bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 4
2 Chronicles 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 5 →
1
Kabaka Solomooni n'akola alutaari ey'ekikomo, nga ya mita mwenda obugazi, mita mwenda obuwanvu, ne mita nnya n'ekitundu obugulumivu.
2
Era n'aweesa ogutanka gw'amazzi ogunene ogwekulungirivu ogw'ekikomo, nga gwa mita nnya n'ekitundu okuva ku mugo okutuuka ku mugo, mita bbiri n'obutundu bubiri obugulumivu, era nga gupimwako mita kkumi na ssatu n'ekitundu okugwetooloola.
3
Okwetooloola ebweru w'omugo gwagwo, waaliwo embu bbiri ez'ebifaananyi by'ente, ebigwetooloolera ddala emikono amakumi asatu, nga byaweesebwa wamu nagwo.
4
Ogutanka ogwo ogunene, gwatuuzibwa ku bifaananyi by'ente kkumi na bibiri eby'ekikomo, ebitunuulidde ebweru: ebisatu nga bitunuulidde mu bukiikakkono, ebisatu ebugwanjuba, ebisatu mu bukiikaddyo, n'ebisatu ebuvanjuba, emikira gyabyo nga gye giri munda.
5
Omubiri gw'ogutanka ogunene gwali gwa luta lumu. Omugo gwagwo gwali gukoleddwa ng'ogw'ekibya, era nga gweyanjuluzza ng'ekimuli ky'amalanga. Ogutanka gwonna gwali gugyamu lita emitwalo nga mukaaga mu kakaaga.
6
Era n'akola ebbenseni kkumi, ettaano n'aziteeka ku ludda olwa ddyo olw'Essinzizo, n'ettaano ku lwa kkono. Zaali za kwolezaamu bintu ebikozesebwa ku bitambiro ebyokebwa. Amazzi mu gutanka ogunene ge gaali aga bakabona ag'okunaaba.
7
N'akola ebikondo by'ettaala kkumi ebya zaabu, nga bwe byali biteekwa okukolebwa, n'abiteeka mu Ssinzizo, bitaano ku ludda olwa ddyo, n'ebitaano ku lwa kkono.
8
Era n'akola emmeeza kkumi, n'aziteeka mu Ssinzizo, ttaano ku ludda olwa ddyo, n'ettaano ku lwa kkono. N'akola n'ebibya kkumi ebya zaabu.
9
Era n'akola oluggya olwa bakabona, n'oluggya olunene, enzigi zaazo n'azibikkako ekikomo.
10
Ogutanka ogunene n'aguteeka ku ludda olwa ddyo, olw'ebuvanjuba bw'Essinzizo.
11
Huramu n'akola entamu n'ebijiiko n'ebibya. N'amaliriza ebintu byonna bye yakolera Kabaka Solomooni mu Ssinzizo:
12
empagi ebbiri, emitwe ebiri egikoleddwa ng'ebibya ku ntikko z'empagi, ebifaananyi by'emikuufu egitimbiddwa ku ntikko ya buli mpagi;
13
amakomamawanga ebikumi ebina ag'ekikomo agateekeddwa mu mbu ebbiri okwetooloola emikuufu egyali ku mutwe ogwa buli mpagi.
14
N'akola ebituuti kkumi, n'ebbenseni ku bituuti ebyo,
15
ogutanka ogunene, n'ente ekkumi n'ebbiri kwe gutuuziddwa;
16
entamu, n'ebijiiko, n'ewuuma ezikwata ennyama. Huramu omukozi w'eby'emikono omwatiikirivu, n'akolera Solomooni ebintu ebyo byonna eby'ekikomo ekizigule, eby'okukozesanga mu Ssinzizo.
17
Ebintu ebyo Kabaka yabikolera mu lusenyi lwa Yorudaani, awali ettaka ery'ebbumba, wakati wa Sukkoti ne Zerida.
18
Ebintu ebyo byonna Solomooni bye yakola, byali bingi nnyo, obuzito bw'ekikomo ekyakozesebwa ne batabupima.
19
Solomooni n'akola n'ebintu byonna eby'okukozesebwanga mu Ssinzizo: alutaari eya zaabu n'emmeeza okuteekebwa emigaati egiweebwayo eri Katonda;
20
ebikondo by'ettaala n'ettaala zaabyo ez'okwakiranga mu maaso g'Ekifo Ekitukuvu ng'enkola bwe yali, byali bya zaabu omulongoose,
21
n'ebitimbibwa, ebikoleddwa ng'ebimuli, ettaala, ne makansi nga bya zaabu omulungi ennyo,
22
eby'okukoleeza ettaala, n'okuzizikiza, n'ebibya, n'essowaani z'obubaane, n'ensaniya okuteekebwa evvu, byonna byakolebwa mu zaabu omulongoose. N'enzigi z'Essinzizo ez'ebweru, n'ezoomunda ez'Ekifo Ekitukuvu ennyo, nazo zaali za zaabu.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36