bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 16
1 Samuel 16
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 17 →
1
Mukama n'agamba Samweli nti: “Olituusa wa okunakuwala olwa Sawulo, nga nze mmaze okumugoba ku bwa kabaka bwa Yisirayeli? Jjuza ejjembe lyo omuzigo, ojje nkutume ewa Yesse Omubetilehemu, kubanga nneesimiidde omu ku batabani be ne mmulonda okuba kabaka.”
2
Samweli n'agamba nti: “Nnyinza ntya okugenda? Sawulo bw'anaakiwulira ajja kunzita!” Mukama n'amugamba nti: “Twala ennyana y'ente, ogende nayo, ogambe nti: ‘Nzize okuwaayo ekitambiro eri Mukama.’
3
Awo oyite Yesse ku kitambiro, era awo ndikubuulira eky'okukola. Ofuke omuzigo ku oyo, gwe nnaakugamba okugufukako.”
4
Awo Samweli n'akola ekyo Mukama kye yagamba, n'ajja e Betilehemu. Abakulu b'ekibuga ne bajja okumusisinkana nga bakankana, ne bagamba nti: “Ozze lwa mirembe?”
5
N'agamba nti: “Lwa Mirembe. Nzize okuwaayo ekitambiro eri Mukama. Mwetukuze mujje nange ku kitambiro.” N'atukuza Yesse wamu ne batabani be, n'abayita ku kitambiro.
6
Awo Yesse ne batabani be bwe baatuuka, Samweli n'atunuulira Eliyaabu, n'agamba nti: “Ono ayimiridde mu maaso ga Mukama, ddala y'oyo Mukama gw'anaafukako omuzigo.”
7
Naye Mukama n'agamba Samweli nti: “Totunuulira ndabika ye, wadde obuwanvu bwe, kubanga oyo mmugaanyi. Nze Mukama okulaba okwange tekuli nga kwa bantu. Abantu batunuulira bya kungulu, naye nze ntunuulira kiri mu mutima.”
8
Awo Yesse n'ayita Abinadabu, n'amuyisa mu maaso ga Samweli. Samweli n'agamba nti: “Era n'oyo Mukama tamulonze.”
9
Awo Yesse n'ayisaawo Samma. Samweli n'agamba nti: “Era n'oyo Mukama tamulonze.”
10
Yesse n'ayisa batabani be musanvu mu maaso ga Samweli. Samweli n'agamba Yesse nti: “Mukama talonze abo.”
11
Samweli n'agamba Yesse nti: “Batabani bo bonna weebali wano?” Yesse n'agamba nti: “Ekyasigaddeyo asembayo obuto, ali eyo alunda ndiga.” Samweli n'amugamba nti: “Tuma bamuleete. Tetujja kutuula okutuusa ng'azze wano.”
12
Awo Yesse n'amutumya, n'amuyingiza. Yali mumyufu, nga wa maaso malungi, era nga mulungi mu ndabika ye. Mukama n'agamba Samweli nti: “Situka omufukeko omuzigo, kubanga ye wuuyo.”
13
Awo Samweli n'alyoka addira ejjembe ery'omuzigo, n'amufukako omuzigo ng'ali mu baganda be wakati. Mwoyo wa Mukama n'akka ku Dawudi n'amaanyi, era Mwoyo oyo n'abeeranga naye okuva ku lunaku olwo. Awo Samweli n'asituka n'agenda e Raama.
14
Mwoyo wa Mukama n'ava ku Sawulo, omwoyo omubi ogwasindikibwa Mukama, ne gumubonyaabonya.
15
Abaweereza ba Sawulo ne bamugamba nti: “Omwoyo ogusindikiddwa Katonda guuguno gukubonyaabonya.
16
Kale mukama waffe, kaakano tulagire ffe abaweereza bo, abali mu maaso go, tunoonye omuntu omukugu mu kukuba ennanga. Awo omwoyo ogwo omubi ogusindikiddwa Katonda bwe gunaakujjangako, omuntu oyo anaakubanga ennanga, n'obeeranga bulungi.”
17
Sawulo n'agamba abaweereza be nti: “Munfunire nno omuntu ayinza okukuba obulungi ennanga, mumundeetere.”
18
Awo omu ku bavubuka n'addamu ng'agamba nti: “Nze nalabayo mutabani wa Yesse Omubetilehemu, omukugu mu kukuba, ow'amaanyi era omulwanyi omuzira, omwogezi omulungi, ng'era alabika bulungi, nga ne Mukama ali wamu naye.”
19
Awo Sawulo kyeyava atumira Yesse ababaka n'agamba nti: “Mpeereza Dawudi mutabani wo, alunda endiga.”
20
Yesse n'addira endogoyi, n'agitikka emigaati, n'omwana gw'embuzi, n'ensawo ey'eddiba erimu omwenge ogw'emizabbibu, n'abikwasa mutabani we Dawudi, abitwalire Sawulo.
21
Dawudi n'ajja ewa Sawulo, n'atandika okumuweereza. Sawulo n'amwagala nnyo, era n'amulonda okukwatanga ebyokulwanyisa bye.
22
Sawulo n'atumira Yesse ng'agamba nti: “Dawudi mukkirize abeerenga wano, ng'ampeereza, kubanga mmwagadde nnyo.”
23
Omwoyo omubi ogwasindikibwa Katonda buli lwe gwatawaanyanga Sawulo, nga Dawudi akwata ennanga ng'akuba, olwo omwoyo omubi nga guva ku Sawulo, n'akkakkana, n'aba bulungi.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31