bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 15
1 Samuel 15
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 16 →
1
Awo Samweli n'agamba Sawulo nti: “Mukama nze yatuma okukufukako omuzigo okuba kabaka w'abantu be Abayisirayeli. Kale nno kaakano wulira Mukama bw'agamba.
2
Mukama Nnannyinimagye agamba bw'ati nti: ‘Nja kubonereza Abamaleki olw'ebyo bye baakola Abayisirayeli, bwe baabeekiika mu kkubo, ne babagaana okuyitawo nga Abayisirayeli bava e Misiri.
3
Kaakano genda otte Abamaleki, era ozikiririze ddala byonna bye balina. Era tobasaasira, naye otte bonna: abasajja n'abakazi, abaana abato n'abayonka, era otte ente, n'endiga, n'eŋŋamiya n'endogoyi.’ ”
4
Sawulo n'ayita abantu n'ababalira e Telayimu. Baali abaserikale emitwalo amakumi abiri ab'ebigere, n'abalala omutwalo gumu abaava mu Buyudaaya.
5
Sawulo n'atuuka mu kibuga kya Amaleki, n'ateegera mu kiwonvu.
6
Awo Sawulo n'agamba Abakeeni nti: “Mugende, muveewo, muve mu Bamaleki, nneme okubazikiriza awamu nabo, kubanga mwayamba Abayisirayeli bonna, bwe baali nga bava mu Misiri.” Bwe batyo Abakeeni ne bava mu Bamaleki.
7
Sawulo n'alwanyisa Abamaleki, okuva mu Havila okutuuka e Suuri, ekyolekera Misiri.
8
N'awamba Agagi kabaka w'Abamaleki, n'amutwala nga mulamu, n'azikiririza ddala abantu bonna.
9
Kyokka Sawulo n'abantu be ne basaasira Agagi, era ne bataliza endiga n'ente ebyasinga obulungi, n'ennyana ezassava, n'abaana b'endiga, na byonna ebyali ebirungi, ne bagaana okubizikiririza ddala, naye ebinyoomebwa n'ebitali bya muwendo, ne babizikiriza.
10
Awo Mukama n'agamba Samweli nti:
11
“Nejjusizza olw'okufuula Sawulo kabaka, kubanga akyuse n'anvaako n'agaana okuwulira ebiragiro byange.” Samweli n'asunguwala, ne yeegayirira Mukama ekiro kyonna.
12
Samweli yakeera nkya n'agenda okusisinkana Sawulo. Ne bamubuulira nti: “Sawulo yatuuka e Karumeeli era eyo ne yeezimbirayo ekijjukizo, n'akyuka n'ayitawo n'aserengeta e Gilugaali.”
13
Awo Samweli n'ajja eri Sawulo. Sawulo n'amugamba nti: “Mukama akuwe omukisa! Ntuukirizza ekiragiro kya Mukama.”
14
Samweli n'agamba nti: “Lwaki ate mpulira endiga ezikaaba, n'ente eziŋooŋa?”
15
Sawulo n'agamba nti: “Baziggye ku Bamaleki ne bazireeta. Abantu baatalizzaawo endiga n'ente ebisinga obulungi bitambirirwe Mukama Katonda wo. Ebirala tubizikiririzza ddala.”
16
Samweli n'agamba Sawulo nti: “Sooka oleke nkubuulire Mukama bye yaŋŋambye ekiro.” Sawulo n'addamu nti: “Yogera.”
17
Samweli n'agamba nti: “Newaakubadde wali weenyooma, tewafuuka mukulembeze wa bika bya Yisirayeli? Mukama yakufukako omuzigo okuba kabaka wa Yisirayeli.
18
Yakutuma okukola omulimu ng'agamba nti: ‘Genda ozikiririze ddala aboonoonyi abo Abamaleki, obalwanyise okutuusa lwe balimalibwawo.’
19
Kale kiki ekyakulobera okugondera eddoboozi lya Mukama, n'ogwa ku munyago, n'okola ekibi ekinyiiza Mukama?”
20
Sawulo n'agamba Samweli nti: “Eddoboozi lya Mukama naligondera, ne ŋŋenda ne nkola omulimu Mukama gwe yantuma, ne ndeeta Agagi kabaka w'Abamaleki, ne nsaanyizaawo ddala Abamaleki.
21
Naye abantu ne batoola ku munyago endiga n'ente ebyasinga obulungi mu ebyo ebyali eby'okuzikiririza ddala, batambirire Mukama Katonda wo.”
22
Samweli n'agamba Sawulo nti: “Mukama asanyukira ebiweebwayo ebyokebwa era n'ebitambiro okwenkana nga bw'asanyukira okugondera eddoboozi lye? Okugonda, ddala kusinga ekitambiro, n'okuwulira kusinga amasavu g'endiga ennume.
23
Obujeemu kye kimu n'ekibi eky'obusamize, n'emputtu kye kimu n'ekibi eky'okusinza ebitali Katonda. Nga bw'ogaanye okukola Mukama ky'akulagidde, Mukama naye akugaanye ku bwakabaka.”
24
Awo Sawulo n'agamba Samweli nti: “Nayonoona, kubanga najeemera ekiragiro kya Mukama n'ebigambo byo. Natya abantu, ne ŋŋondera eddoboozi lyabwe.
25
Naye kaakano nkwegayiridde, nsonyiwa ekibi kyange, tuddeyo ffembi nsinze Mukama.”
26
Samweli n'addamu nti: “Sijja kuddayo naawe, kubanga wagaana okukola Mukama bye yakulagira, era Mukama akugobye ku bwakabaka bwa Yisirayeli.”
27
Awo Samweli bwe yakyuka okugenda, Sawulo n'amukwata ekirenge ky'ekyambalo, ne kiyulika.
28
Samweli n'amugamba nti: “Mukama akuyuzizzaako obwakabaka bwa Yisirayeli olwaleero n'abuwa omuntu omulala akusinga okuba omulungi.
29
Era Maanyi ga Yisirayeli talimba era teyejjusa. Kubanga si muntu nti yejjuse.”
30
Sawulo n'agamba nti: “Nayonoona, naye nkwegayiridde nzisaamu ekitiibwa kaakano mu maaso g'abakulembeze b'abantu bange, ne mu maaso ga Yisirayeli, oddeyo nange, nsinze Mukama Katonda wo.”
31
Awo Samweli n'addayo ne Sawulo, n'asinza Mukama.
32
Awo Samweli n'agamba nti: “Mundeetere wano Agagi Kabaka w'Abamaleki.” Agagi n'ajja eri Samweli ng'asanyuka, ng'alowooza nti obubalagaze obw'okufa buyise.
33
Samweli n'agamba nti: “Ng'ekitala kyo bwe kyaleka abakazi abazadde nga tebalina baana, bw'atyo ne nnyoko bw'anaaba mu bakazi banne nga talina mwana.” Samweli n'atemaatema Agagi mu maaso ga Mukama e Gilugaali.
34
Awo Samweli n'agenda e Raama, ne Sawulo n'agenda mu nnyumba ye e Gibeya ekya Sawulo.
35
Samweli ennaku zonna ez'obulamu bwe, teyaddayo kulaba Sawulo, wabula yanakuwala nnyo olwa Sawulo oyo, kubanga Mukama yennyamira olw'okufuula Sawulo kabaka wa Yisirayeli.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31