bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 13
2 Chronicles 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 14 →
1
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'obufuzi bwa Kabaka Yerobowaamu, Abiya n'afuuka Kabaka wa Bayudaaya.
2
N'afugira emyaka esatu mu Yerusaalemu. Nnyina yali Mikaaya, muwala wa Wuriyeeli ow'e Gibeya. Ne wabaawo olutalo wakati wa Abiya ne Yerobowaamu.
3
Abiya n'ayungula eggye ery'abalwanyi abazira, emitwalo amakumi ana. Yerobowaamu n'asitula eggye ery'abalwanyi abalondobe ab'amaanyi era abazira, emitwalo kinaana okumulwanyisa.
4
Abiya n'ayimirira ku lusozi Zemarayimu olw'omu nsi ya Efurayimu ey'ensozi, n'agamba nti: “Ggwe Yerobowaamu, nammwe Abayisirayeli mwenna, muwulire kye ŋŋamba.
5
Temumanyi nga Mukama Katonda wa Yisirayeli yawa Dawudi n'ab'ezzadde lye obwakabaka bwa Yisirayeli emirembe gyonna mu ndagaano eterikyuka?
6
Naye Yerobowaamu mutabani wa Nebaati omuweereza wa Solomooni mutabani wa Dawudi, yasituka n'ajeemera mukama we.
7
Abasajja abataliimu nsa ne bamukuŋŋaanirako, ne beewaggula ku Rehobowaamu mutabani wa Solomooni, aleme kuba kabaka waabwe. Rehobowaamu yali akyali muto era nga tannafuna bumanyirivu kubaziyiza.
8
Kaakano muteesa kya kulwanyisa bwakabaka bwa Mukama, bwe yawa ab'ezzadde lya Dawudi. Muli ggye ddene, era mulina ebifaananyi by'ente ebya zaabu, Yerobowaamu bye yabakolera okuba balubaale bammwe.
9
Mwagoba bakabona ba Mukama, ab'olulyo lwa Arooni era n'Abaleevi. Mu kifo kyabwe ne mulonderamu bakabona, ng'ab'amawanga amalala bwe bakola. Buli ajja okutukuzibwa ng'aleese ente ennume ento n'endiga ennume musanvu, mumukkiriza okufuuka kabona w'ebyo ebitali Katonda.
10
“Naye ffe tukyaweereza Mukama Katonda waffe, tetumuvangako. Bakabona abaweereza Mukama, ba lulyo lwa Arooni. Era Abaleevi babayambako.
11
Buli nkya na buli kawungeezi banyookeza obubaane eri Mukama, era bawaayo ebitambiro ebyokebwa. Bateeka ku mmeeza entukuvu emigaati egiweebwayo. Era buli kawungeezi balabirira ekikondo ky'ettaala ekya zaabu, okulaba nti ettaala zaakyo zaaka. Tukola ebyo Mukama Katonda waffe bye yalagira. Naye mmwe mwamuvaako.
12
Katonda yennyini ye mukulembeze waffe. Ne bakabona be, bali wano nga bakutte amakondeere okufuuyira ab'okubalwanyisa mmwe. Kale Abayisirayeli, temulwanyisa Mukama Katonda wa bajjajjammwe, kubanga temujja kuwangula.”
13
Mu kaseera ako, Yerobowaamu yali asindise abamu ku batabaazi be, okuteega eggye lya Buyudaaya nga baliva emabega, ate ekibiina ekirala ne kirirumba, nga kiriva mu maaso.
14
Abayudaaya baagenda okukebuka, nga balaba olutalo lubafulumye mu maaso n'emabega, ne beegayirira Mukama abawonye. Ne bakabona ne bafuuwa amakondeere.
15
Abayudaaya ne baleekaana nnyo. Bwe baaleekaana ennyo, Katonda n'awangula Yerobowaamu n'Abayisirayeli bonna, nga Abiya n'Abayudaaya balaba!
16
Abayisirayeli ne badduka Abayudaaya, Katonda n'asobozesa Abayudaaya okuwangula Abayisirayeli.
17
Abiya n'eggye lye ne bawangulira ddala Abayisirayeli, Abayisirayeli ne bafiirwa abaserikale baabwe abazira emitwalo amakumi ataano.
18
Bwe batyo Abayisirayeli bwe baatoowazibwa ku mulundi ogwo, Abayudaaya ne bawangula, kubanga beesiga Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe.
19
Awo Abiya n'awondera Yerobowaamu, n'awamba ebibuga bye: Beteli, ne Yesana ne Efurooni, n'ebyalo ebyali bibiriraanye.
20
Mu mirembe gya Abiya, Yerobowaamu teyaddayo kuba wa maanyi. N'oluvannyuma Mukama n'alwaza Yerobowaamu, Yerobowaamu n'akisa omukono.
21
Kyokka Abiya n'afuuka wa maanyi. N'awasa abakazi kkumi na bana. N'azaala abaana ab'obulenzi amakumi abiri mu babiri, n'ab'obuwala kkumi na mukaaga.
22
Ebirala Abiya bye yakola, n'empisa ze, ne bye yayogera, byawandiikibwa mu Byafaayo bya Yiddo Omulanzi.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36