bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 3
1 Samuel 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 4 →
1
Awo omwana Samweli n'aweerezanga Mukama ng'alabirirwa Eli. Mu nnaku ezo, Mukama yali tatera kwogera na bantu wadde okubalabikira.
2
Awo olwatuuka, mu kiro ekimu, Eli eyali takyalaba bulungi olw'amaaso ge agaali gatandise okuyimbaala, yali agalamidde mu kifo kye,
3
ng'ettaala ya Mukama tennazikira. Ne Samweli yali yeebase mu Ssinzizo lya Mukama, omwali Essanduuko ya Katonda.
4
Awo Mukama n'ayita Samweli. Samweli n'ayitaba nti: “Wangi ssebo.”
5
Awo n'adduka n'agenda awali Eli, n'agamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Eli n'agamba nti: “Sikuyise, ddayo weebake.” Samweli n'addayo ne yeebaka.
6
Mukama n'addamu okuyita Samweli. Samweli n'agolokoka n'agenda awali Eli n'agamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Kyokka Eli n'addamu nti: “Mwana wange, sikuyise.”
7
Samweli yali tannaba kumanya Mukama, era Mukama yali tayogerangako na Samweli.
8
Mukama n'ayita Samweli omulundi ogwokusatu. Samweli n'agolokoka n'agenda awali Eli n'agamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Awo Eli n'ategeera nti Mukama ye ayita omwana.
9
Eli kyeyava agamba Samweli nti: “Genda weebake. Bw'anaakuyita, onoogamba nti: ‘Yogera Mukama wange, omuddu wo awulira.’ ” Awo Samweli n'addayo ne yeebaka mu kifo kye.
10
Awo Mukama n'ajja n'ayimirira awo, n'ayita nga mu kusooka nti: “Samweli, Samweli!” Samweli n'addamu nti: “Yogera, omuddu wo awulira.”
11
Mukama n'agamba Samweli nti: “Ŋŋenda okukola ekintu mu Yisirayeli, ekiriwaawaaza amatu ga buli muntu alikiwulira.
12
Ku lunaku olwo ndituukiriza byonna bye nayogera ku b'ennyumba ya Eli, okuva ku kisooka okutuuka ku kisembayo,
13
kubanga nabuulira Eli nti ŋŋenda kuwa ab'ennyumba ye ekibonerezo ekyolubeerera olw'ekibi kye yamanya, olwa batabani be abeeyonoona n'atabaziyiza.
14
Kyenvudde ndayirira ab'ennyumba ya Eli nti emirembe gyonna, ekibi kyabwe tekigenda kuggyibwawo na kiweebwayo wadde ekitambiro.”
15
Samweli ne yeebaka okutuusa enkeera. Bwe yazuukuka n'aggulawo enzigi z'ennyumba ya Mukama. N'atya okubuulira Eli ebyo bye yayolesebwa.
16
Awo Eli n'ayita Samweli n'amugamba nti: “Samweli, mwana wange!” Samweli n'ayitaba nti: “Wangi ssebo.”
17
Eli n'amubuuza nti: “Kiki Mukama kye yakugambye? Nkwegayiridde tokinkisa. Katonda akubonereze n'obukambwe bw'onoobaako ky'onkisa ku ebyo byonna by'akugambye.”
18
Awo Samweli n'amubuulira byonna, n'atabaako ky'amukisa. Eli n'agamba nti: “Ye Mukama, akole nga bw'asiima.”
19
Samweli n'akula, era Mukama n'aba wamu naye. Mukama n'ataganya kigambo kya Samweli na kimu kugwa butaka.
20
Awo Abayisirayeli bonna, okuva e Daani okutuuka e Beruseba, ne bamanya nti Samweli akakasiddwa okuba omulanzi wa Mukama.
21
Mukama n'ayongera okulabikira mu Siilo, gye yeeragira Samweli, era n'ayogera naye. Era Samweli buli kye yayogeranga, ng'Abayisirayeli bonna bakiwuliriza.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31