bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 20
1 Samuel 20
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 21 →
1
Awo Dawudi n'adduka okuva e Nayoti mu Raama, n'agenda eri Yonataani, n'amugamba nti: “Nkoze ki? Musango ki gwe nzizizza? Nsobezza ki eri kitaawo alyoke ayagale okunzita?”
2
Yonataani n'amugamba nti: “Kikafuuwe! Tojja kufa. Kitange talibaako ky'akola ka kibe kinene oba kitono nga tasoose kumbuulirako. Kale kitange yandinkwekedde ki ekigambo ekyo? Si kituufu.”
3
Dawudi n'alayira, n'agamba nti: “Kitaawo amanyi bulungi ng'onjagala, kyavudde asalawo obutakumanyisa kino ng'agamba nti: ‘Yonataani kino takimanya, aleme okunakuwala.’ Naye mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, nsigazzaayo akabanga katono nfe!”
4
Awo Yonataani n'agamba Dawudi nti: “Buli kyonna ky'oyagala, nja kukikukolera.”
5
Dawudi n'agamba Yonataani nti: “Enkya luulwo lunaku lwa Kuboneka kwa Mwezi, era nandibadde nteekwa okutuula ne kabaka okulya, naye ndeka ŋŋende nneekweke mu ttale okutuusa akawungeezi k'olunaku oluddirira olwenkya.
6
Kitaawo bw'anaalaba nga siriiwo, ng'omugamba nti: ‘Dawudi yanneegayiridde mmuleke agende e Betilehemu mu kibuga ky'ewaabwe, kubanga ab'ennyumba ya kitaawe bonna, bagenda kuwaayo ekitambiro kye bawaayo buli mwaka.’
7
Awo bw'agamba nti: ‘Kirungi,’ olwo nze omuweereza wo nnaaba mirembe. Naye bw'anaasunguwala, ng'omanya ng'alina akabi k'ategese okukola.
8
Kale nze omuweereza wo nkwatirwa ekisa, kubanga twatta omukago mu maaso ga Mukama. Naye bwe mba omubi, ggwe wennyini nzita, kubanga tewali nsonga ekuntwazisa eri kitaawo.”
9
Awo Yonataani n'agamba Dawudi nti: “Ekyo tokirowooza n'akatono, kubanga mbeera kukimanyaako nga kitange alina akabi k'ategese okukukolako, sandikubuulidde?”
10
Dawudi n'abuuza Yonataani nti: “Ani anambuulira nga kitaawo akuzzeemu na bboggo?”
11
Yonataani n'agamba Dawudi nti: “Jjangu tulage mu ttale.” Ne bafuluma bombi, ne balaga mu ttale.
12
Yonataani n'agamba Dawudi nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli abeere mujulirwa. Enkya mu budde nga buno, oba ku lunaku olunaddirira, nja kukemereza kitange. Bwe nnaalaba ng'akwogerako bulungi ggwe Dawudi, nja kukutumira nkumanyise.
13
Kitange bw'anaaba ayagala okukukolako akabi, ne sikikumanyisa, era ne sikutolosa ogende mirembe, nze Yonataani, Mukama ambonereze n'obukambwe. Mukama abeere naawe nga bwe yabanga ne kitange!
14
Tojja kukoma ku kya kundaga kisa kya Mukama nga nkyali mulamu, nneme kufa,
15
naye n'ennaku zonna, tolisalako kisa kyo ku ba nnyumba yange, wadde Mukama ng'amaze okusalako abalabe ba Dawudi bonna, okubamalawo ku nsi.”
16
Awo Yonataani n'atta omukago n'ennyumba ya Dawudi nti Mukama aliguvunaana abalabe ba Dawudi.
17
Yonataani n'addamu okulayiza Dawudi baagalane, kubanga Yonataani yayagala nnyo Dawudi, nga bwe yeeyagala yennyini.
18
Yonataani n'agamba Dawudi nti: “Enkya lwe lunaku olw'Okuboneka kw'Omwezi, bajja kulaba nga toliiwo, kubanga entebe yo eneeba njereere.
19
Ku lunaku oluddirira olwenkya ojja kugenda mu kifo gye weekweka ku mulundi guli, obeere eyo, emabega w'ejjinja Ezeli.
20
Awo nja kulasa obusaale busatu ku mabbali gaalyo, nga ndi ng'aliko kye nteeba.
21
Kale bwe nnaatuma omulenzi nga ŋŋamba nti: ‘Genda onoonye obusaale,’ ate ne mmugamba nti: ‘Laba, obusaale buli ku ludda luno gy'oli olulwo, buggyeeyo’, olwo n'olyoka ojja. Nga Mukama bw'ali omulamu, onooba bulungi, nga tewali kabi.
22
Naye bwe nnaagamba omuvubuka nti: ‘Laba, obusaale buli eri mu maaso,’ awo ng'ogenda, kubanga Mukama anaaba akulagidde okugenda.
23
Ku kigambo ekyo kye twogeddeko, nze naawe, Mukama oyo, ye mujulirwa wakati wo nange ennaku zonna.”
24
Awo Dawudi ne yeekweka mu ttale. Ku lunaku olw'Okuboneka kw'Omwezi, kabaka n'atuula ku lujjuliro okulya emmere.
25
Kabaka n'atuula mu kifo kye ekya bulijjo, okumpi n'ekisenge, Yonataani n'atuula ng'atunuuliganye naye, Abuneeri n'atuula ng'aliraanye Sawulo. Ekifo kya Dawudi kyali kyereere.
26
Naye Sawulo talina kye yayogera ku lunaku olwo, kubanga yalowooza nti Dawudi alina ekimutuuseeko n'atabeera mulongoofu, ddala si mulongoofu.
27
Awo olwatuuka, enkeera w'olunaku olw'okuboneka kw'Omwezi, ekifo kya Dawudi era ne kiba kyereere. Sawulo n'abuuza Yonataani mutabani we nti: “Mutabani wa Yesse obutajja kulya olwa jjo wadde olwaleero kiki?”
28
Yonataani n'addamu Sawulo nti: “Dawudi yanneegayiridde nnyo mmukkirize agende e Betilehemu.
29
Yagambye nti: ‘Nkwegayiridde ndeka ŋŋende, kubanga ab'ennyumba yaffe balina omukolo mu kibuga ogw'okuwaayo ekitambiro, era muganda wange yandagidde okubeerayo. Kale bw'oba ng'onkwatiddwa ekisa, nzikiriza ŋŋende ndabe baganda bange.’ Kyavudde tajja ku mmeeza yo, ayi kabaka.”
30
Sawulo n'asunguwalira Yonataani n'amugamba nti: “Ggwe omwana w'omukazi omubambaavu era omujeemu. Olowooza simanyi ng'oli ku ludda lwa mutabani wa Yesse, okweswaza era n'okukwasa nnyoko ensonyi?
31
Manya nti mutabani wa Yesse ng'akyali mulamu ku nsi, tolibaako w'onyweredde ggwe, wadde obwakabaka bwo. Kale kaakano mutumye omundeetere, kubanga ateekwa okufa!”
32
Yonataani n'addamu Sawulo kitaawe nti: “Lwaki attibwa? Akoze ki?”
33
Awo Sawulo n'akasuka effumu okumufumita. Yonataani kwe yategeerera nga kitaawe amaliridde okutta Dawudi.
34
Enkeera w'olunaku olw'okuboneka kw'Omwezi, Yonataani n'asituka ku mmeeza n'obusungu bungi, n'atalya ku mmere n'akatono, kubanga yanakuwala nnyo olwa Dawudi, kubanga Sawulo kitaawe yali amuwemukidde.
35
Enkeera ku makya n'afuluma n'alaga mu ttale okusisinkana Dawudi, nga bwe baali balagaanye. N'agenda wamu n'omulenzi omuto.
36
N'agamba mulenzi we nti: “Dduka onoonye obusaale bwe ndasa.” Omulenzi n'adduka, Yonataani n'alasa akasaale, ne kasukka omulenzi, ne kagwa eri mu maaso.
37
Omulenzi bwe yatuuka mu kifo akasaale Yonataani ke yalasa we kaagwa, Yonataani n'akoowoola omulenzi nti: “Akasaale kali eri mu maaso!
38
Yanguwa, dduka, tolwawo!” Omulenzi wa Yonataani n'alonda akasaale n'addayo ewa mukama we.
39
Naye omulenzi teyaliiko kye yamanya. Yonataani ne Dawudi bokka be baakimanya.
40
Yonataani n'akwasa omulenzi oyo ebyokulwanyisa bye, n'amugamba nti: “Bitwale mu kibuga.”
41
Omulenzi bwe yamala okugenda, Dawudi n'ava mu kifo ekyali ku ludda olw'ebukiikaddyo, n'avuunama, n'akutama ku ttaka emirundi esatu, ne banywegeragana nga bwe bakaaba, kyokka Dawudi ye yasinga okukaaba.
42
Awo Yonataani n'agamba Dawudi nti: “Genda mirembe. Ffembi tusigale nga bwe tulayidde mu linnya lya Mukama, nga tugamba nti: ‘Mukama anaabeeranga wakati wange naawe, era wakati w'ezzadde lyange n'eriryo ennaku zonna.’ ” Awo Dawudi n'asituka n'agenda, Yonataani n'addayo mu kibuga.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31