bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 27
1 Samuel 27
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 28 →
1
Awo Dawudi n'alowooza mu mutima gwe nti: “Luliba lumu Sawulo n'anzita. Ekisinga obulungi ka nzirukire mangu mu nsi y'Abafilistiya. Olwo Sawulo alirekera awo okunnoonya mu Yisirayeli, era ndiba n'emirembe.”
2
Awo Dawudi n'asituka ne basajja be olukaaga abaali naye, n'agenda ewa Akisi, mutabani wa Mawoki, kabaka w'e Gaati.
3
Dawudi ne basajja be, ne basenga eyo ne babeera ne Akisi e Gaati, buli omu ng'ali n'ab'omu maka ge. Dawudi yali ne bakazi be bombi: Ahinowamu gwe yawasa e Yezireeli, ne Abigayili nnamwandu wa Nabali ow'e Karumeeli.
4
Sawulo bwe yawulira nti Dawudi addukidde e Gaati, eby'okumunoonya n'abivaako.
5
Awo Dawudi n'agamba Akisi nti: “Bw'oba ng'onsiimye, nzikiriza mbeere mu kamu ku bubuga obw'omu byalo, kubanga ssebo nze omuweereza wo, tewali kintuuza mu kibuga ekikulu awamu naawe.”
6
Awo Akisi n'amuwa akabuga Zikulagi ku lunaku olwo. Era okuva olwo Zikulagi ne kiba kya bakabaka ba Buyudaaya.
7
Dawudi n'abeera mu Filistiya okumala omwaka gumu n'emyezi ena.
8
Awo Dawudi ne basajja be ne bambuka ne balumba Abagesuri n'Abagiruzi n'Abamaleki, okuva edda abaali abatuuze b'omu kitundu ekyo, okuva e Suuri okutuukira ddala ku nsalo ne Misiri.
9
Dawudi ensi eyo n'agizikiriza n'atalekaamu musajja, wadde omukazi, n'anyaga endiga n'ente n'endogoyi n'eŋŋamiya, n'ebyambalo, n'alyoka addayo ewa Akisi.
10
Akisi n'amubuuza nti: “Walumbye kitundu ki leero?” Dawudi n'addamu nti: “Nalumbye kitundu eky'ebukiikaddyo obwa Buyudaaya, n'ekitundu eky'ebukiikaddyo eky'Abayerameeli, n'ekitundu eky'ebukiikaddyo eky'Abakeeni.”
11
Dawudi n'atalekanga musajja wadde omukazi nga mulamu waleme kubaawo aleeta mawulire e Gaati, ng'agamba nti: “Sikulwa nga batuloopa nga bagamba nti: ‘Dawudi yakola bw'ati ne bw'ati.’ ” Bw'atyo Dawudi bwe yakolanga ebbanga lyonna lye yamala mu nsi y'Abafilistiya.
12
Awo Akisi ne yeesiga Dawudi, ng'agamba nti: “Ddala yeekyayisizza abantu be Abayisirayeli, ajja kubeeranga muweereza wange ennaku zonna.”
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31