bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 15
2 Chronicles 15
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 16 →
1
Mwoyo wa Mukama n'ajja ku Azariya, mutabani wa Obedi,
2
Azariya oyo n'agenda ewa Asa, n'amugamba nti: “Ayi Kabaka Asa, nammwe aba Yuda n'aba Benyamiini, muwulire kye ŋŋamba. Mukama ali nammwe, singa nammwe muba naye. Bwe mumunoonya, mumuzuula. Bwe mumuvaako, naye ng'abavaako.
3
Abayisirayeli baamala ebbanga ddene nga tebalina Katonda ow'amazima, era nga tebalina kabona ayigiriza, era nga tebalina wadde amateeka.
4
Naye bwe baabonaabona, ne bakyukira eri Mukama Katonda wa Yisirayeli, ne bamunoonya, ne bamuzuula.
5
Mu biseera ebyo, tewaali muntu yatambulanga mirembe, n'agenda n'adda nga bw'ayagala, kubanga mu bitundu byonna eby'eggwanga, abatuuze bonna baabanga mu kweraliikirira.
6
Tewaali kwegatta: ekitundu ekimu nga kirumba ekitundu ekirala, n'ekibuga ekimu nga kirumba kibuga kinnaakyo, kubanga Katonda yabaleetera okweraliikirira, ng'abatuusa ku kubonaabona okwa buli ngeri.
7
Naye mube bagumu, temuddirira, muliweebwa empeera olw'ebyo bye mukola.”
8
Asa bwe yawulira ebigambo ebyo eby'obulanzi, Azariya mutabani wa Obedi bye yayogera, n'aguma omwoyo. N'aggyawo ebifaananyi byonna ebyasinzibwanga mu nsi eya Yuda n'eya Benyamiini, n'ebyo ebyali mu bibuga byonna, bye yawamba mu nsi ey'ensozi eya Efurayimu. Era alutaari ya Mukama eyali mu maaso g'Essinzizo n'agizza buggya.
9
Awo Asa n'akuŋŋaanya ab'Ekika kya Yuda bonna, n'Ababenyamiini, n'abalala abaabeeranga mu bo, nga bava mu bitundu: ekya Efurayimu, n'ekya Manasse, n'ekya Simyoni. Kubanga bangi nnyo abaava mu Yisirayeli ne basenga mu bwakabaka bwe, bwe baalaba nga Mukama Katonda we ali naye.
10
Awo ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemu, mu mwezi ogwokusatu, mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano ogw'obufuzi bwe.
11
Ku lunaku olwo ne bawaayo ebitambiro eri Mukama: ente lusanvu, n'endiga kasanvu, nga baggya ku munyago gwe baaleeta.
12
Ne bakola endagaano nti Mukama Katonda wa bajjajjaabwe banaamusinzanga n'omutima gwabwe gwonna, n'emmeeme yaabwe yonna.
13
Buli muntu, oba mukulu oba muto, oba musajja oba mukazi, anaagaananga okusinza Mukama Katonda wa Yisirayeli, anattibwanga.
14
Ne balayirira Mukama mu ddoboozi ery'omwanguka, nga baleekaana, era nga bafuuwa amakondeere n'eŋŋombe.
15
Abantu bonna ab'omu Buyudaaya ne basanyukira okulayira okwo, kubanga baali balayidde n'omutima gwabwe gwonna. Baanoonya Mukama n'omutima gwabwe gwonna, ne bamuzuula. Mukama n'abawa emirembe ku njuyi zonna.
16
Era Kabaka Asa n'assaako n'okugoba Maaka nnyina ku bwannamasole, kubanga yali akoze ekifaananyi kya lubaale Asera eky'omuzizo. Asa n'akitema, n'akyasaayasa, n'akyokera ku kagga Kidurooni.
17
Asa newaakubadde teyasaanyizaawo ddala mu Yisirayeli bifo ebigulumivu bye basinzizaamu, kyokka yanywerera ku Mukama obulamu bwe bwonna.
18
Yateeka mu Ssinzizo ebintu ebya zaabu n'ebya ffeeza, kitaawe bye yawongera Katonda, era n'ebyo ye yennyini bye yawonga.
19
Ne watabaawo ntalo ndala okutuusa mu mwaka ogw'asatu mu etaano ogw'obufuzi bwe.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36