bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 4
1 Samuel 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 5 →
1
Awo Abayisirayeli ne bagenda okulwana n'Abafilistiya. Ne basiisira okumpi ne Ebenezeri; Abafilistiya ne basiisira mu Afeki.
2
Abafilistiya ne beetereeza ne balumba Abayisirayeli. Olutalo bwe lwanyinnyittira, Abafilistiya ne bawangula Abayisirayeli, ne babattamu abantu ng'enkumi nnya mu ddwaniro.
3
Abayisirayeli bwe baatuuka mu lusiisira, abakulu baabwe ne beebuuza nti: “Lwaki olwaleero Mukama akkirizza Abafilistiya okutuwangula? Tugende e Siilo tuggyeyo Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama, tugireete we tuli ebeere wamu naffe, etuwonye abalabe baffe.”
4
Awo ne batuma ababaka e Siilo ne baggyayo Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama Nnannyinimagye, atuula ku bakerubi. Ne batabani ba Eli bombi Hofuni ne Finehaasi bajja n'abaaleeta Essanduuko y'Endagaano ya Katonda.
5
Awo Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama bwe yatuuka mu lusiisira, Abayisirayeli bonna ne baleekaana nnyo, n'ensi n'ekankana.
6
Abafilistiya bwe baawulira okuleekaana okwenkanidde awo, ne beebuuza nti: “Okuleekaana ennyo okwenkanidde awo mu lusiisira lw'Abeebureeyi, kutegeeza ki?” Ne bategeera ng'Essanduuko ya Mukama etuuse mu lusiisira.
7
Awo Abafilistiya ne batya, ne bagamba nti: “Lubaale azze mu lusiisira! Zitusanze ffe, kubanga ekiri ng'ekyo tekibangawo.
8
Zitusanze! Ani ayinza okutuwonya balubaale abo ab'amaanyi? Abo be balubaale abaabonyaabonya Abamisiri mu ddungu n'ebibonoobono ebya buli ngeri.
9
Mmwe Abafilistiya, muddeemu amaanyi, mulwane masajja, muleme kuba baddu b'Abeebureeyi, nga bo bwe baali abaddu bammwe, Mugume mulwane masajja!”
10
Abafilistiya ne balwana, ne bawangula Abayisirayeli. Abayisirayeli ne badduka buli omu n'addayo mu maka ge. Abantu bangi ne battibwa. Abayisirayeli ne bafaamu abaserikale emitwalo esatu ab'ebigere.
11
Essanduuko ya Mukama n'enyagibwa, ne batabani ba Eli bombi Hofuni ne Finehaasi ne battibwa.
12
Awo omusajja ow'omu Kika kya Benyamiini, n'ava mu ddwaniro, n'adduka okutuuka e Siilo ku lunaku olwo, ng'ayuzizza ebyambalo bye, era ng'asiize ettaka mu mutwe gwe okulaga okunakuwala.
13
Okutuuka, yasanga Eli atudde mu ntebe ye, okumpi n'ekkubo, nga yeekaliriza amaaso era nga yeeraliikirira olw'Essanduuko ya Katonda. Awo omusajja oyo bwe yatuuka mu kibuga, n'awa abaamu amawulire, abantu bonna ne baleekaana.
14
Eli bwe yawulira okuleekaana n'abuuza nti: “Oluyoogaano olwo lwaki?” Awo omusajja n'ayanguwa n'ajja n'amubuulira.
15
Eli yali awezezza emyaka kyenda mu munaana, n'amaaso ge gaali gayimbadde, nga takyayinza kulaba.
16
Omusajja n'agamba Eli nti: “Nze nvudde mu ddwaniro, era nziruseeyo lwaleero.” Eli n'amubuuza nti: “Mwana wange, byagenze bitya?”
17
Eyaleeta amawulire n'amuddamu nti: “Abayisirayeli badduse Abafilistiya, era abantu bangi nnyo abattiddwa. Ne batabani bo bombi Hofuni ne Finehaasi, battiddwa era n'Essanduuko ya Katonda enyagiddwa.”
18
Awo bwe yayogera ku Ssanduuko ya Katonda, Eli n'awanuka ku ntebe, n'agwa bugazi okumpi n'omulyango. Nga bwe yali mukadde era nga munene, bwe yagwa yamenyeka ensingo, n'afa. Yali alamulidde Yisirayeli emyaka amakumi ana.
19
Awo mukaamwana wa Eli, muka Finehaasi, yali lubuto lukulu ng'anaatera okuzaala. Bwe yawulira nti Essanduuko ya Katonda enyagiddwa, era nga ssezaala we ne bba bafudde, n'ajjirwa okulumwa okuzaala n'afukamira n'azaala.
20
Bwe yali ng'anaatera okufa, abakyala abaali bamulabirira ne bamugamba nti: “Totya, kubanga ozadde omwana wa bulenzi.” Kyokka ye teyabaddamu era teyafaayo.
21
Omwana n'amutuuma erinnya, Yikabodi ng'agamba nti: “Yisirayeli aggyiddwako ekitiibwa,” kubanga Essanduuko ya Katonda yali enyagiddwa, era ssezaala we ne bba nga bafudde.
22
Awo n'agamba nti: “Yisirayeli aggyiddwako ekitiibwa, kubanga Essanduuko ya Katonda enyagiddwa.”
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31