bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 7
2 Chronicles 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 8 →
1
Awo Solomooni bwe yamaliriza okusinza, omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ebiweebwayo ebyokebwa, era n'ebitambiro. N'ekitiibwa kya Mukama ne kijjuza Essinzizo.
2
Bakabona ne batayinza kuyingira mu Ssinzizo, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyali kijjuddemu.
3
Abayisirayeli bonna bwe baalaba omuliro, n'ekitiibwa kya Mukama nga bikka ku Ssinzizo, ne bavuunama ku mayinja amaaliire nga basinza Katonda, era nga bamwebaza kubanga mulungi, n'ekisa kye kya mirembe gyonna. 106:1; 107:1; 118:1; 136:1; Yer 33:11
4
Awo Kabaka n'abantu bonna ne bawaayo ebitambiro eri Mukama.
5
Kabaka Solomooni n'awaayo ebitambiro bya nte emitwalo ebiri mu enkumi bbiri, n'endiga emitwalo kkumi n'ebiri. Awo kabaka n'abantu bonna ne bawaayo Essinzizo eri Mukama.
6
Bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe. N'Abaleevi ne bayimirira nga babatunuulidde, nga balina ebivuga Dawudi bye yakola okutendereza Mukama, ne babikozesa mu luyimba Dawudi lwe yabayigiriza, olw'okwebaza Mukama, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna. Bakabona ne bafuuwa amakondeere nga n'Abayisirayeli bonna bayimiridde.
7
Solomooni n'atukuza oluggya olwawakati olwali mu maaso g'Essinzizo, n'aweerayo mu luggya olwo ebitambiro ebyokebwa, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, n'amasavu agaava ku biweebwayo olw'okutabagana. Yakola bw'atyo, kubanga alutaari ey'ekikomo gye yakola, yali nfunda nnyo, ng'ebiweebwayo ebyo byonna tebiyinza kugyako.
8
Mu kiseera ekyo, Solomooni ng'ali wamu n'Abayisirayeli bonna, n'akola embaga, gye baamalako ennaku musanvu. Embaga eyo yaliko abantu bangi nnyo, abaava n'ewala ennyo, ng'eri awali omwagaanya oguyingirirwamu ogw'e Hamati, n'eri ku Kagga ak'ensalo ne Misiri.
9
Baamala ennaku musanvu ez'okuwaayo alutaari eri Mukama, n'ennaku endala musanvu ez'embaga. Ku lunaku olw'omunaana ne baba n'olukuŋŋaana olukulu olwa bonna.
10
Ku lunaku olwaddako, olw'amakumi abiri mu essatu olw'omwezi ogw'omusanvu, Solomooni n'asiibula abantu okuddayo ewaabwe. Baddayo ewaabwe nga basanyufu era nga bamativu mu mitima olw'obulungi Mukama bwe yali alaze Dawudi ne Solomooni, n'abantu be Abayisirayeli.
11
Awo Solomooni bwe yamala okuzimba Essinzizo n'olubiri, era n'amaliriza bulungi okuteekamu byonna bye yalowooza okuteeka mu Ssinzizo, n'okuteeka mu lubiri lwe,
12
Mukama n'amulabikira ekiro. N'amugamba nti: “Mpulidde by'onsabye, era nzikirizza Essinzizo lino libe ekifo omunampeerwanga ebitambiro.
13
Bwe nnaasibanga eggulu enkuba n'etetonnya, oba bwe nnaasindikanga enzige okulya ebirime, oba bwe nnaasindikanga kawumpuli mu bantu bange,
14
abantu bange abo abansinza bwe baneetoowazanga ne beegayirira, ne bakyukira gye ndi, ne bava mu mpisa zaabwe embi, mu ggulu gye mbeera nnaawuliranga, ne mbasonyiwa ebibi byabwe, ne mponya ensi yaabwe.
15
Nneekalirizanga amaaso era nnaateganga amatu ne mpulira byonna bye bansaba nga bali mu kifo kino.
16
Kubanga kaakano Essinzizo lino nditukuzizza, bansinzizengamu ennaku zonna. Era nnaalikuumanga ne ndirabirira ebbanga lyonna.
17
Naawe bw'onompeerezanga n'obwesigwa nga kitaawo Dawudi bwe yakola, n'ogondera amateeka gange, era n'otuukiriza byonna bye nnaakulagiranga,
18
ndinyweza obwakabaka bwo nga bwe nalagaanya kitaawo Dawudi, nga mmugamba nti mu zzadde lye taabulwengamu afuga Yisirayeli.
19
Naye bwe mulinvaako, ne mujeemera amateeka gange n'ebiragiro bye mbawadde, ne muweereza balubaale, era ne mubasinza,
20
olwo ndibaggya mu nsi yange gye nabawa mmwe, era ndyabulira Essinzizo lino lye ntukuzizza bansinzizengamu. Ndirifuula eky'okufumwako enfumo n'ekisekererwa mu mawanga gonna.
21
“Essinzizo lino kaakano lyakitiibwa nnyo, naye buli anaayitangawo, aneewuunyanga nti: ‘Lwaki Mukama yakola bw'atyo ensi eno n'Essinzizo lino?’
22
Abantu banaddangamu nti: ‘Kubanga baava ku Mukama Katonda waabwe, eyaggya bajjajjaabwe mu nsi ye Misiri, ne beewa balubaale ne babasinza, era ne babaweereza, Mukama kyeyava abatuusaako akabi akenkanidde awo.’ ”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36