bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 7
1 Samuel 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 8 →
1
Awo abantu b'e Kiriyati Yeyariimu ne banona Essanduuko ya Mukama, ne bagitwala mu nnyumba ya Abinadabu, eyali ku kasozi. Ne baawula mutabani we Eleyazaari okugikuumanga.
2
Ssanduuko ya Mukama, n'ebeera mu Kiriyati Yeyariimu, okumala ekiseera kiwanvu: gyali emyaka amakumi abiri. Ekiseera ekyo, Abayisirayeli bonna ne bakimala nga bakaabirira Mukama abayambe.
3
Awo Samweli n'agamba Abayisirayeli bonna nti: “Mukyuke mudde eri Mukama n'emitima gyammwe gyonna. Muggyewo balubaale bonna, n'ebifaananyi bya lubaale omukazi Asitarooti. Mweweereyo ddala eri Mukama, era gwe muba muweereza yekka, alibawonya Abafilistiya.”
4
Awo Abayisirayeli ne baggyawo ebifaananyi bya balubaale, Baali ne Asitarooti, ne baweereza Mukama yekka.
5
Awo Samweli n'agamba nti: “Mukuŋŋaanye Abayisirayeli bonna, bajje e Mizupa, mbasabire eri Mukama.”
6
Ne bakuŋŋaanira e Mizupa, ne basena amazzi era ne bagayiwa ku ttaka, nga go kye kiweebwayo eri Mukama. Ne basiiba ku lunaku olwo. Ne bagamba nti: “Twakola ekibi eri Mukama.” Eyo e Mizupa Samweli gye yalamulira Abayisirayeli.
7
Abafilistiya bwe baawulira nti Abayisirayeli bakuŋŋaanidde e Mizupa, abakulembeze b'Abafilistiya ne bajja okulumba Abayisirayeli. Abayisirayeli bwe baakiwulira ne batya Abafilistiya.
8
Ne bagamba Samweli nti: “Nyiikirira okwegayirira Mukama Katonda waffe, atuwonye obulumbaganyi bw'Abafilistiya.”
9
Awo Samweli n'addira endiga ento ekyayonka, n'agiwaayo, nga kye kiweebwayo ekyokebwa eri Mukama. N'akaabirira Mukama ng'amusaba ayambe Abayisirayeli, era Mukama n'amuwa ky'amusaba.
10
Samweli bwe yali awaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Abafilistiya ne basemberera Abayisirayeli babalwanyise. Naye Mukama n'abwatukira Abafilistiya n'eddoboozi ery'amaanyi ku lunaku olwo. Abafilistiya ne babutaabutana olw'okutya, era ne badduka Abayisirayeli.
11
Abayisirayeli ne bava e Mizupa, ne bawondera Abafilistiya, okutuuka e Betikari, nga bagenda babatta.
12
Awo Samweli n'addira ejjinja, n'alisimba wakati wa Mizupa ne Seni, n'alituuma erinnya Ebenezeri ng'agamba nti: “Mukama atuyambye, okutuusa kaakano.”
13
Bwe batyo Abafilistiya ne bawangulwa, era Mukama n'atabaganya kulumba nsi ya Bayisirayeli ebbanga lyonna, Samweli lye yamala nga mulamu.
14
Ebibuga byonna Abafilistiya bye baali bawambye ku Bayisirayeli, ebiri wakati wa Ekurooni ne Gaati, ne bibaddira. Bwe batyo Abayisirayeli ne beddiza ebitundu byabwe byonna, okuva ku Bafilistiya. Era ne wabaawo emirembe wakati w'Abayisirayeli n'Abaamori.
15
Samweli n'alamula Yisirayeli ennaku zonna ez'obulamu bwe.
16
Buli mwaka yagendanga e Beteli n'e Gilugaali n'e Mizupa n'alamuliranga emisango gy'Abayisirayeli mu bifo ebyo.
17
N'addangayo e Raama, kubanga amaka ge gye gaabeeranga. N'alamuliranga eyo Yisirayeli, era n'azimbayo alutaari ya Mukama.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31