bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 2
2 Chronicles 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 3 →
1
Awo Solomooni n'ateekateeka okuzimba Essinzizo ery'okusinzizangamu Mukama, era n'okwezimbira olubiri.
2
N'alonda abasajja emitwalo musanvu ab'okwetikkanga eby'okuzimbisa, n'abasajja emitwalo munaana ab'okwasanga amayinja mu nsozi, n'abasajja enkumi ssatu mu lukaaga ab'okulabiriranga omulimu.
3
Solomooni n'aweereza Hiraamu, kabaka w'e Tiiro obubaka buno nti: “Kolagana nange nga bwe wakolagananga ne kitange Dawudi, n'omuweerezanga emivule gye yazimbisa olubiri lwe.
4
Kaakano nteekateeka okuzimbira Mukama Katonda wange Essinzizo ery'okumuweesa ekitiibwa. Essinzizo lino lijja kumuwongerwa, libe ery'okwoterezangamu obubaane obw'akawoowo w'ali, n'okumuweerangamu ebitambiro ebyokebwa enkya n'akawungeezi, ne ku Sabbaato, ne ku mbaga ez'okuboneka kw'omwezi, ne ku nnaku endala ze tuweerako Mukama Katonda waffe ekitiibwa, nga bwe yalagira Abayisirayeli okukolanga emirembe gyonna.
5
Era Essinzizo lye nteekateeka okuzimba ddene, kubanga Katonda waffe mukulu, tewali amwenkana.
6
Naye ani ayinza okumuzimbira essinzizo, nga n'eggulu lyennyini eryenkanidde awo obunene taligyamu? Nze ani okuzimba ekifo aw'okwotereza obubaane mu maaso ge?
7
Kale kaakano mpeereza omuntu amanyi okuweesa ebya zaabu n'ebya ffeeza n'eby'ekikomo n'eby'ekyuma, n'okukola eby'engoye eza bbululu n'eza kakobe n'emmyufu, era omukugu mu kusala amayinja, akolere wamu n'abakozi bange abakugu wano mu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu, kitange be yateekateeka.
8
Mpeereza emivule n'emiberosi n'emitoogo okuva mu Lebanooni, kubanga mmanyi nti basajja bo bamanyirivu mu kutema emiti eyo mu Lebanooni. Basajja bange banaakolera wamu n'ababo,
9
okunteekerateekera emiti mingi, kubanga Essinzizo lye ŋŋenda okuzimba lijja kuba ddene ddala.
10
Basajja bo abatema emiti, nja kubafunira kilo z'eŋŋaano emitwalo ebiri, kilo za bbaale emitwalo ebiri, lita z'omwenge gw'emizabbibu emitwalo ebiri, ne lita z'omuzigo emitwalo ebiri.”
11
Awo Hiraamu kabaka w'e Tiiro n'awandiikira Solomooni ebbaluwa emuddamu ng'egamba nti: “Kubanga Mukama ayagala abantu be, kyavudde akufuula Kabaka waabwe.
12
Mukama Katonda wa Yisirayeli agulumizibwe. Omutonzi w'eggulu n'ensi, awadde Kabaka Dawudi omwana omutegeevu era alina amagezi n'okumanya, era kaakano ateeseteese okuzimbira Mukama Essinzizo, n'okwezimbira olubiri.
13
Kale nkuweerezza omuntu omugezi ayitibwa Huramu.
14
Nnyina wa mu Kika kya Daani, kitaawe mutuuze w'e Tiiro. Mukugu mu kukola ebya zaabu n'ebya ffeeza, eby'ekikomo n'eby'ekyuma, eby'amayinja n'eby'emiti. Asobola okukola engoye eza bbululu, n'eza kakobe n'emmyufu, n'eza kitaani ennungi. Era mukugu mu kuyola okwa buli ngeri, ng'asobola n'okukola omusono gwonna oguba gumuweereddwa. Mmukuweerezza akole nga bali wamu n'abantu bo abakugu, era n'abo abaakoleranga mukama wange, kitaawo Dawudi.
15
Kale kaakano tuweereze eŋŋaano ne bbaale, n'omuzigo, n'omwenge ogw'emizabbibu, bye wasuubiza.
16
Abasajja bange bajja kutema emiti gy'oyagala okuva mu nsozi za Lebanooni. Nja kugisengeka ngisibe ng'ekibaya, ngisse ku nnyanja, gisobole okuseeyeeya okutuuka e Yoppa. Eyo nno gy'oligiggya okugitwala e Yerusaalemu.”
17
Awo Solomooni n'assaawo okubala abagwira bonna abaali mu Yisirayeli, nga Dawudi kitaawe bwe yali akoze. Abagwira bonna baali emitwalo kkumi n'etaano, mu enkumi ssatu mu lukaaga.
18
Ku bo, abantu emitwalo musanvu n'abateeka ku mulimu gw'okwetikka eby'okuzimbisa, ate emitwalo munaana n'abateeka ku gwa kwasa mayinja mu nsozi, ate enkumi ssatu mu lukaaga n'abawa gwa kubalabirira nga bakola.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36