bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 17
2 Chronicles 17
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 18 →
1
Awo Yehosafaati n'asikira Asa kitaawe, era ne yeenyweza okulwanyisa Yisirayeli.
2
N'ateeka amagye mu bibuga byonna eby'omu byalo ebya Buyudaaya, ne mu bibuga by'omu Efurayimu, Asa kitaawe bye yawamba.
3
Katonda n'awa Yehosafaati omukisa, kubanga yagoberera empisa ennungi eza kitaawe ezasooka, ez'obutasinzanga balubaale abayitibwa Baali.
4
N'aweerezanga Katonda wa kitaawe, ng'akwata ebiragiro bye n'atagoberera ebyo ab'omu Yisirayeli bye baakolanga.
5
Mukama kyeyava anyweza obwakabaka bwa Yehosafaati, ab'omu Buyudaaya bonna ne baleetera Yehosafaati amakula, n'agaggawala era n'aba wa kitiibwa nnyo.
6
Ne yeenyumiririza mu kuweereza Mukama, era n'aggyawo mu Buyudaaya ebifo ebigulumivu bye baasinzizangamu, n'ebifaananyi bya lubaale Asera.
7
Mu mwaka ogwokusatu ogw'obufuzi bwe, n'atuma abakungu be: Benihayili ne Obadiya, ne Zekariya, ne Netaneeli, ne Mikaaya okuyigiriza mu bibuga bya Buyudaaya.
8
Awamu nabo n'atuma n'Abaleevi Semaaya, Netaniya, Zebadiya, Asaheeli, Semiramoti, Yehonataani, Adoniya, Tobiya, ne Tabadoniya. Awamu n'Abaleevi abo, n'atuma ne bakabona Elisaama ne Yeyoraamu.
9
Ne batwala ekitabo ky'Amateeka ga Mukama, ne bayigiriza ab'omu Buyudaaya. Ne bayitaayita mu bibuga byonna ebya Buyudaaya, nga bayigiriza abantu.
10
Mukama n'akuba entiisa ab'omu bwakabaka bwonna obwetoolodde Buyudaaya, ne batalwanyisa Yehosafaati.
11
Abamu ku Bafilistiya ne baleetera Yehosafaati amakula, ne bamuwa n'omusolo mu ffeeza. Abawarabu nabo ne bamutonera endiga ennume kasanvu mu lusanvu, n'embuzi ennume kasanvu mu lusanvu.
12
Yehosafaati ne yeeyongera okuba ow'obuyinza, n'azimba ebibuga ebiriko ebigo ebigumu, n'ebibuga eby'okuterekangamu ebintu.
13
N'aba n'amawanika mangi mu bibuga bya Buyudaaya. N'ateeka mu Yerusaalemu abaserikale, abasajja ab'amaanyi era abazira,
14
nga batereezeddwa mu bika byabwe. Aduna ye yali akulira banne abaduumira ebibinja by'olukumi lukumi, ab'omu Kika kya Yuda, nga bonna awamu akulira abaserikale ab'amaanyi emitwalo amakumi asatu.
15
Yehohanaati ye yali omuduumizi amuddirira, ng'akulira abaserikale emitwalo amakumi abiri mu munaana.
16
Owookusatu yali Amasiya, mutabani wa Zikuri, ng'akulira abaserikale ab'amaanyi emitwalo amakumi abiri. Amasiya ono, ye yeewaayo yekka okuweereza Mukama.
17
Omuduumizi w'ebibinja by'eggye ly'Ababenyamiini yali Eliyaada, omuserikale omuzira, ng'akulira abaserikale emitwalo amakumi abiri, abalina obusaale n'engabo.
18
Eyali amuddirira mu bukulu, yali Yehozabaadi, ng'akulira abaserikale omutwalo gumu mu kanaana, abategeke obulungi mu by'okulwana.
19
Abo be baaweerezanga kabaka, nga tobaliddeeko abo be yateeka mu bibuga ebyaliko ebigo ebigumu mu Buyudaaya bwonna.
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36