bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 18
2 Chronicles 18
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 19 →
1
Yehosafaati bwe yamala okugaggawala n'okuba ow'ettutumu ennyo, n'afuuka mukoddomi wa Ahabu.
2
Bwe waayitawo emyaka, n'agenda e Samariya ewa Ahabu. Ahabu n'amuttira, n'abo be yali nabo, endiga n'ente nnyingi nnyo, era n'amusikiririza okugenda naye okulumba ekibuga Ramoti Gileyaadi.
3
Ahabu Kabaka wa Yisirayeli n'abuuza Yehosafaati Kabaka wa Buyudaaya nti: “Onoogenda nange okulumba Ramoti Gileyaadi?” Yehosafaati n'addamu nti: “Nze naawe ffe bamu. Abantu bange be bamu n'ababo. Tujja kuba naawe mu lutalo.”
4
Yehosafaati era n'agamba Kabaka wa Yisirayeli nti: “Nsaba omale kwebuuza ku Mukama, owulire ky'agamba.”
5
Awo Kabaka wa Yisirayeli n'akuŋŋaanya abalanzi ebikumi bina, n'ababuuza nti: “Tulumbe Ramoti Gileyaadi, oba ndekeyo?” Ne baddamu nti: “Genda okirumbe. Katonda ajja kukikuwa okiwangule.”
6
Naye Yehosafaati n'agamba nti: “Wano tewakyali mulanzi wa Mukama, tumwebuuzeeko?”
7
Kabaka wa Yisirayeli n'agamba Yehosafaati nti: “Wakyaliwo omusajja omu gwe tuyinza okuyitamu okwebuuza ku Mukama. Oyo ye Mikaaya, mutabani wa Yimula. Wabula simwagala, kubanga talangangako birungi ku nze, wabula ebibi ebyereere.” Yehosafaati n'agamba nti: “Kabaka, toyogera bw'otyo.”
8
Awo Kabaka wa Yisirayeli n'ayita omukungu we, n'amugamba nti: “Yanguwa oleete wano Mikaaya, mutabani wa Yimula.”
9
Kabaka wa Yisirayeli ne Yehosafaati Kabaka wa Buyudaaya, nga bambadde ebyambalo byabwe eby'obwakabaka, ne batuula buli omu ku ntebe ye, mu mbuga eri okumpi n'omulyango omunene ogwa Samariya. Abalanzi bonna ne balanga mu maaso gaabwe.
10
Awo Zeddeekiya mutabani wa Kenaana, ne yeekolera amayembe ag'ekyuma, n'agamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Amayembe gano g'oneeyambisa okulwanyisa Abassiriya, okutuusa lw'olibasaanyaawo.’ ”
11
N'abalanzi abalala bonna ne balanga bwe batyo, nga bagamba nti: “Genda olumbe Ramoti Gileyaadi, okiwangule. Mukama ajja kukikuwa okiwangule.”
12
Awo omubaka eyagenda okuyita Mikaaya, n'amugamba nti: “Abalanzi abalala bonna ebigambo bye boogedde birungi. Balanze nti Kabaka ajja kuwangula. Nkwegayiridde naawe ekigambo ky'onooyogera kibe ng'ebyabwe, oyogere ebirungi.”
13
Kyokka Mikaaya n'addamu nti: “Nga Mukama bw'ali omulamu, Katonda wange ky'anaagamba kye nja okwogera.”
14
Awo bwe yatuuka awali kabaka, kabaka n'amubuuza nti: “Mikaaya, tulumbe Ramoti Gileyaadi tukirwanyise, oba ndekeyo?” Mikaaya n'addamu nti: “Mugende mukirumbe, mujja kuwangula. Mukama ajja kubakuwa obawangule.”
15
Awo kabaka n'amugamba nti: “Nnaakulayiza emirundi emeka nti bw'oba ombuulira mu linnya lya Mukama, tombuulira kirala kyonna, okuggyako amazima?”
16
Mikaaya n'agamba nti: “Ndabye Abayisirayeli bonna nga basaasaanidde ku nsozi ng'endiga ezitalina musumba. Mukama n'agamba nti: ‘Abo tebalina mukama waabwe. Buli omu addeyo mirembe mu maka ge.’ ”
17
Awo kabaka wa Yisirayeli n'agamba Yehosafaati nti: “Saakugambye nti taalange birungi ku nze, wabula ebibi?”
18
Mikaaya ne yeeyongera okugamba nti: “Kale muwulire ekigambo kya Mukama. Ndabye Mukama ng'atudde ku ntebe ye, ng'eggye lyonna ery'omu ggulu liyimiridde ku ludda lwe olwa ddyo n'olwa kkono.”
19
Mukama n'abuuza nti: “Ani anaasendasenda Ahabu Kabaka wa Yisirayeli ayambuke e Ramoti Gileyaadi attibwe?” Omu n'ayogera kino, omulala n'ayogera kiri.
20
Awo ne wavaayo omwoyo, ne guyimirira mu maaso ga Mukama, ne gugamba nti: “Nze nja kumusendasenda.” Mukama n'agubuuza nti: “Mu ngeri ki?”
21
Ne guddamu nti: “Nja kugenda njogeze abalanzi be bonna eby'obulimba.” Mukama n'agamba nti: “Ojja kusobola okumusendasenda. Genda okole bw'otyo.”
22
Mikaaya n'afundikira ng'agamba nti: “Kale nno Mukama atadde omwoyo ogw'obulimba mu kamwa k'abalanzi bo bonna, era ggwe akwogeddeko bya kabi.”
23
Awo Zeddeekiya, mutabani wa Kenaana, n'asemberera Mikaaya, n'amukuba oluyi ku luba, n'amugamba nti: “Mwoyo wa Mukama yampitako atya, n'ayogera naawe?”
24
Mikaaya n'addamu nti: “Ddala, ekyo olikiraba lw'oliyingira mu kisenge ekyomunda okwekweka.”
25
Awo Kabaka wa Yisirayeli n'alagira nti: “Mukwate Mikaaya, mumutwale ewa Amoni omukulu w'ekibuga, n'omulangira Yowaasi.
26
Mubagambe nti: ‘Kabaka alagidde nti akasajja ako mukateeke mu kkomera. Emmere n'amazzi mukawe mpa we bizira, okutuusa nga nkomyewo mirembe.’ ”
27
Awo Mikaaya n'agamba nti: “Bw'olikomawo emirembe, nga Mukama tayogeredde mu nze.” N'ayongerako nti: “Muwulire, abantu mwenna, kye njogedde.”
28
Awo Kabaka wa Yisirayeli ne Yehosafaati Kabaka wa Buyudaaya, ne balumba ekibuga Ramoti Gileyaadi.
29
Kabaka wa Yisirayeli n'agamba Yehosafaati nti: “Okuyingira mu lutalo, nze nja kugenda nga nneefuddefudde, naye ggwe ojja kwambala ebyambalo byo eby'obwakabaka.” Awo ne bagenda mu lutalo, nga Kabaka wa Yisirayeli yeefuddefudde.
30
Kabaka wa Siriya yali alagidde abaduumizi b'amagaali ge abaali naye nti: “Temulwanyisa muntu mulala yenna, omuto oba omukulu, wabula kabaka wa Yisirayeli yekka.”
31
Awo abaduumizi b'amagaali bwe baalaba Yehosafaati, ne bagamba nti: “Ono ye kabaka wa Yisirayeli.” Ne bakyuka okumulwanyisa. Kyokka Yehosafaati n'alaajana nnyo, Mukama Katonda n'amuyamba, n'abawugula ne bamuvaako.
32
Abaduumizi b'amagaali bwe baalaba nga si ye kabaka wa Yisirayeli, ne balekera awo okumuwondera.
33
Kyokka ne wabaawo omusajja omu eyasika omutego, n'amala galasa akasaale, ne kakwasa kabaka wa Yisirayeli, ekyambalo kye eky'ekyuma we kigattira mu kifuba. Kabaka n'agamba omugoba w'eggaali lye nti: “Kyusa eggaali, onzigye mu lutalo, kubanga banfumise.”
34
Awo olutalo bwe lwanyinnyittira ennyo ku lunaku olwo, kabaka wa Yisirayeli ne yeesigaamiriza mu ggaali lye okwolekera Abassiriya okutuusa olweggulo. Enjuba bwe yali ng'egwa, n'akisa omukono.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36