bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 28
1 Samuel 28
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 29 →
1
Awo olwatuuka mu nnaku ezo Abafilistiya ne bakuŋŋaanya eggye lyabwe, okulwanyisa Abayisirayeli. Akisi n'agamba Dawudi nti: “Kimanyire ddala nti ggwe ne basajja bo mujja kugenda nange mu lutalo.”
2
Dawudi n'agamba nti: “Kale, onoomanya nze omuweereza wo, kye nnyinza okukola.” Akisi n'agamba Dawudi nti: “Kale nja kukufuula omukuumi wange ow'olubeerera.”
3
Awo Samweli yali afudde. Abayisirayeli bonna baali bamukungubagidde, era nga bamuziise mu kibuga kye e Raama. Sawulo yali agobye abalaguzi n'abasamize mu ggwanga.
4
Awo Abafilistiya ne bakuŋŋaana, ne bajja ne basiisira e Sunemu. Sawulo n'akuŋŋaanya Abayisirayeli bonna ne basiisira e Gilubowa.
5
Sawulo bwe yalaba eggye ly'Abafilistiya, n'atya n'akankana nnyo.
6
Awo Sawulo ne yeebuuza ku Mukama, kyokka Mukama n'atamuddamu, wadde mu birooto wadde mu kukozesa Wurimu wadde ng'ayita mu balanzi.
7
Awo Sawulo n'agamba abaweereza be nti: “Munnoonyeze omukazi omusamize ŋŋende mmwebuuzeeko.” Abaweereza be ne bamugamba nti: “Waliwo omukazi omusamize abeera mu Endori.”
8
Awo Sawulo ne yeefuusa, n'ayambala ebyambalo ebirala. N'agenda ne basajja be babiri eri omukazi oyo ekiro, n'agamba nti: “Nkwegayiridde ndagula nga weebuuza ku mizimu era ompitire omuzimu gw'omuntu oyo, gwe nnaayogera erinnya.”
9
Omukazi n'amugamba nti: “Omanyi bulungi Sawulo kye yakola, bwe yamalawo abalaguzi n'abasamize mu Yisirayeli. Kale kaakano lwaki ogezaako okunkema, n'okunsuula mu mutego okunzisa?”
10
Sawulo n'amulayirira Mukama, ng'agamba nti: “Nga Mukama bw'ali omulamu, tojja kubonerezebwa olw'okukola kino.”
11
Omukazi n'amugamba nti: “Nkuyitire ani?” N'amugamba nti “Mpitira Samweli.”
12
Awo omukazi bwe yalaba Samweli, n'akaaba mu ddoboozi ery'omwanguka, n'agamba Sawulo nti: “Onnimbidde ki? Ye ggwe Sawulo!”
13
Kabaka n'amugamba nti: “Totya! Olaba ki?” Omukazi n'addamu nti: “Ndaba lubaale ng'ava mu ttaka ayambuka.”
14
N'amubuuza nti: “Afaanana atya?” Omukazi n'addamu nti: “Musajja mukadde ye ayambuka, era yeesuuliddeko omunagiro.” Awo Sawulo n'amanya nti ye Samweli, n'avuunama ku ttaka okumuwa ekitiibwa.
15
Samweli n'abuuza Sawulo nti: “Lwaki ontawaanyizza ng'ompita okuva emagombe?” Sawulo n'addamu nti: “Neeraliikiridde nnyo! Abafilistiya bannwanyisa, ate Katonda andeseewo, era takyanziramu newaakubadde mu balanzi, wadde mu birooto. Kyenvudde nkuyita ombuulire kye mba nkola.”
16
Awo Samweli n'agamba nti: “Lwaki obuuza nze nga Mukama akuleseewo, era ng'afuuse mulabe wo?
17
Mukama yennyini akoze kye yakugamba ng'ayita mu nze. Akuggyeeko obwakabaka bwo, n'abuwa munno Dawudi,
18
kubanga wajeemera ekiragiro kya Mukama n'otatuukiriza busungu bwe obungi ku Bamaleki, kyavudde akukolako ekyo kaakano.
19
N'ekirala, ggwe n'Abayisirayeli Mukama ajja kubawaayo mu mikono gy'Abafilistiya. Enkya ggwe ne batabani bo mujja kuba nange, era Mukama anaawaayo eggye lya Yisirayeli mu mikono gy'Abafilistiya.”
20
Amangwago Sawulo n'agwa ku ttaka, n'alambaala, ng'atidde nnyo olw'ebyo Samweli bye yayogera. N'aggweeramu ddala amaanyi, kubanga yali talina ky'alidde olunaku lwonna emisana n'ekiro.
21
Omukazi n'asembera awali Sawulo, n'alaba nga Sawulo atidde nnyo. N'amugamba nti: “Nze omuweereza wo, nawulidde ky'oŋŋamba ne nneewaayo, ne nkukolera kye wansabye.
22
Kale kaakano nkwegayiridde, naawe okole kye nkusaba. Kkiriza nteeke akamere mu maaso go, olye lw'onoofuna amaanyi ag'okutambula ogende.”
23
Sawulo n'agaana, n'agamba nti: “Sijja kulya!” Kyokka abaweereza be awamu n'omukazi, ne bamuwaliriza, n'akkiriza kye bamugamba. Awo n'asituka n'ava ku ttaka, n'atuula ku kitanda.
24
Omukazi yalinawo ennyana eyassava mu nnyumba. N'ayanguwa n'agitta. N'atoola n'eŋŋaano, n'agigoya, n'afumbamu omugaati ogutazimbulukusiddwa.
25
N'abireetera Sawulo n'abaweereza be, ne balya. Ne basituka ne bagenda ekiro ekyo.
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31