bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 29
1 Samuel 29
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 30 →
1
Abafilistiya ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe lyonna ku Afeki. Abayisirayeli bo ne basiisira okuliraana oluzzi lw'e Yezireeli.
2
Abafuzi b'Abafilistiya bwe baayitawo n'ebibinja byabwe eby'abasajja olukumi lukumi n'eby'ekikumi kikumi, Dawudi ne basajja be wamu ne Akisi, nabo ne bayitawo nga be basembayo.
3
Abaduumizi b'Abafilistiya ne babagamba nti: “Abeebureeyi bano bakola ki wano?” Akisi n'agamba abaduumizi b'Abafilistiya nti: “Ono ye Dawudi omuweereza wa Sawulo kabaka wa Yisirayeli. Abadde nange okumala ebbanga ddene, era sirina kibi kye nali mmulabyeko, okuva lwe yansenga n'okutuusa kati.”
4
Naye abaduumizi b'Abafilistiya ne basunguwalira Akisi, ne bamugamba nti: “Lagira omusajja oyo addeyo mu kifo kye wamuwa, aleme kugenda naffe mu lutalo, sikulwa ng'atuuka mu lutalo n'afuuka omulabe waffe. Ogamba omusajja ono tajja kwetabaganya ne mukama we ng'awaayo mitwe gy'abaserikale baffe?
5
Ono si ye Dawudi gwe baayimbanga nga bazina, nga bagamba nti: ‘Sawulo yatta nkumi, sso Dawudi mitwalo’ ”
6
Akisi n'ayita Dawudi n'amugamba nti: “Mukama nga bw'ali omulamu, obadde mwesigwa. Ku lwange ndaba nga kirungi okukuleka ne tugenda ffenna mu lutalo, kubanga sikulabangako nsobi okuva lwe wajja gye ndi n'okutuusa kati. Naye abafuzi abalala tebakwagala.
7
Kale kaakano ddayo, ogende mirembe, oleme okunyiiza abafuzi b'Abafilistiya.”
8
Dawudi n'agamba Akisi nti: “Naye nkoze ki? Oba kiki kye wali ondabyeko nze omuweereza wo, okuva ku lunaku lwe natandika okukuweereza n'okutuusa kati, ekinziyiza okugenda ne nnwanyisa abalabe bo, mukama wange kabaka?”
9
Akisi n'addamu Dawudi nti: “Mmanyi ng'oli mulungi mu maaso gange nga malayika wa Katonda. Naye abaduumizi b'Abafilistiya bagambye nti: ‘Tojja kugenda naffe mu lutalo.’
10
Kale nno enkya, ggwe n'abaweereza ba mukama wo, abajja naawe, mujja kuzuukuka mu makya, mugende amangu ddala ng'obudde bwakalaba.”
11
Awo Dawudi ne basajja be ne bazuukuka mu makya, ne bakeera okuddayo mu nsi y'Abafilistiya. Bo Abafilistiya ne bambuka e Yezireeli.
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 30 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31