bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 29
2 Chronicles 29
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 30 →
1
Heezeekiya yatandika okufuga nga wa myaka amakumi abiri mu etaano. N'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Abiya, muwala wa Zekariya.
2
N'akolanga ebirungi ebisanyusa Mukama ng'ebyo byonna Dawudi jjajjaawe bye yakolanga.
3
Mu mwezi omubereberye ogw'omwaka ogusooka mu bufuzi bwe, n'aggulawo enzigi z'Essinzizo era n'aziddaabiriza.
4
N'ayingiza bakabona n'Abaleevi mu luggya lw'Essinzizo, ku ludda olw'ebuvanjuba.
5
N'abagamba nti: “Mmwe Abaleevi, muwulire kye ŋŋamba. Kaakano mwetukuze, mutukuze n'Essinzizo lya Mukama Katonda wa bajjajjammwe. Ekifo Ekitukuvu mukiggyeemu byonna ebikyonoona.
6
Kubanga bajjajjaffe baayonoona ne bataba beesigwa eri Mukama, Katonda waffe, ne bamuvaako, ne bakuba amabega ekifo mw'abeera.
7
Baggalawo enzigi eziyingira mu Ssinzizo, ne bazikiza ettaala, ne batayotereza bubaane, wadde okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa mu Kifo Ekitukuvu eri Katonda wa Yisirayeli.
8
Mukama kyeyava asunguwalira ab'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu n'abatuusa ku buzibu obuleetera buli muntu okwewuunya n'okwesooza, nga bwe mukyerabirako n'amaaso gammwe.
9
Kubanga bakitaffe battibwa mu lutalo, bakazi baffe, batabani baffe ne bawala baffe ne batwalibwa nga basibe.
10
“Kaakano mmaliridde mu mutima gwange okukola endagaano ne Mukama Katonda wa Yisirayeli, okukyusa obusungu bwe obukambwe butuveeko.
11
Batabani, temugayaala nno, kubanga Mukama abalonze mmwe, okuyimirira mu maaso ge okumuweereza, mube abaweereza be, era mwoterezenga obubaane.”
12
Awo Abaleevi bano ne basituka: Mahati mutabani wa Amasaayi, ne Yoweeli mutabani wa Azariya ab'omu lulyo lw'Abakohati. Ab'omu lulyo lwa Merari: Kiisi mutabani wa Abudi ne Azariya mutabani wa Yehaleleli. Ab'omu lulyo lw'Abagerusooni: Yowa mutabani wa Zimma, ne Edeni mutabani wa Yowa.
13
Ab'omu lulyo lwa Elizafani: Simuri ne Yoweeli. Ab'omu lulyo lwa Asafu: Zekariya ne Mattaniya.
14
Ab'omu lulyo lwa Hemani: Yehuweeli ne Simeeyi. Ab'omu lulyo lwa Yedutuuni: Semaaya ne Wuzziyeeli.
15
Ne bakuŋŋaanya baganda baabwe, ne beetukuza, ne bayingira mu Ssinzizo okulitukuza nga kabaka bwe yabalagira, ng'agoberera ebigambo bya Mukama.
16
Bakabona ne bayingira mu kisenge ekyomunda eky'Essinzizo okulongoosa. Ne baggyamu ebyo byonna bye baasanga mu Ssinzizo ebitali birongoofu, ne babireeta mu luggya lwalyo. Abaleevi ne babifulumya ebweru ne babisuula mu kagga Kidurooni.
17
Baatandika okugitukuza ku lunaku olusooka olw'omwezi ogw'olubereberye. Ku lunaku olw'omunaana olw'omwezi ogwo, ne batuuka ku kisasi ky'Essinzizo. Ne bakolera ennaku endala munaana. Ku lunaku olw'ekkumi n'omukaaga olw'omwezi ogwo, ne bamaliriza.
18
Awo ne bagenda ewa Kabaka Heezeekiya ne bamugamba nti: “Tumaze okulongoosa Essinzizo lyonna n'alutaari y'ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebikozesebwako byonna, n'emmeeza eteekebwako emigaati n'ebikozesebwako byonna.
19
Ebikozesebwa byonna Kabaka Ahazi bye yasuula nga ye afuga, bwe yakola ebitasaana, tubitegese ne tubitukuza, era kaakano biri mu maaso ga alutaari ya Mukama.”
20
Awo Heezeekiya kabaka n'agolokoka mu makya, n'akuŋŋaanya abakulembeze b'ekibuga, n'ayambuka mu Ssinzizo.
21
Ne baleeta ente ennene musanvu, n'endiga ennume musanvu, n'abaana b'endiga, n'embuzi ennume musanvu nga kye kiweebwayo olw'ebibi ku lw'obwakabaka ne ku lw'Essinzizo ne ku lwa Buyudaaya. N'alagira bakabona bazzukulu ba Arooni okubiweerayo ku alutaari ya Mukama.
22
Awo ne batta ente ennume, bakabona ne batoola omusaayi gwazo ne bagumansira ku alutaari. Ne batta endiga ennume, ne bamansira omusaayi ku alutaari. Ne batta abaana b'endiga, ne bamansira omusaayi ku alutaari.
23
Ne baleeta embuzi ennume mu maaso ga kabaka n'ekibiina, embuzi ezo nga kye kiweebwayo olw'ebibi. Ne baziteekako emikono.
24
Bakabona ne bazitta, ne bayiwa omusaayi gwazo ku alutaari, nga kye kitambiro eky'okuggyawo ebibi by'abantu bonna Abayisirayeli, kubanga kabaka yalagira nti ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo olw'ebibi, biweebweyo ku lw'Abayisirayeli bonna.
25
N'ateeka Abaleevi mu Ssinzizo, nga balina ebitaasa n'entongooli n'ennanga, nga Kabaka Dawudi ne Gaadi omulabi wa kabaka, ne Natani omulanzi bwe baalagira. Ekyo Mukama ye yakiragira ng'ayita mu balanzi be.
26
Abaleevi ne bayimirira nga balina ebivuga bya Dawudi, ne bakabona nga balina amakondeere.
27
Awo Heezeekiya n'abalagira okuweerayo ku alutaari ekiweebwayo ekyokebwa. Ekiweebwayo bwe kyatandika okuweebwayo, ne batandika n'okuyimbira Mukama, n'okufuuwa amakondeere n'okukuba ebivuga bya Dawudi kabaka wa Yisirayeli.
28
Bonna abaali bakuŋŋaanidde awo ne basinza. Abayimbi ne bayimba, n'abafuuyi b'amakondeere ne bagafuuwa. Byonna ebyo ne bibaawo bwe bityo, okutuusa ekiweebwayo ekyokebwa lwe kyaggwaawo.
29
Ekiweebwayo ekyokebwa bwe kyaggwaawo, kabaka n'abaaliwo bonna ne bavuunama ne basinza.
30
Kabaka Heezeekiya n'abakulembeze ne balagira Abaleevi okuyimba ennyimba ezitendereza Mukama, ezaayiiyizibwa Dawudi ne Asafu omulanzi. Ne bayimba n'essanyu okutendereza, ne bakoteka emitwe gyabwe ne basinza.
31
Awo Heezeekiya n'agamba nti: “Kaakano nga bwe mwewonze eri Mukama, musembere muleete mu Ssinzizo ebitambiro n'ebiweebwayo olw'okwebaza.” Bonna abaali bakuŋŋaanye ne baleeta ebitambiro n'ebiweebwayo olw'okwebaza. Era bonna abaali baagala, ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa.
32
Abaali bakuŋŋaanye ne baleeta ente ennume nsanvu, endiga ennume kikumi, n'abaana b'endiga ebikumi bibiri, ebyo byonna nga bya kiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
33
Ebirala bye baaleeta okuwongera Mukama, zaali ente ennume lukaaga n'endiga enkumi ssatu.
34
Naye bakabona baali batono, nga tebasobola kubaaga ebiweebwayo ebyokebwa byonna. Baganda baabwe Abaleevi ne babayambako okutuusa ne bakabona abalala lwe baamala okwetukuza era okutuusa omulimu lwe gwaggwa. Kubanga Abaleevi bassaayo nnyo omwoyo okwetukuza okusinga bakabona.
35
Ebiweebwayo ebyokebwa byali bingi nnyo, ne kweyongerako n'amasavu ag'ebiweebwayo olw'okutabagana, n'ebyokunywa ebyaweerwayo awamu n'ebiweebwayo ebyokebwa. Awo okusinza okw'omu Ssinzizo ne kuzzibwawo bwe kutyo.
36
Awo Heezeekiya n'abantu bonna ne basanyuka, kubanga Katonda yabayamba ne bakola ebyo byonna amangu ddala.
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 30 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36