bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 20
2 Chronicles 20
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 21 →
1
Ebyo bwe byaggwa, Abamowaabu n'Abammoni, n'abamu ku Bamewuni, ne balumba Yehosafaati mu lutalo.
2
Ne wajja abantu ne bagamba Yehosafaati nti: “Eggye eddene lizze okukulumba, nga liva mu Edomu, emitala w'ennyanja. Kaakati liri Hazazoni Tamari, (ye Engedi).”
3
Yehosafaati n'atya, ne yeewaayo okwegayirira Mukama, n'alangirira ekisiibo mu Buyudaaya bwonna.
4
Ab'omu Buyudaaya ne bakuŋŋaana okusaba Mukama abayambe. Ne bava mu bibuga bya Buyudaaya byonna, ne bajja okwegayirira Mukama.
5
Awo Yehosafaati n'ayimirira mu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu abakuŋŋaanidde ku Ssinzizo mu maaso g'oluggya olupya,
6
n'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda wa bajjajjaffe, osinziira mu ggulu n'ofuga obwakabaka bw'amawanga gonna. Olina obuyinza n'amaanyi, nga tewali ayinza kukuziyiza.
7
Ayi Katonda waffe, abantu bo Abayisirayeli bwe bajja mu nsi eno, wagigobamu abaagirimu, n'ogiwa bazzukulu ba Aburahamu mukwano gwo, ebe yaabwe ennaku zonna.
8
Bagibaddemu, era bakuzimbidde Essinzizo okukusinzizangamu, nga bagamba nti:
9
‘Bwe tunaatuukibwangako akabi, ng'olutalo, oba okusalirwa omusango, oba kawumpuli, oba enjala, tunaayimiriranga mu maaso g'Essinzizo lino, mu maaso go, kubanga mu lyo mwe tukusinziza, ne tukusindira obuyinike bwaffe, n'owulira, n'otuwonya.’
10
“Kale tunuulira Abammoni n'Abamowaabu, n'ab'oku Lusozi Seyiri! Bajjajjaffe bwe baava mu nsi y'e Misiri, tewabakkiriza kulumba bantu abo. Baabeebalama ne batabazikiriza.
11
Kaakano kye batusasula, kwe kujja okutugoba mu nsi gye watuwa okuba obutaka bwaffe.
12
Ayi Katonda waffe, obaziyize, kubanga ffe tetulina maanyi n'akatono kulwanyisa ggye ddene lino eritulumbye. Tetumanyi kye tunaakola, wabula tutunuulidde ggwe.”
13
Abasajja bonna ab'omu Buyudaaya baali bayimiridde awo ne bakazi baabwe n'abaana baabwe, omuli n'abaana abawere.
14
Awo Mwoyo wa Mukama n'ajja ku Muleevi eyali mu baali bakuŋŋaanidde awo, ayitibwa Yahaziyeeli, mutabani wa Zekariya, Zekariya mutabani wa Benaaya, Benaaya mutabani wa Yayeli, Yeyeri mutabani wa Mattaniya omu ku baana ba Asafu.
15
Yahaziyeeli n'agamba nti: “Ayi Kabaka Yehosafaati nammwe mwenna abantu b'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu, muwulire. Mukama abagamba mmwe nti: ‘Temutya, era eggye lino lireme kubaterebula, kubanga olutalo luno si mmwe munaalulwana, wabula Mukama.
16
Enkya mugende mubalumbe. Tebaaleme kulinnyalinnyira awambukirwa Zizi. Mujja kubasanga awakoma ekiwonvu, era eddungu ly'e Yerweli we litandikira.
17
Temujja kwetaaga kulwana lutalo luno. Mwesimbe muyimirire buyimirizi, mulyoke mulabe Mukama Omulokozi ali nammwe ky'akola. Mmwe abantu b'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu, temutya era temuterebuka. Enkya mubalumbe, Mukama ali nammwe.’ ”
18
Awo Yehosafaati n'avuunamira ddala ku ttaka, n'ab'omu Buyudaaya bonna n'ab'omu Yerusaalemu ne bavuunama mu maaso ga Mukama, ne bamusinza.
19
Abaleevi abasibuka mu Kohati, ne mu Koora, ne bayimirira, era mu ddoboozi ery'omwanguka, ne batendereza Mukama Katonda wa Yisirayeli.
20
Enkeera mu makya, ne basituka ne bagenda mu ddungu ly'e Tekowa. Bwe baali batandika olugendo lwabwe, Yehosafaati, n'ayimirira n'agamba nti: “Abantu b'omu Buyudaaya, nammwe ab'omu Yerusaalemu, muwulire kye ŋŋamba. Mukkirize Mukama Katonda wammwe, mulyoke mugume. Mukkirize eby'abalanzi be, lwe munaawangula.”
21
Bwe yamala okuteesa n'abantu, n'ateekawo ab'okuyimbira Mukama okumutendereza, nga bambadde ebyambalo eby'emikolo emitukuvu, ne bakulemberamu eggye, ne bagenda nga bayimba nti: “Mutendereze Mukama, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.”
22
Bwe baatandika okuyimba n'okutendereza, Mukama n'ateekawo abateezi okuteega Abammoni n'Abamowaabu, n'ab'oku Lusozi Seyiri, abaali balumbye Buyudaaya, ne bagugumulwa.
23
Kubanga Abammoni n'Abamowaabu baalumba ab'oku lusozi Seyiri, ne babatta okubazikiririza ddala. Bwe baamala okusaanyaawo ab'oku Seyiri, olwo bonna ne battiŋŋana.
24
Abayudaaya bwe baatuuka we balengerera mu ddungu, ne batunuulira eggye ly'abalabe, ne balaba nga bonna mirambo egigaŋŋalamye, nga tewali awonyeewo.
25
Yehosafaati n'abantu be bwe bajja okubaggyako omunyago, ne babasanga n'ebyobugagga bingi, n'ebintu eby'omuwendo ennyo, bye baayambula ku mirambo ne babyetwalira, era ne bibalemerawo. Okumanya byali bingi, ne bamala ennaku ssatu nga babikuŋŋaanya.
26
Ku lunaku olwokuna, ne bakuŋŋaanira mu kiwonvu kya Beraka, ne batendereza Mukama. Okuva olwo ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa ekiwonvu kya Beraka
27
Awo Yehosafaati n'akulembera ab'omu Buyudaaya bonna n'ab'omu Yerusaalemu, ne baddayo e Yerusaalemu nga basanyuse, kubanga Mukama yali awangudde abalabe baabwe.
28
Bwe baatuuka e Yerusaalemu, ne bagenda mu Ssinzizo nga balina entongooli n'ennanga, n'amakondeere.
29
Ab'omu bwakabaka obw'omu nsi zonna bwe baawulira nga Mukama alwanyisizza abalabe ba Yisirayeli, ne batya Katonda.
30
Awo obwakabaka bwa Yehosafaati ne butereera, kubanga Katonda yamuwa emirembe ku njuyi zonna.
31
Yehosafaati yafuuka kabaka wa Buyudaaya nga wa myaka amakumi asatu mu etaano, n'afugira emyaka amakumi abiri mu etaano mu Yerusaalemu. Nnyina yali Azuba, muwala wa Siluhi.
32
Yehosafaati yali wa mpisa nnungi nga Asa kitaawe. N'atazivaamu, n'akolanga ebirungi Mukama by'asiima.
33
Wabula ebifo ebigulumivu bye basinzizaamu, tebyaggyibwawo. Era n'abantu baali tebannamalira mitima gyabwe ku kusinza Katonda wa bajjajjaabwe.
34
N'ebirala Yehosafaati bye yakola, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu kitabo kya Yehu, mutabani wa Hanani, ne biyingizibwa mu kitabo ky'Ebyafaayo bya Bassekabaka ba Yisirayeli.
35
Oluvannyuma Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya yeegatta ne Ahaaziya kabaka wa Yisirayeli eyakola ebibi ebingi.
36
Yeegatta naye okukola amaato ag'okugenda e Tarusiisi, nga bagakolera mu Eziyonigeberi.
37
Awo Eleyezeeri, mutabani wa Dadavahu ow'e Maresa, n'alabula Yehosafaati nti: “Nga bwe weegasse ne Ahaaziya, Mukama ajja kuzikiriza by'okoze.” Amaato ne gamenyekera mu nnyanja, ne gatayinza kugenda Tarusiisi.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36