bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 16
2 Chronicles 16
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 17 →
1
Mu mwaka ogw'asatu mu omukaaga ogw'obufuzi bwa Asa, Baasa, Kabaka wa Yisirayeli n'alumba Buyudaaya. N'azimba ekigo ekigumu ku kibuga Raama, waleme kubaawo asobola okuva mu Buyudaaya, wadde okugendayo, okutuuka ku Asa, kabaka waayo.
2
Awo Asa n'aggya ffeeza ne zaabu mu ggwanika ly'Essinzizo, ne mu lubiri lwe, n'abiweereza Benihadadi, Kabaka wa Siriya, eyabeeranga e Damasiko, ng'amutumira nti:
3
“Tukole endagaano ey'okukolaganiranga awamu, nga bakitaffe gye baakola. Nkuweerezza ffeeza ne zaabu. Genda omenyewo endagaano y'enkolagana ne Baasa, Kabaka wa Yisirayeli, anveeko.”
4
Benihadadi n'akkiriza Kabaka Asa kye yamusaba. N'atuma abakulu b'amagye ge, okulumba ebibuga bya Yisirayeli. Ne bawamba Yiyoni, ne Daani ne Abeli Ayimu, n'ebibuga byonna ebya Nafutaali ebiterekebwamu ebintu.
5
Baasa bwe yawulira ebiguddewo, n'alekera awo okuzimba Raama, n'ayimiriza omulimu.
6
Awo Kabaka Asa n'atwala ab'omu Buyudaaya bonna, ne baggyawo amayinja n'emiti, Baasa bye yazimbisanga e Raama, Asa n'abizimbisa Geba ne Mizupa.
7
Mu kiseera ekyo, omulanzi Hanani n'agenda ewa Asa Kabaka wa Buyudaaya, n'amugamba nti: “Kubanga weesize Kabaka wa Siriya, n'oteesiga Mukama Katonda wo, eggye lya Yisirayeli kyelivudde likusumattuka.
8
Abeetiyopiya n'Abalibiya tebaali ggye ddene nnyo, omuli amagaali n'abeebagazi b'embalaasi abangi ddala? Naye kubanga weesiga Mukama, Mukama yabakuwa n'obawangula.
9
Amaaso ga Mukama galaba eno n'eri okubuna ensi yonna, okweraga nga bw'ali ow'amaanyi mu kukuuma abo ab'omutima ogumweweera ddala. Kino ky'okoze kya busiru. Okuva kati onoobanga n'entalo.”
10
Awo Asa n'asunguwalira nnyo omulanzi olw'ebigambo ebyo, kyeyava amukwata n'amuteeka mu kkomera. Mu biseera ebyo, Asa n'ayisa bubi abantu abamu.
11
Asa bye yakola okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu kitabo ky'ebyafaayo bya Bassekabaka ba Buyudaaya n'aba Yisirayeli.
12
Asa mu mwaka gwe ogw'amakumi asatu mu omwenda ku bwakabaka, n'alwala ebigere, n'aba bubi nnyo. Naye newaakubadde yalumizibwa nnyo, n'atasaba Mukama kumuwonya, wabula n'akozesa basawo.
13
Mu mwaka gwe ogw'amakumi ana mu ogumu ku bwakabaka, ne yeegatta ku bajjajjaabe.
14
N'aziikibwa mu ntaana yennyini gye yeesimira mu lwazi, mu kibuga kya Dawudi. Enjole ye n'egalamizibwa ku katanda akajjudde ebyakawoowo ebingi era ebya buli ngeri, ebyategekebwa abazirazi abakugu. Ne bakuma ekyoto kinene okumukungubagira.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36