bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 1
2 Chronicles 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 2 →
1
Awo Solomooni mutabani wa Dawudi, n'anywezebwa mu bwakabaka bwe, era Mukama Katonda we n'amufuula waakitiibwa nnyo.
2
Solomooni n'ayogera n'Abayisirayeli bonna: abaami abatwala abantu olukumi lukumi, n'abatwala ekikumi kikumi; abalamuzi, abakulu b'empya, n'abakulembeze bonna mu Yisirayeli.
3
N'agenda n'abantu abo bonna mu kifo ekigulumivu eky'e Gibiyoni, kubanga eyo ye waali Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, Musa omuweereza wa Mukama gye yakolera mu ddungu.
4
Naye Essanduuko ey'Endagaano yali mu Yerusaalemu, ng'eteekeddwa mu Weema, Dawudi gye yagisimbira, bwe yagiggya mu Kiriyati Yeyariimu.
5
Alutaari ey'ekikomo eyakolebwa Bezaleeli, mutabani wa Wuri, muzzukulu wa Huuri, nayo yali mu Gibiyoni, mu maaso ga Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
6
Solomooni n'asinza Mukama ng'awaayo ebitambiro bya nsolo lukumi, ezattibwa ne zookebwa ku alutaari eyo ey'ekikomo.
7
Ekiro ekyo, Katonda n'alabikira Solomooni mu kirooto, n'amugamba nti: “Nsaba ky'oyagala, nkikuwe.”
8
Solomooni n'agamba Katonda nti: “Wayagala nnyo kitange Dawudi, era kaakano onzikirizza okumusikira ku bwakabaka.
9
Kale ayi Mukama Katonda, tuukiriza kye wasuubiza kitange. Onfudde Kabaka w'abantu abali ng'enfuufu ey'oku nsi obungi.
10
N'olwekyo, nkusaba ompe amagezi n'okumanya, nsobole okukulembera abantu bano. Kale ani ayinza okulamula eggwanga lino ekkulu bwe lityo?”
11
Katonda n'agamba Solomooni nti: “Ekyo ky'olowoozezza kirungi, obuteesabira bugagga oba ebintu, kitiibwa wadde okuzikiriza abalabe bo, era obuteesabira kuwangaala, naye n'osaba amagezi n'okumanya, osobolenga okulamula abantu bange, be nkuwadde obeere kabaka waabwe.
12
Kale amagezi n'okumanya mbikuwadde. Era nja kukuwa n'obugagga n'ebintu n'ekitiibwa, ebitafunibwanga kabaka mulala mu baakusooka, era ebitalifunibwa mulala mu balikuddirira.”
13
Awo Solomooni n'ava e Gibiyoni awali Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'akomawo mu Yerusaalemu, n'afugira eyo Yisirayeli.
14
N'akuŋŋaanya amagaali lukumi mu bina n'abaserikale abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, n'abateeka mu bibuga ebirimu amagaali, ne mu Yerusaalemu, ye yennyini mwe yali.
15
Mu biseera bye, ffeeza ne zaabu byayala mu Yerusaalemu, ne biba bingi ng'amayinja. N'emivule ne giba mingi ng'emisikamoreya mu biwonvu bya Buyudaaya.
16
Embalaasi Solomooni ze yalina, baaziggyanga mu Misiri ne Kilikiya. Abasuubuzi, baazigulanga Kilikiya, ng'ebbeeyi yaazo bwe yali.
17
Amagaali baagaggyanga mu Misiri, nga buli kigaali kigula ebitundu lukaaga ebya ffeeza, ate embalaasi ng'egula ebitundu kikumi mu ataano ebya ffeeza. Abasuubuzi baazireetanga, ne baziguza bakabaka b'Abahiiti n'ab'Abassiriya.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36