bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 12
1 Samuel 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 13 →
1
Awo Samweli n'agamba Abayisirayeli bonna nti: “Mpulirizza byonna bye muŋŋamba, era mbateereddewo kabaka ow'okubafuga.
2
Kaakano wuuyo abakulemberenga. Nze ndi mukadde ow'envi, era mulaba batabani bange abali nammwe. Mbakulembedde okuva mu buvubuka bwange n'okutuuka kati.
3
Nzuuno, munnumirize mu maaso ga Mukama ne mu maaso g'oyo gwe yanfukako omuzigo. Ani gwe nanyagako ente ye? Oba ani gwe nanyagako endogoyi ye? Era ani gwe nali ndyazaamaanyizza? Oba ani gwe nali njooze? Oba ani gwe nalyako enguzi okunziba amaaso? Bwe mba nga nnina ku ebyo kye nakola, nja kubibaddizaawo.”
4
Ne bagamba nti: “Totulyazaamaanyanga, totujooganga era totwalanga kintu kya muntu n'omu.”
5
Samweli n'abagamba nti: “Mukama ye mujulirwa abalumiriza, n'oyo gwe yafukako omuzigo ye mujulirwa olwaleero, nga temulabye kintu kye nali ntutte.” Ne baddamu nti: “Ye mujulirwa.”
6
Samweli era n'agamba abantu nti: “Mukama ye yassaawo Musa ne Arooni, era ye yaggya bajjajjammwe mu nsi y'e Misiri.
7
Kale nno kaakano muyimirire mbalumirize mu maaso ga Mukama olw'ebirungi byonna Mukama bye yabakolera mmwe ne bajjajjammwe.
8
Yakobo bwe yagenda e Misiri, bajjajjammwe ne bakaabirira Mukama, Mukama n'atuma Musa ne Arooni, ne baggya bajjajjammwe e Misiri, ne babasenza mu nsi eno.
9
Naye bajjajjammwe ne beerabira Mukama Katonda waabwe, n'abawaayo mu mikono gya Sisera omukulu w'eggye ly'ekibuga Hazori, ne mu mikono gy'Abafilistiya, ne mu mikono gya kabaka wa Mowaabu, ne babalwanyisa.
10
Awo bajjajjammwe ne bakaabirira Mukama, ne bagamba nti: ‘Twakola ebibi, kubanga twalekawo Mukama, ne tuweereza balubaale Baali ne Asitarooti. Naye kaakano tukwegayiridde otuwonye abalabe baffe, kale tunaakuweerezanga.’
11
Awo Mukama n'atuma Yerubbaali ne Bedani, ne Yefuta; ne Samweli, n'abawonya mmwe abalabe bammwe ababeetoolodde, ne mubeera mirembe.
12
Ne mugaana Mukama Katonda wammwe okuba kabaka wammwe, ne muŋŋamba nti: ‘Twagala kabaka ye aba atufuga.’
13
“Kale kaakano kabaka gwe mulonze wuuno. Mwamusaba, era wuuno Mukama amubawadde okubafuga.
14
Bwe munassangamu Mukama ekitiibwa, ne mumuweerezanga, ne muwulirizanga eddoboozi lye, ne mutajeemeranga biragiro bye, era mmwe ne kabaka wammwe abafuga, bwe munaagobereranga Mukama Katonda wammwe, byonna binaabagenderanga bulungi.
15
Naye bwe mutaawulirizenga ddoboozi lya Mukama, ne mumala mujeemera ebiragiro bye, Mukama anaabalwanyisanga mmwe, nga bwe yalwanyisanga bajjajjammwe.
16
Kale nno kaakano muyimirire mulabe Mukama ky'agenda okukola mu maaso gammwe.
17
Ekiseera kino kya makungula ga ŋŋaano. Naye ŋŋenda okusaba Mukama aleete okubwatuka, atonnyese enkuba mulyoke mumanye era mulabe ng'ekibi kyammwe kye mwakola mu maaso ga Mukama, Mukama okumusaba kabaka, kinene.”
18
Awo Samweli n'asaba Mukama. Mukama n'aleeta okubwatuka, era n'atonnyesa enkuba ku lunaku olwo. Abantu bonna ne batya nnyo Mukama ne Samweli,
19
ne bagamba Samweli nti: “Ffe abaweereza bo, tusabire eri Mukama Katonda wo, tuleme okufa, kubanga ku bibi byaffe ebingi, twayongerako na kino eky'okwesabira kabaka.”
20
Samweli n'agamba abantu nti: “Temutya. Mukoze ekibi ekyenkanidde awo, naye temukyamanga ne mulekayo okugobereranga Mukama, wabula mumuweerezenga n'omutima gwammwe gwonna.
21
Era temukyamanga ne mugoberera ebitaliimu nsa, ebitayinza kugasa, wadde kuwonya, kubanga tebiriimu nsa.
22
Mukama, olw'erinnya lye ekkulu, tagenda kubaabulira mmwe, kubanga yasiima okubafuula eggwanga lye.
23
Era kikafuuwe nze okukola ekibi ne nnyiiza Mukama nga ndekayo okubasabira. Naye nja kubayigirizanga ekirungi era ekituufu kye muteekwa okukola.
24
Kale mussengamu Mukama ekitiibwa, mumuweerezenga mu bwesigwa n'omutima gwammwe gwonna, nga mujjukira ebintu ebikulu by'abakoledde.
25
Naye bwe muneeyongera okukola ebibi, mujja kuzikirira mmwe, era ne kabaka wammwe.”
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31