bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Samuel 22
1 Samuel 22
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 23 →
1
Dawudi n'ava mu kibuga ky'e Gaati, n'addukira mu mpuku, eri okumpi n'akabuga Adullamu. Baganda be n'ab'omu nnyumba ya kitaawe bonna bwe baawulira nti Dawudi ali eyo, ne bagenda gy'ali.
2
Abantu abaali banyigirizibwa, n'abaali babanjibwa era n'abataali bamativu, ne bagenda ne beegatta ku Dawudi, n'afuuka omukulembeze waabwe. Bonna abaamwegattako ne bawera abasajja ng'ebikumi bina.
3
Dawudi n'avaayo, n'agenda e Mizupa eky'omu Mowaabu, n'agamba kabaka w'e Mowaabu nti: “Kkiriza kitange ne mmange bajje babeere naawe, okutuusa nga mmaze okumanya Katonda ky'agenda okunkolera.”
4
Awo Dawudi n'aleeta bakadde be ewa kabaka w'e Mowaabu, ne babeera naye ebbanga lyonna Dawudi lye yamala nga yeekwese mu mpuku.
5
Awo omulanzi Gaadi n'agamba Dawudi nti: “Tobeera mu mpuku, vvaamu ogende e Buyudaaya.” Awo Dawudi n'avaayo, n'agenda mu kibira ky'e Hereti.
6
Awo Sawulo bwe yali e Gibeya, ng'atudde wansi w'omuti omunyulira ku kasozi, ng'akutte effumu mu ngalo, nga ne basajja be bamwetoolodde, n'awulira nga Dawudi n'abasajja be yali nabo, bazuuliddwa gye bali.
7
Sawulo n'agamba abaweereza be abaali bayimiridde okumwetooloola nti: “Muwulire mmwe Ababenyamiini! Mulowooza nti mutabani wa Yesse aliwa buli omu ku mmwe ebibanja n'ennimiro z'emizabbibu, mwenna n'abafuula bakulu mu magye ge, okukulira ebibinja eby'olukumi lukumi, n'eby'ekikumi kikumi?
8
Kyemuvudde mundyamu olukwe? Tewali n'omu ku mmwe yambuulirako, nti mutabani wange, akoze endagaano ne mutabani wa Yesse! Tewali n'omu ku mmwe annumirwa, wadde antegeeza nga mutabani wange, ye apikiriza omuweereza wange okunteega, nga bw'akoze leero!”
9
Awo Dowegi Omwedomu, eyali ayimiridde awo n'abaweereza ba Sawulo, n'addamu nti: “Nalaba mutabani wa Yesse ng'ajja e Nobu eri Ahimeleki mutabani wa Ahituubu.
10
Ahimeleki n'amwebuuliza ku Mukama, era n'amuwa ebyokulya, n'amuwa n'ekitala ekyali ekya Goliyaati Omufilistiya.”
11
Awo kabaka n'atumya Ahimeleki kabona mutabani wa Ahituubu, n'ab'ennyumba ya kitaawe bonna, abaali bakabona e Nobu, bonna ne bajja eri kabaka.
12
Sawulo n'agamba nti: “Wulira ggwe mutabani wa Ahituubu!” N'amuddamu nti: “Nzuuno, mukama wange.”
13
Sawulo n'amubuuza nti: “Lwaki ggwe ne mutabani wa Yesse mwandyamu olukwe? Wamuwa emmere n'ekitala, n'omwebuuliza ku Katonda, ankyukire okunteega, nga bw'akoze leero.”
14
Ahimeleki n'addamu kabaka nti: “Mu baweereza bo bonna, ani mwesigwa nga Dawudi? Mukoddomi wo, muduumizi w'ekibinja ky'abakuumi bo, era oweekitiibwa mu lubiri lwo.
15
Guno gwe mulundi gwange ogusoose okumwebuuliza ku Katonda? Nedda, si bwe kiri. Naye eky'okukulyamu olukwe ayi kabaka, oleme kukirowooleza nze omuweereza wo, oba omulala yenna ow'omu nnyumba ya kitange, kubanga nze omuweereza wo, sirina kye nkimanyiiko n'akatono.”
16
Awo kabaka n'agamba nti: “Ahimeleki, ggwe n'ab'ennyumba ya kitaawo bonna, muteekwa okufa.”
17
Awo kabaka n'alagira abakuumi abaali bayimiridde w'ali nti: “Mukyuke mutte bakabona ba Mukama, kubanga nabo beegasse ne Dawudi, era kubanga baamanya ng'adduse ne batambuulira!” Naye abakuumi ba kabaka ne bagaana okugolola emikono gyabwe okutta bakabona ba Mukama.
18
Awo kabaka n'agamba Dowegi nti: “Ggwe kyuka otte bakabona.” Dowegi Omwedomu n'akyuka n'atta bakabona. Ku lunaku olwo n'atta bakabona kinaana mu bataano, abambala efodi ey'olugoye.
19
Sawulo era n'azinda Nobu, ekibuga kya bakabona. N'atta abasajja n'abakazi, n'abaana abakuzeemu n'abayonka, era n'ente, n'endogoyi, n'endiga.
20
Naye Abiyataari, omu ku batabani ba Ahimeleki, era muzzukulu wa Ahituubu n'adduka, n'agenda yeegatta ku Dawudi.
21
Abiyataari oyo n'abuulira Dawudi nti Sawulo asse bakabona ba Mukama.
22
Dawudi n'agamba Abiyataari nti: “Bwe nalaba Dowegi Omwedomu mu kibuga Nobu, ne mmanya nti ateekwa okubuulira Sawulo. Kale nze naleetera abantu b'ennyumba ya kitaawo okufa.
23
Sigala nange, totya, kubanga oyo ayagala okunzita, naawe ye ayagala okukutta. Bw'onooba nange ojja kukuumibwa.”
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31