bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 24
1 Samuel 24
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 25 →
1
Awo Sawulo bwe yakomawo ng'amaze okuwondera Abafilistiya, ne bamubuulira nti: “Dawudi wuuli ali mu Ddungu Engedi.”
2
Sawulo n'alonda mu Yisirayeli yonna abaserikale enkumi ssatu n'agenda okunoonya Dawudi ne basajja be, mu kifo kye bayita Enjazi ez'Empeewo.
3
Awo Sawulo n'atuuka ku mpuku eri okumpi n'ebisibo by'endiga, ku kkubo, n'ayingira omwo okweyamba. Dawudi ne basajja be, baali batudde mu bifo ebyomunda ddala mu mpuku eyo.
4
Basajja ba Dawudi ne bagamba Dawudi nti: “Luno lwe lunaku Mukama lwe yakutegeezaako nti agenda kukugabula omulabe wo, omukoleko ky'oyagala.” Awo Dawudi n'asituka n'agenda, n'asala akatundu ku kirenge ky'ekyambalo kya Sawulo, nga Sawulo tategedde.
5
Naye oluvannyuma Dawudi n'alumwa omwoyo, kubanga yasala akatundu ku kirenge ky'ekyambalo kya Sawulo.
6
N'agamba basajja be nti: “Mukama ambeere, nneme kubaako kabi ke nkola ku mukama wange, Mukama gwe yafukako omuzigo. Siteekwa kumukolako kabi konna, kubanga y'oyo Mukama gwe yafukako omuzigo.”
7
Awo Dawudi n'aziyiza basajja be n'ebigambo ebyo, n'atabakkiriza kukola kabi ku Sawulo. Sawulo n'asituka, n'ava mu mpuku, n'agenda.
8
Oluvannyuma ne Dawudi n'asituka n'ava mu mpuku, n'akoowoola Sawulo nti: “Mukama wange, kabaka!” Awo Sawulo bwe yakyuka, Dawudi n'amuvuunamira ku ttaka.
9
Dawudi n'agamba Sawulo nti: “Lwaki owuliriza abantu abagamba nti njagala okukukolako akabi?
10
Olwaleero weerabiddeko n'amaaso go nti Mukama abadde akungabudde mu mpuku. Wabaddewo abaŋŋambye okukutta, naye nze ne nkuleka. Ne ŋŋamba nti: Sijja kukola kabi ku mukama wange, kubanga y'oyo Mukama gwe yafukako omuzigo.
11
Era, kitange, laba! Yee, laba ekitundu ky'ekirenge eky'ekyambalo kyo mu ngalo zange. Kale kubanga nsaze ku kirenge ky'ekyambalo kyo, ne sikutta, kw'oba omanyira era okakase, nti sikulinaako kabi wadde okwagala okukujeemera. Onjigganya okunzita, newaakubadde sirina kibi kye nali nkukoze.
12
Mukama asale omusango wakati wo nange. Mukama ye aba awoolera eggwanga olw'ebyo by'onkola, naye nze sigenda kukukolako kabi konna.
13
Ng'olugero lw'ab'edda bwe lugamba nti: ‘Omubi ye akola ekibi’, naye nze sigenda kukukolako kabi.
14
Ggwe kabaka wa Yisirayeli, ani gw'ozze okulumba? Ani gw'ozze okuwondera? Owondera embwa efudde! Enkukunyi!
15
Kale Mukama abe mulamuzi, asale omusango gwaffe, ggwe nange. Atunule mu nsonga, ampolereze, anzigye mu mikono gyo.”
16
Awo olwatuuka Dawudi bwe yamala okugamba Sawulo ebigambo ebyo, Sawulo n'agamba nti: “Mwana wange Dawudi, ddala ggwe oyogera?” Sawulo n'atema omulanga, n'akaaba amaziga.
17
N'agamba Dawudi nti: “Ggwe mutuufu, kubanga onkoledde ebirungi, naye nze ne nkusasulamu bibi.
18
Era olwaleero olagidde ddala bw'ompisizza obulungi, kubanga tonzise, nga Mukama angabudde mu mikono gyo.
19
Omuntu bw'asanga omulabe we, amuleka okugenda nga taliiko kabi? Mukama akuwe omukisa olw'ekyo ky'onkoledde olwaleero!
20
Kaakano ntegeeredde ddala nti mazima ojja kuba kabaka, era ng'obwakabaka bwa Yisirayeli bujja kunywezebwa nga ggwe ofuga.
21
Kale nno ndayirira mu linnya lya Mukama nti tolizikiriza zadde lyange nga nvuddewo, era nti togenda kusaanyizaawo ddala linnya lyange n'ery'ab'ennyumba ya kitange.”
22
Dawudi n'alayirira Sawulo bw'atyo. Awo Sawulo n'addayo ewuwe, ne Dawudi ne basajja be ne baddayo mu mpuku.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31