bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 8
1 Samuel 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 9 →
1
Awo Samweli bwe yakaddiwa, n'afuula batabani be abalamuzi ba Yisirayeli.
2
Erinnya lya mutabani we omukulu nga ye Yoweeli, n'owookubiri nga ye Abiya. Baali balamuzi mu Beruseba.
3
Naye batabani ba Samweli ne batagoberera kyakulabirako kya kitaabwe, ne beemaliranga mu kufuna nsimbi na kulya nguzi, n'emisango ne batagisalanga mu bwenkanya.
4
Abakulembeze ba Yisirayeli bonna ne bakuŋŋaana, ne bagenda eri Samweli e Raama.
5
Ne bamugamba nti: “Okaddiye, ne batabani bo tebakyagoberera bikolwa byo. Kale tulondere kabaka, tufugibwe ng'amawanga amalala.”
6
Eky'okugamba nti: “Tuwe kabaka atulamulenga,” ne kinyiiza Samweli. Samweli n'akyebuuza ku Mukama.
7
Mukama n'agamba Samweli nti: “Wuliriza ebyo byonna abantu bye bakugamba, kubanga tebagaanye ggwe, wabula bagaanye nze okuba kabaka waabwe.
8
Okusinziira ku kye babadde bakola okuva lwe nabaggya e Misiri n'okutuusa ku lunaku lwa leero, nga banvaako ne baweereza balubaale, naawe kye bakukola.
9
Kale nno kaakano bawulirize, naye obannyonnyolere ddala engeri kabaka alibafuga gy'alibayisaamu.”
10
Awo Samweli n'abuulira abaamusaba kabaka, ebyo byonna Mukama by'amugambye.
11
N'abannyonnyola nti: “Eno ye ngeri kabaka wammwe gy'alibayisaamu: batabani bammwe alibayingiza mu magye ge, abamu ne bakola mu magaali ge, abalala ne beebagala embalaasi ze, n'abalala nga ba bigere, abakulemberamu amagaali ge.
12
Abamu alibalonda okuba abaduumizi b'ebibinja by'abaserikale olukumi lukumi, n'abalala okuduumira ebibinja by'abaserikale amakumi ataano ataano. Era abamu balirima ennimiro ze, ne bakungula ebirime bye, abalala ne baweesa ebyokulwanyisa, n'ebikozesebwa ku magaali ge.
13
Kabaka alitwala bawala bammwe okumukoleranga ebyobuwoowo, n'okumufumbiranga emmere n'emigaati.
14
Alitwala ennimiro zammwe ez'emizabbibu n'ez'emizayiti ezisinga obulungi, n'aziwa abaweereza be.
15
Alitwala ekitundu kimu kya kkumi eky'emmere yammwe ey'empeke, n'eky'ebibala byammwe eby'emizabbibu, n'abigabira abaami be n'abaweereza be.
16
Alitwala abaddu bammwe n'abazaana bammwe, n'abavubuka bammwe abasinga obulungi, n'endogoyi zammwe, okukola emirimu gye.
17
Alitwala ekitundu kimu kya kkumi eky'amagana gammwe, era nammwe mwennyini muliba abaddu be.
18
Mu nnaku ezo mulikaaba olwa kabaka wammwe, mmwe mwennyini gwe muliba mwerondedde, naye olwo Mukama talibaddiramu.”
19
Naye abantu ne bagaana okuwuliriza ebya Samweli, ne bagamba nti: “Nedda! Ffe twagala kabaka anaatufuganga,
20
naffe tube ng'amawanga amalala, kabaka atufugenga, era atukulemberenga mu ntabaalo zaffe, era alwanenga entalo zaffe.”
21
Samweli n'awuliriza byonna abantu bye baayogera, n'agenda abibuulira Mukama.
22
Mukama n'addamu nti: “Kola kye baagala, obateerewo kabaka.” Awo Samweli n'agamba Abayisirayeli nti: “Buli omu addeyo mu kibuga ky'ewaabwe.”
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31