bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 10
1 Samuel 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 11 →
1
Awo Samweli n'addira akacupa k'omuzigo, n'agufuka ku mutwe gwa Sawulo, n'amunywegera, n'agamba nti: “Mukama takufuseeko omuzigo okuba omukulembeze w'abantu be Abayisirayeli?
2
Olwaleero bw'onoova we ndi, ojja kusanga abasajja babiri, nga bali kumpi n'amalaalo ga Raakeeli e Zeluza, mu kitundu kya Benyamiini. Bajja kukubuulira nti endogoyi z'onoonya zirabise, era nti kati kitaawo aleseeyo okulowooza ku ndogoyi, ne yeeraliikirira ggwe, ng'agamba nti: ‘Nnaakola ntya olw'omwana wange?’
3
Awo onoovaawo ne weeyongerayo mu maaso, okutuusa lw'onootuuka ku muvule, oguli e Tabori, gy'onoosanga abasajja basatu, nga bagenda e Beteli okusinza Katonda. Omu ku bo ajja kuba ng'atwala embuzi ento ssatu, omulala ng'atwala emigaati esatu, n'omulala ng'atwala ensawo ey'eddiba, ey'omwenge ogw'emizabbibu.
4
Awo banaakulamusa, ne bakuwa emigaati ebiri. Ggwe gikkirize.
5
Olwo onooyambuka ku lusozi lwa Katonda, awali olusiisira lw'Abafilistiya. Bw'onooba otuuka mu kibuga, ojja kusanga ekibinja ky'abalanzi, abaserengeta nga bava mu kifo ekigulumivu, nga balanga, era nga bakulembeddwamu ab'entongooli, n'eŋŋoma, n'endere n'ennanga.
6
Awo Mwoyo wa Mukama anaakukkako n'amaanyi, n'ofuuka omuntu omulala, n'olanga wamu nabo.
7
Obubonero obwo bw'onoolaba nga butuukiridde okole kyonna ky'osobola okukola, kubanga Mukama ali wamu naawe.
8
Ononkulemberamu okugenda e Gilugaali, gye nnaakusanga okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n'okutambira ebiweebwayo olw'okutabagana. Ojja kulindirayo ennaku musanvu, ndyoke nzije nkumanyise eky'okukola.”
9
Awo Sawulo bwe yakyuka n'akuba Samweli amabega okumuvaako, Katonda n'akyusa Sawulo omutima. Era obubonero obwo bwonna ne butuukirira ku lunaku olwo.
10
Awo Sawulo n'omuweereza we bwe batuuka ku lusozi, ekibinja ky'abalanzi ne kimusisinkana. Amangwago mwoyo wa Katonda n'amujjako n'amaanyi, n'alanga wamu nabo.
11
Awo bonna abaali bamumanyi okuva edda bwe baamulaba ng'alanga wamu n'abalanzi, ne beebuuzaganya nti: “Kiki ekituuse ku Sawulo mutabani wa Kiisi? Kaakati naye ye omu ku balanzi?”
12
Awo omuntu ow'omu kifo ekyo n'abaddamu n'agamba nti: “Bano kitaabwe ye ani?” Awo we waava enjogera egamba nti: “Ne Sawulo ali mu balanzi?”
13
Sawulo bwe yamala okulanga, n'alaga mu kifo ekigulumivu.
14
Kitaawe omuto owa Sawulo n'abuuza Sawulo n'omuweereza we nti: “Mubadde mulaze wa?” Sawulo n'amuddamu nti: “Tubadde tugenze kunoonya ndogoyi. Awo bwe twalabye nga tezizuuse ne tugenda eri Samweli.”
15
Kitaawe omuto n'agamba nti: “Nkwegayiridde mbuulira Samweli bye yagambye?”
16
Sawulo n'agamba kitaawe omuto nti: “Yatukakasirizza ddala nti endogoyi zaalabise.” Kyokka eby'obwakabaka, Samweli bye yayogera, teyabimubuulirako.
17
Samweli n'ayita abantu. N'abakuŋŋaanya okusinziza Mukama e Mizupa.
18
N'agamba Abayisirayeli nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli agamba bw'ati nti: ‘Nabaggya e Misiri, ne mbawonya okutuntuzibwa Abamisiri, n'amawanga amalala gonna, agaabajooganga.
19
Naye olwaleero, muŋŋaanye nze Katonda wammwe abawonya nze kennyini okubonaabona kwammwe kwonna n'obuyinike bwammwe. Era muŋŋambye nti: “Nedda. Naye teekawo kabaka atufuge.” Kale nno kaakano mukuŋŋaane mu maaso ga Mukama, nga muli mu ŋŋanda zammwe, ne mu bika byammwe.’ ”
20
Awo Samweli n'asembeza w'ali Ebika byonna ebya Yisirayeli. Ekika kya Benyamiini ne kirondebwamu.
21
Samweli n'asembeza w'ali ennyumba ez'omu Kika kya Benyamiini, ennyumba ya Maturi n'erondebwamu. Awo Samweli n'asembeza w'ali abasajja bonna ab'omu nnyumba ya Maturi. Sawulo mutabani wa Kiisi n'alondebwamu. Ne bamunoonya n'abula.
22
Ne beeyongera okubuuza Mukama nti: “Waliwo omusajja atannatuuka wano?” Mukama n'addamu nti: “Wuuli, yeekwese mu bintu.”
23
Awo ne badduka emisinde ne bamuggyayo. Sawulo bwe yayimirira mu bantu, nga bonna abasinga obuwanvu, okuva ku bibegabega bye, okudda waggulu.
24
Awo Samweli n'agamba abantu bonna nti: “Mumulabye oyo Mukama gw'alonze, nga tewali amwenkana mu bantu bonna?” Abantu bonna ne baleekaana nti: “Kabaka awangaale!”
25
Awo Samweli n'alyoka annyonnyola abantu eby'obwakabaka nga bwe bibeera. N'abiwandiika mu kitabo, n'akitereka mu kifo ekitukuvu. Awo Samweli n'asiibula abantu bonna, buli omu n'addayo ewaabwe.
26
Ne Sawulo naye n'agenda ewuwe e Gibeya. N'agenda n'abasajja abazira, Katonda be yali aluŋŋamizza emitima.
27
Naye ne wabaawo abasirusiru abaagamba nti: “Omusajja oyo alituwonya?” Ne bamunyooma ne batamuleetera birabo, kyokka ye n'asirika.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31