiza, kubanga omuntu tawangula lwa maanyi ge.
10
Abalabe ba Mukama bamenyebwamenyebwa; ababwatukira ng'asinziira mu ggulu. Mukama alamula ensi yonna. Awa amaanyi, oyo gwe yalonda okuba kabaka. Agulumiza oyo gwe yasiigako omuzigo.”
11
Awo Elukaana n'addayo ewuwe e Raama. Omwana n'asigala ng'aweereza Mukama, ng'alabirirwa Eli.
12
Batabani ba Eli baali bantu abataliimu nsa. Tebassangayo mwoyo ku Mukama.
13
Era engeri bakabona abo gye baayisangamu abantu, yali bw'eti: omuntu bwe yawangayo ekitambiro, omuweereza wa kabona ng'ajja nga bakyafumba ennyama, ng'akutte ffooka ey'amannyo asatu,
14
n'afumita mu nsaka oba entamu oba seffuliya. Awo byonna ekyuma ekyo bye kyaleetanga, kabona ng'abitwala. Bwe batyo bwe baayisanga buli Muyisirayeli eyajjanga e Siilo okuwaayo ebitambiro.
15
Era bwe baabanga tebannaba kwokya masavu, omuweereza wa kabona ng'ajja n'agamba omusajja awaayo ekitambiro nti: “Mpa ennyama ey'okwokera kabona, kubanga tajja kukkiriza nnyama nfumbe gye munaamuwa, wabula embisi.”
16
Omusajja bwe yamuddangamu nti: “Ka basooke bookye amasavu, olyoke otwale ennyama gy'oyagala.” Awo ng'omuweereza amuddamu nti: “Nedda, oteekwa okugimpa kaakano, bw'ogaana nja kugitwala lwa mpaka.”
17
Ekibi ky'abalenzi abo ne kiba kinene nnyo mu maaso ga Mukama, kubanga abantu baatamwa ekiweebwayo eri Mukama.
18
Awo Samweli n'atandika ng'akyali mwana muto okuweerezanga mu maaso ga Mukama, ng'ayambadde ekkanzu enjeru.
19
Buli mwaka nnyina n'amutungiranga akanagiro n'akamutwalira, bwe yagendanga awamu ne bba, okuwaayo ekitambiro ekya buli mwaka.
20
Eli n'asabiranga Elukaana ne mukazi we ng'agamba nti: “Mukama akwongere abaana mu mukazi ono, olw'oyo gwe yatonera Mukama.” Ebyo olwaggwanga ne baddayo ewaabwe.
21
Awo Mukama n'awa Hanna omukisa, n'azaala abaana ab'obulenzi basatu, n'ab'obuwala babiri. Omwana Samweli n'akulira mu maaso ga Mukama.
22
Awo Eli yali akaddiye nnyo. N'awuliranga ebyo byonna batabani be bye baakolanga Abayisirayeli bonna, n'engeri gye beebakanga n'abakazi abaaweerezanga ku mulyango gwa weema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
23
N'abagamba nti: “Lwaki mukola ebifaanana bwe bityo? Abantu bonna bambuulira ebikolwa byammwe ebibi.
24
Nedda, baana bange. Ebigambo bye mpulira, si birungi. Abantu ba Mukama mubaleetera okukola ekibi.
25
Omuntu bw'asobya ku muntu munne, Katonda ye abasalirawo. Naye omuntu bw'asobya ku Mukama, ani alimuwolereza?” Naye tebaawuliriza bigambo bya kitaabwe, kubanga Mukama yali asazeewo okubatta.
26
Omwana Samweli ne yeeyongera okukula n'okuganja ewa Katonda ne mu bantu.
27
Awo omusajja wa Katonda n'ajja ewa Eli, n'amugamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Nneeyoleka ab'ennyumba ya jjajjaawo bwe baali nga baddu ba kabaka w'e Misiri.
28
Era jjajjaawo oyo namuggya mu b'ebika byonna ebya Yisirayeli, ne mmulonda okuba kabona wange okwambukanga ku alutaari yange, n'okunyookezanga obubaane, n'okwambalanga ekkanzu mu maaso gange. Era ne mpa ab'ennyumba ya jjajjaawo omugabo ku biweebwayo byonna Abayisirayeli bye bawaayo ebyokebwa.
29
Lwaki temussaamu kitiibwa ebitambiro byange n'ebiweebwayo gye ndi, bye nalagira mu nnyumba yange, naawe n'ossaamu batabani bo ekitiibwa okusinga nze, ne mugejjera ku bisinga obulungi, mu ebyo byonna abantu bange Abayisirayeli bye bawaayo?’
30
Mukama Katonda wa Yisirayeli kyava agamba nti: ‘Weewaawo nasuubiza nti ab'ennyumba yo, n'ab'ennyumba ya jjajjaawo, banampeerezanga ebbanga lyonna. Naye kaakano nze Mukama ŋŋamba nti ekyo kikafuuwe, kubanga abanzisaamu ekitiibwa, be nnassangamu ekitiibwa, n'abo abannyooma, tebassibwengamu kaabuntu.
31
Laba ennaku zijja, lwe ndizikiriza abavubuka bonna ab'omu nnyumba yo, ne mu nnyumba ya jjajjaawo, walemenga kubaawo akula n'akaddiwa mu nnyumba yo.’
32
“Olwo olitunuulira n'obuggya ebirungi bye ndikolera Yisirayeli, naye tewaliba akula n'akaddiwa mu nnyumba yo, ennaku zonna.
33
Naye omuntu ow'omu nnyumba yo, gwe ndirekawo okuweerezanga ku alutaari yange, alisigalawo kukukaabya maziga agakuziba amaaso, na kunakuwaza mwoyo gwo. N'abaana bonna ab'ennyumba yo, banaafanga nga bavubuse.
34
Kino ekirituuka ku batabani bo Hofuni ne Finehaasi, ke kabonero kw'olitegeerera nti byonna bye njogedde birituukirira. Bombi balifa ku lunaku lumu.
35
Ndyerondera kabona omwesigwa anaakolanga bye njagala, era ebinsanyusa. Ndimuwa ezzadde ne ndinyweza, liweerezenga ennaku zonna oyo gwe ndisiigako omuzigo.
36
Era ekiseera kirituuka, buli aliba asigaddewo ku b'omu nnyumba yo, n'ajja n'avuunamira kabona oyo okumusabayo ku ssente n'emmere, ng'amugamba nti: ‘Nkwegayiridde, mpa nkole ogumu ku mirimu gya bakabona, nsobole okufuna kye ndya.’ ”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31