bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 34
2 Chronicles 34
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 35 →
1
Yosiya yali wa myaka munaana we yafuukira kabaka wa Buyudaaya. N'afugira emyaka amakumi asatu mu gumu mu Yerusaalemu.
2
N'akolanga ebyo Mukama by'asiima n'aba n'empisa ng'eza Dawudi jjajjaawe, n'atakyukakyuka kudda eno n'eri.
3
Kubanga mu mwaka ogw'omunaana mu bufuzi bwe, ng'akyali muto, n'atandika okusinza Katonda wa Dawudi jjajjaawe. Ne mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri n'atandika okugogola Buyudaaya ne Yerusaalemu okumalamu ebifo ebigulumivu bye baasinzizaamu n'ebifaananyi bya lubaale Asera, n'ebifaananyi ebyole n'ebiweese.
4
Ne bamenyaamenya alutaari za Baali, Yosiya ng'alaba, n'obutuuti obwoterezebwako obubaane waggulu waazo n'abutemaatema, n'ebifaananyi bya lubaale Asera ebyole n'ebiweese n'abisekulasekula, n'abifuula enfuufu, n'agimansira ku malaalo g'abo abaabiwongeranga.
5
Era n'ayokera amagumba g'abakabona baabyo ku alutaari zaabyo n'atukuza Buyudaaya ne Yerusaalemu.
6
Era bw'atyo bwe yakola ne mu bibuga bya Manasse, n'ebya Efurayimu n'ebya Simyoni okutuukira ddala ne mu bya Nafutaali, ne mu bifo ebyafuuka amatongo ebibyetoolodde.
7
N'amenyaamenya zaalutaari, n'asekulasekula ebifaananyi bya lubaale Asera, n'ebifaananyi ebyole, n'abifuula enfuufu. N'atemaatema zaalutaari zonna ezooterezebwako obubaane mu Yisirayeli yonna, n'alyoka akomawo e Yerusaalemu.
8
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'obufuzi bwa Yosiya, kabaka oyo Yosiya bwe yamala okugogola eggwanga n'Essinzizo, n'atuma Safani, mutabani wa Azaliya ne Maaseya omufuzi w'ekibuga, ne Yowa mutabani wa Yowahaazi omuwandiisi w'ebigwawo, okuddaabiriza Essinzizo lya Mukama Katonda we.
9
Ne bajja eri Hilukiya Ssaabakabona, ne bawaayo ensimbi ezaaleetebwa mu Ssinzizo, Abaleevi abaggazi ze baasolooza ku bantu ba Manasse ne Efurayimu, n'ab'ebitundu ebirala byonna ebya Yisirayeli, n'ab'omu kitundu kya Yuda n'ekya Benyamiini, ne ku b'omu Yerusaalemu.
10
Ne bazikwasa abakozi abalabirira Essinzizo. Abakozi abo abakola mu Ssinzizo ne baziwaayo okulongoosa n'okuddaabiriza Essinzizo.
11
Ne baziwa ababazzi n'abazimbi okugula amayinja amabajje n'emiti okuddaabiriza amayumba, bassekabaka ba Buyudaaya ge baaleka okwonooneka.
12
Abasajja ne bakola omulimu n'obwesigwa. Ne bateekebwako Yahati ne Obadiya Abaleevi ab'omu lulyo lwa Merari, ne Zekariya ne Mesullamu ab'omu lulyo lw'Abakohati okubalabirira. Abaleevi, bonna abaali abakugu mu bivuga,
13
be baalabiriranga abeetissi b'ebintu era nga be bakozesa bonna abaakolanga emirimu egya buli ngeri. Ku Baleevi kwaliko abawandiisi, n'abaami n'abaggazi.
14
Bwe baali baggyayo ensimbi ezaaleetebwa mu Ssinzizo, Hilukiya kabona n'azuula ekitabo ky'Amateeka, Mukama ge yawa ng'ayita mu Musa.
15
Awo Hilukiya n'agamba Safani omuwandiisi nti: “Nzudde ekitabo ky'Amateeka mu Ssinzizo.” Hilukiya ekitabo n'akiwa Safani.
16
Safani n'atwala ekitabo ekyo eri kabaka, era n'ayanjulira kabaka nti: “Abaweereza bo bakola byonna ebyabakwasibwa.
17
Baggyeeyo ensimbi ezibadde mu Ssinzizo, ne bazikwasa abalabirira omulimu era n'abakozi.”
18
Awo Safani omuwandiisi n'abuulira kabaka nti: “Hilukiya kabona ampadde ekitabo.” Safani n'akisomeramu kabaka.
19
Awo kabaka bwe yawulira ebigambo eby'omu Kitabo ky'Amateeka, n'ayuza ebyambalo bye olw'okweraliikirira.
20
Awo kabaka n'alagira Hilukiya ne Ahikaamu mutabani wa Safani, ne Abudooni mutabani wa Mikka, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuweereza wa kabaka, ng'agamba nti:
21
“Mugende mubuuze Mukama ku lwange ne ku lw'abo abaasigalawo mu Yisirayeli ne Buyudaaya ebifa ku bigambo eby'omu kitabo kino ekizuuliddwa. Mukama atusunguwalidde nnyo, kubanga bajjajjaffe tebaakwatanga kigambo kya Mukama, okukola nga byonna ebyawandiikibwa mu kitabo kino bwe biri.”
22
Awo Hilukiya n'abo kabaka be yali atumye ne bagenda eri Huluda omulanzi omukazi, muka Sallumu mutabani wa Tokati, era muzzukulu wa Hasura, omukuumi w'etterekero ly'ebyambalo. Omukazi oyo yabeeranga mu kitundu ekipya ekya Yerusaalemu. Ne boogera naye ku nsonga eyo.
23
N'abagamba nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli agamba nti: Omuntu abatumye gye ndi mumugambe nti:
24
Mukama agamba nti, ‘Akabi ak'ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kye basomedde kabaka wa Buyudaaya nja kukatuusa ku kifo kino, ne ku bakibeeramu.
25
Kubanga banvuddeko, ne bootereza balubaale obubaane okunsuguwaza n'ebyo byonna bye bakoze, obusungu bwange kyebuvudde bukoleera ku kifo kino, era tebujja kuzikira.
26
Naye kabaka wa Buyudaaya abatumye okubuuza Mukama, mumugambe nti: Nze Mukama Katonda wa Yisirayeli ŋŋamba nti ku bigambo by'owulidde,
27
omutima gwo nga bwe gubadde omugonvu, ne weetoowaza mu maaso gange, n'oyuza ebyambalo byo, era n'okaaba amaziga bw'owulidde ebigambo bye ŋŋamba ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, nange nkuwulidde.
28
Kale ndikutwala eri bajjajjaabo, n'oziikibwa mirembe, era toliraba ku kabi ke ndituusa ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu.’ ” Ne bagenda, ne babibuulira kabaka.
29
Awo kabaka n'atumya abakulembeze bonna aba Buyudaaya n'aba Yerusaalemu n'abakuŋŋaanya.
30
Kabaka n'ayambuka mu Ssinzizo wamu n'abasajja bonna ab'omu Buyudaaya n'ababeera mu Yerusaalemu, ne bakabona n'Abaleevi era n'abantu abalala bonna abakulu n'abato, n'asoma nga bawulira ebigambo byonna eby'ekitabo eky'endagaano ekyazuulibwa mu Ssinzizo.
31
Kabaka n'ayimirira mu kifo kye, n'akola endagaano mu maaso ga Mukama, n'alagaanya Mukama okumuwuliranga, okukwatanga amateeka ge n'ebiragiro bye, nti anaabikwatanga n'omutima gwe gwonna, n'emmeeme ye yonna, era anaatuukirizanga ebigambo by'endagaano, nga bwe byawandiikibwa mu kitabo ekyo.
32
Awo n'akubiriza Ababenyamiini n'abantu bonna abaaliwo mu Yerusaalemu okukakasa nti bajja kukuuma endagaano eyo. Awo ab'omu Yerusaalemu ne bakuuma endagaano ya Katonda, Katonda wa Bajjajjaabwe.
33
Yosiya n'aggya ebyenyinyalwa byonna mu nsi y'Abayisirayeli. N'akubiriza bonna ab'omu Yisirayeli okuweereza Mukama, Katonda waabwe. Mu mulembe gwe gwonna, tebaalekayo kuweereza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 35 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36