bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 9
2 Chronicles 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 10 →
1
Awo kabaka omukazi ow'e Seeba bwe yawulira ettutumu lya Solomooni n'ajja e Yerusaalemu amugeze, ng'amubuuza ebibuuzo ebizibu. Yajja n'ekibiina ky'abaweereza be kinene nnyo, n'eŋŋamiya ezeetisse ebyakaloosa ne zaabu mungi nnyo n'amayinja ag'omuwendo ennyo. Awo bwe yatuuka ewa Solomooni, n'amubuuza ebyo byonna bye yalina ku mutima gwe.
2
Solomooni n'amuddamu byonna bye yamubuuza. Tewali kintu na kimu kyakaluubirira Solomooni okunnyonnyola.
3
Kabaka omukazi ow'e Seba bwe yamala okulaba amagezi ga Solomooni, n'olubiri Solomooni lwe yazimba,
4
n'emmere eyagabulwanga ku mmeeza ye, n'entuula y'abakungu be, n'empeereza y'abaweereza be, n'ennyambala yaabwe, n'abasenero be n'ebyambalo byabwe, n'ebiweebwayo ebyokebwa bye yawangayo mu Ssinzizo, ne yeewuunya nnyo, n'awuniikirira.
5
N'agamba kabaka nti: “Bye nawulira mu nsi yange ku bikolwa byo ne ku magezi go, byali bituufu.
6
Naye saabikkiriza, okutuusa lwe nzize ne mbyerabirako n'agange. Era ddala bye nawulira, tebyenkana wadde ekimu ekyokubiri eky'amagezi g'olina. Ettutumu ly'olina, lisinga lye nawulira.
7
Abasajja bo nga balina omukisa! Abaweereza bo bano nga beesiimye, abayimirira mu maaso go ennaku zonna ne bawulira eby'amagezi by'oyogera.
8
Mukama Katonda wo atenderezebwe, eyalaga nga bw'akusiimye, ng'akufuula Kabaka, ofuge mu linnya lye. Kubanga Katonda wo ayagala abantu be Abayisirayeli, era ayagala okubakuuma babeerewo ennaku zonna, kyeyava akufuula kabaka waabwe, oleetewo amazima n'obwenkanya.”
9
Awo n'atonera kabaka zaabu aweza talanta kikumi mu abiri. N'amutonera n'ebyakaloosa bingi nnyo nnyini, n'amayinja ag'omuwendo ennyo. Era waali tewabangawo byakaloosa ng'ebyo kabaka omukazi ow'e Seba bye yatonera Kabaka Solomooni.
10
N'abaweereza ba Hiraamu n'aba Solomooni abaaleeta zaabu okuva mu Ofiri, baleeta embaawo ez'emitoogo, n'amayinja ag'omuwendo ennyo.
11
Embaawo ezo kabaka n'azikozesa okuzimba amadaala g'omu Ssinzizo, n'ag'omu nnyumba ye. Era n'azikolamu ennanga n'entongooli z'abayimbi. Mu Buyudaaya baali tebalabanga mbaawo ziri ng'ezo.
12
Awo kabaka Solomooni n'awa kabaka omukazi ow'e Seba byonna bye yayagala, na buli kye yasaba, nga tobaliddeeko bye yamuwa olw'ebyo kabaka omukazi bye yamuleetera. Awo kabaka omukazi n'abaweereza be ne baddayo mu nsi y'ewaabwe.
13
Zaabu Solomooni gwe yafunanga omwaka, yawezanga talanta lukaaga mu nkaaga mu mukaaga,
14
awatali kubalirako oyo ow'omusolo ogusasulibwa abasuubuzi n'empooza ku bitundibwa. Ne bakabaka bonna ab'e Buwarabu n'abafuzi b'ebitundu mu nsi eyo, nabo baaleeteranga Solomooni zaabu ne ffeeza.
15
Solomooni n'aweesesa engabo ennene ebikumi bibiri mu zaabu, nga buli emu ezitowa kilo nga musanvu.
16
N'aweesesa n'engabo entono ebikumi bisatu eza zaabu, nga buli emu ezitowa kilo nga ssatu. Zonna n'aziteeka mu kisenge ekiyitibwa Ekibira kya Lebanooni.
17
Kabaka era ne yeekolera entebe ey'obwakabaka ennene ey'amasanga, n'agibikkako zaabu omulungi ennyo.
18
Waaliwo amadaala mukaaga okugituukako, n'ekirinnyibwako ebigere ekya zaabu, ekyali kisibiddwa ku yo. Era yaliko awateekebwa emikono eruuyi n'eruuyi. Era ku buli ludda lw'awateekebwa omukono, waaliwo ekifaananyi ky'empologoma eyimiridde.
19
Waaliwo n'ebifaananyi ebirala eby'empologoma kkumi na bibiri eziyimiridde, emu emu ku nkomerero ya buli ddaala, erudda n'erudda w'amadaala ago omukaaga.
20
Ebintu byonna ebya Solomooni eby'okunyweramu byali bya zaabu. Era ebintu byonna eby'omu kisenge ekiyitibwa Ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu omulongoose. Mu biseera bya Solomooni, ffeeza teyayitibwanga kintu kya muwendo.
21
Kabaka yalina empingu y'amaato agasobola ennyanja ennene. Empingu eyo yagendanga n'eya Hiraamu. Buli myaka esatu yakomangawo ng'ereese zaabu ne ffeeza, n'amasanga n'enkobe ne zimuzinge.
22
Bw'atyo Kabaka Solomooni n'asinga bakabaka bonna ku nsi obugagga n'amagezi.
23
Bakabaka bonna ku nsi bajjanga okulaba Solomooni, okuwulira eby'amagezi Katonda ge yamuwa.
24
Buli omu eyajjanga, ng'amuleetera amakula: ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu, ebyambalo n'ebyokulwanyisa, n'ebyakawoowo, embalaasi n'ennyumbu. Ebyo byabanga bya buli mwaka.
25
Solomooni era yalina ebisibo enkumi nnya eby'embalaasi n'amagaali gaazo, n'abeebagazi b'embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, be yateeka mu bibuga ebirimu amagaali ne mu Yerusaalemu, ye yennyini mwe yali.
26
Ye yafuganga bakabaka bonna bonna okuva ku mugga Ewufuraate, okutuuka ku nsi y'Abafilistiya, ne ku nsalo eya Misiri.
27
Mu biseera bye, ffeeza yayala mu Yerusaalemu, n'aba mungi ng'amayinja, n'emivule ne giba mingi, ng'emisikamoreya mu biwonvu bya Buyudaaya.
28
Baaleeteranga Solomooni embalaasi nga baziggya mu Misiri n'awalala wonna.
29
Ebirala byonna Solomooni bye yakola, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu Byafaayo bya Natani Omulanzi, ne mu Byalangibwa Ahiya Omusiilo, ne mu By'Okulabikirwa kwa Yiddo Omulanzi, ebifa ku Yerobowaamu, mutabani wa Nebaati.
30
Solomooni yafugira Yisirayeli mu Yerusaalemu emyaka amakumi ana.
31
Oluvannyuma ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi kitaawe. Mutabani we Rehobowaamu n'amusikira.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36