bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 36
2 Chronicles 36
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
1
Awo abantu b'omu Buyudaaya ne balonda Yehoyahaazi mutabani wa Yosiya ne bamufuula Kabaka okusikira kitaawe mu Yerusaalemu.
2
Yehoyahaazi yali wa myaka amakumi abiri mu esatu we yatandikira okufuga. N'afugira emyezi esatu mu Yerusaalemu.
3
Kabaka w'e Misiri n'amuggya ku bwa kabaka mu Yerusaalemu, n'aweesa ensi eyo omusolo gwa talanta kikumi eza ffeeza ne talanta emu eya zaabu.
4
Kabaka we Misiri oyo n'addira Eliyakimu muganda wa Yehoyahaazi n'amufuula kabaka wa Buyudaaya ne Yerusaalemu, n'akyusa erinnya lya Eliyakimu, n'amutuuma Yehoyakiimu. Neeko n'akwata Yehoyahaazi muganda wa Yehoyakiimu, n'amutwala e Misiri.
5
Yehoyakiimu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yafuukira kabaka. N'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemu, n'akola ebitaasiimibwa Mukama Katonda we.
6
Nebukadunezzari Kabaka w'e Babilooni n'ajja n'amulwanyisa n'amusiba mu masamba n'amutwala e Babilooni.
7
Nebukadunezzari era n'atwala ku bintu eby'omu Ssinzizo n'abiteeka mu lubiri lwe e Babilooni.
8
Ebirala ebifa ku Yehoyakiimu, n'ebimuvunaanibwa, byawandiikibwa mu Byafaayo bya Bassekabaka ba Yisirayeli ne Buyudaaya. Yehoyakiini mutabani we ye yamusikira.
9
Yehoyakiini yali wa myaka munaana we yafuukira kabaka. N'afugira emyezi esatu n'ennaku kkumi mu Yerusaalemu. N'akola ebitasiimibwa Mukama.
10
Ekiseera ky'omwaka ebimera mwe bitojjerera bwe kyatuuka, kabaka Nebukadunezzari n'amutumya, ne bamuleeta e Babilooni wamu n'ebintu ebirungi eby'omu Ssinzizo, n'ateekawo Zeddeekiya muganda wa Yehoyakiini okuba kabaka wa Buyudaaya ne Yerusaalemu.
11
Zeddeekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu we yafuukira kabaka. N'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemu.
12
N'akola ebitasiimibwa Mukama Katonda we. N'ateetoowaliza Yeremiya omulanzi eyamubuulira Mukama bye yamutuma,
13
era n'ajeemera kabaka Nebukadunezzari, eyali amulayizza Katonda nti anaamuwuliranga, naye n'aguguba n'akakanyaza omutima gwe, n'ateenenyeza Mukama Katonda wa Yisirayeli.
14
Era bakabona abakulu, n'abantu bonna nabo ne basobya nnyo, ne bagoberera ebyenyinyalwa byonna eby'ab'amawanga amalala, ne boonoona Essinzizo, Mukama lye yatukuza mu Yerusaalemu.
15
Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'ayongera okubatumiranga ababaka be awatali kwosa, kubanga yali akwatirwa bo n'Essinzizo lye ekisa.
16
Naye ne basekerera ababaka ba Katonda, ne banyoomoola ebigambo bye, ne bayisa bubi abalanzi be, okutuusa Mukama lwe yasunguwalira ennyo abantu be, nga tebakyalina bwe bawona.
17
Awo Mukama n'aleeta kabaka w'Abakaludaaya okubalwanyisa, n'attira abavubuka baabwe mu kifo kyabwe eky'Essinzizo, awatali kusaasira muntu n'omu omulenzi wadde omuwala, omukadde wadde akootakoota. Katonda n'abawaayo bonna mu mikono gya kabaka.
18
N'ebintu byonna eby'omu Ssinzizo, ebinene n'ebitono n'ebyobugagga eby'omu Ssinzizo, n'ebya kabaka era n'eby'abakungu be, byonna kabaka w'Abakaludaaya n'abitwala e Babilooni.
19
Ne bookya Essinzizo ne bamenyaamenya ekigo kya Yerusaalemu ne bookya amayumba gaamu gonna, ne bazikiriza ebintu byamu byonna ebirungi.
20
N'abo abaawona okuttibwa ne batwalibwa e Babilooni ne baba baddu ba kabaka waayo, n'aba batabani be, okutuusa ku bufuzi bw'obwakabaka bwa Perusiya.
21
Ekyo kyabaawo okutuukiriza ekigambo kya Mukama kye yayogera ng'ayita mu Yeremiya nti: “Ensi eribeera matongo okumala emyaka nsanvu, okusasula ekiwummulo kya Sabbaato ekitaakuumibwa.”
22
Mu mwaka omubereberye ogw'obufuzi bwa Kuuro kabaka wa Perusiya, Mukama n'atuukiriza ekigambo kye, kye yayogera ng'ayita mu Yeremiya. Mukama n'akubiriza kabaka wa Perusiya, okufulumya ekirangiriro mu bwakabaka bwe bwonna, nga kiwandiikiddwa nti:
23
“Kuuro kabaka wa Perusiya agamba nti: ‘Mukama Katonda w'eggulu ampadde obwakabaka bwonna obw'omu nsi era ankuutidde okumuzimbira Essinzizo mu Yerusaalemu ekiri mu Buyudaaya. Kale buli ali mu mmwe ku bantu be, ayambukeyo, Mukama Katonda we abeere wamu naye.’ ”
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36