bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 26
1 Samuel 26
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 27 →
1
Awo ab'e Zifu ne bajja eri Sawulo e Gibeya, ne bamubuulira nti Dawudi yeekwese ku Lusozi Hakila, ku njegoyego z'eddungu ly'e Buyudaaya.
2
Awo Sawulo n'asituka n'aserengeta mu ddungu ly'e Zifu ng'alina abaserikale Abayisirayeli enkumi ssatu abalondemu, ng'agenze okunoonya Dawudi mu ddungu eryo.
3
N'asiisira ku mabbali g'ekkubo ku lusozi Hakila, oluli ku njegoyego z'eddungu ly'e Buyudaaya. Dawudi yali mu ddungu, n'alaba nga Sawulo atuuse mu ddungu amunoonya.
4
Dawudi kyeyava atuma abakessi, n'akakasa nti ddala Sawulo atuuse.
5
Awo Dawudi n'asituka n'ajja mu kifo Sawulo we yali asiisidde. N'alaba Sawulo we yeebase, wamu ne Abuneeri mutabani wa Neeri, era omukulu w'eggye lya Sawulo. Sawulo yali agalamidde munda mu lusiisira, nga basajja be basiisidde okumwetooloola.
6
Awo Dawudi n'abuuza Ahimeleki Omuhiiti, ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya nti: “Ani anaaserengeta nange eri Sawulo mu lusiisira?” Abisaayi n'addamu nti: “Nze nnaaserengeta naawe.”
7
Ekiro Dawudi ne Abisaayi ne bayingira mu lusiisira lwa Sawulo, ne basanga Sawulo ng'agalamidde, yeebase munda mu lusiisira, effumu lye nga lisimbiddwa emitwetwe we. Abuneeri n'ab'eggye baali beebase okwetooloola Sawulo.
8
Abisaayi n'agamba Dawudi nti: “Katonda agabudde omulabe wo mu mikono gyo olwaleero. Kale leka mmufumite effumu omulundi gumu, limuyitemu likwase n'ettaka, era sijja kufumita gwakubiri.”
9
Naye Dawudi n'agamba Abisaayi nti: “Tomuzikiriza. Ddala ani ayinza okukola akabi ku oyo Mukama gwe yafukako omuzigo, n'atabaako musango?”
10
Dawudi era n'agamba nti: “Nga Mukama bw'ali omulamu, Mukama ye alimutta, oba entuuko ze ez'okufa ze zirituuka n'afa, oba aligenda mu lutalo n'afiirayo.
11
Kikafuuwe nze okukola akabi ku muntu Mukama gwe yafukako omuzigo. Kaakano kwata effumu eriri emitwetwe we, n'ensumbi y'amazzi, tuve wano.”
12
Awo Dawudi n'atwala effumu n'ensumbi y'amazzi, ng'abiggya kumpi ddala n'omutwe gwa Sawulo, ne bagenda. Tewaali n'omu eyalaba kino oba eyakimanya, wadde eyazuukuka, kubanga bonna baali beebase nnyo. Mukama ye yabeebasa otulo otwo otungi.
13
Awo Dawudi n'agenda emitala w'eri n'ayimirira wala ku ntikko y'olusozi, ng'abeesuddeko ebbanga ddene.
14
N'akoowoola ab'omu ggye ne Abuneeri mutabani wa Neeri nti: “Owange ggwe Abuneeri! Toyitaba?” Abuneeri n'abuuza nti: “Ani oyo aleekaana anaazuukusa kabaka?”
15
Dawudi n'agamba Abuneeri nti: “Toli musajja? Era ani akwenkana mu Yisirayeli! Kale lwaki tokuumye mukama wo kabaka? Waliwo omuntu ayingidde okuzikiriza kabaka mukama wo.
16
Kino ky'okoze si kirungi! Nga Mukama bw'ali omulamu musaanidde okufa, kubanga temukuumye mukama wammwe, Mukama gwe yafukako omuzigo. Kaakano mutunule mulabe, effumu lya kabaka n'ensumbi ebibadde emitwetwe we, biri ludda wa?”
17
Sawulo n'amanya nti eryo eddoboozi lya Dawudi, n'abuuza nti: “Eryo ddoboozi lyo, mwana wange Dawudi?” Dawudi n'addamu nti: “Nze njogera mukama wange, ayi kabaka.”
18
Dawudi era n'agamba nti: “Mukama wange, onjigganyiza ki nze omuweereza wo? Nkoze ki? Oba musango ki gwe nzizizza?
19
Kale ayi kabaka, nkwegayiridde, mukama wange, owulire ebigambo byange, nze omuweereza wo. Mukama bw'aba nga ye yakulagira okunjigganya, akkirize mmuwe ekiweebwayo. Naye bwe baba nga bantu, bakolimirwe mu maaso ga Mukama, kubanga kaakano bangobye okuva mu nsi ya Mukama, nga bagamba nti: ‘Genda oweereze balubaale.’
20
Kale omusaayi gwange guleme kuyiibwa mu nsi Mukama mw'atali. Kabaka wa Yisirayeli, azze okunoonya nze enkukunyi, ng'omuntu bw'ayiggira enkwale ku nsozi.”
21
Awo Sawulo n'addamu nti: “Nkoze bubi, komawo mwana wange Dawudi! Sigenda kwongera kukukolako kabi nate, kubanga otalizza obulamu bwange olwaleero. Ddala mbadde musiru era nsobezza nnyo nnyini.”
22
Dawudi n'addamu nti: “Effumu lyo liirino, ayi kabaka! Omu ku bavubuka ajje alinone.
23
Mukama asasule buli muntu ng'obutuukirivu bwe n'obwesigwa bwe bwe buli. Olwaleero Mukama yakuwaddeyo mu mikono gyange, naye ne sikukolako kabi kubanga Mukama yakufukako omuzigo.
24
Nga bwe ntalizza obulamu bwo olwaleero, ne Mukama atalize obulamu bwange, era ampise mu bizibu byonna.”
25
Sawulo n'agamba Dawudi nti: “Oweebwe omukisa mwana wange! Olikola eby'amaanyi, era tolirema kuwangula.” Awo Dawudi n'akwata amakubo ge, ne Sawulo n'addayo mu lubiri lwe.
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31