bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 28
2 Chronicles 28
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 29 →
1
Ahazi yali wa myaka amakumi abiri we yatandikira okufuga. N'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemu. N'atakola birungi ebisanyusa Mukama nga jjajjaawe Dawudi bye yakola.
2
N'agoberera empisa za bassekabaka ba Yisirayeli, era n'aweesa ebifaananyi bya Babbaali.
3
Era n'ayoterezanga obubaane mu kiwonvu kya mutabani wa Hinnomu. N'ayokyanga ne batabani be mu muliro ng'ebitambiro, nga bwe yali empisa eyenyinyalwa ey'ab'amawanga, Mukama be yagoba mu nsi eyo, ng'Abayisirayeli batuuka.
4
Era yatambiranga n'anyookeza n'obubaane mu bifo ebigulumivu ne mu nsozi na buli wansi wa muti ogw'amakoola.
5
Olw'ebibi ebyo, Mukama Katonda we kyeyava amuwaayo mu mikono gya Kabaka w'e Siriya, n'amuwangula. Ne batwala abantu be bangi nnyo nga basibe, ne babaleeta e Damasiko. Era yaweebwayo mu mikono gya Kabaka wa Yisirayeli eyamuwangula ng'asse n'abantu be bangi ddala.
6
Kubanga Peka mutabani wa Remaaliya, yatta mu Buyudaaya abantu emitwalo kkumi n'ebiri mu lunaku lumu, bonna abasajja abazira kubanga baali bavudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
7
Zikuri omusajja ow'amaanyi Omwefurayimu n'atta Maaseya mutabani wa kabaka, ne Azurikaamu alabirira olubiri lwa kabaka, ne Elukaana eyali addirira kabaka.
8
Abayisirayeli ne batwala baganda baabwe ab'omu Buyudaaya, abakazi n'abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, emitwalo amakumi abiri nga basibe. Era ne babaggyako n'ebintu bingi. Ne batwala omunyago e Samariya.
9
Naye omulanzi wa Mukama, erinnya lye Odedi yali Samariya, n'asituka okusisinkana eggye nga likomawo e Samariya. N'abagamba nti: “Mukama Katonda wa bajjajjammwe yasunguwalira ab'omu Buyudaaya, kyavudde abawaayo mu mikono gyammwe. Naye mubassizza obusungu obutumbidde okutuuka ku ggulu.
10
Era kaakano mwagala okufuga abantu b'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu babe abaddu n'abazaana bammwe. Naye mmwe temuliiko bibi bye mwakola ne munyiiza Mukama Katonda wammwe?
11
Kale muwulire kye ŋŋamba, muzzeeyo abasibe be muwambye ku baganda bammwe, kubanga nammwe Mukama abasunguwalidde n'obukambwe.”
12
Awo abamu ku bakulembeze mu Beefurayimu: Azariya mutabani wa Yohanaani, ne Berekiya mutabani wa Mesillemoti, ne Yehizukiya, mutabani wa Sallumu, ne Amasa mutabani wa Hadulayi, nabo ne bawakanya abo abaava mu lutalo.
13
Ne babagamba nti: “Temuleeta wano abasibe. Twakola dda ebibi ne tunyiiza Mukama mu Yisirayeli, kubanga omusango gwaffe munene. Ate mwagala mwongere okugezza ebibi byaffe n'omusango gwaffe?”
14
Awo abaserikale ne baleka abasibe n'omunyago mu maaso g'abakulembeze n'ekibiina kyonna.
15
Abasajja abamaze okwogerwako amannya gaabwe, ne basituka ne batwala abo abasibe abaali obwereere ne babawa engoye, nga batoola ku munyago, ne babambaza era ne babawa engatto. Ne babafunira ebyokulya n'ebyokunywa. Ne babasiiga omuzigo. Abatalina maanyi ne babatwalira ku ndogoyi, ne babatuusa e Yeriko ekibuga ky'enkindu, mu baganda baabwe. Awo Abayisirayeli ne baddayo e Samariya.
16
Mu kiseera ekyo, Kabaka Ahazi n'atumira kabaka wa Assiriya okumuyamba,
17
kubanga Abeedomu baali bazzeemu okulwanyisa ab'omu Buyudaaya ne babawangula, ne batwala abasibe.
18
Abafilistiya nabo baali balumbye ebibuga eby'omu nsenyi n'eby'obukiikaddyo obwa Buyudaaya. Ne bawamba ebibuga Betisemesi ne Ayiyalooni ne Gederoti, n'ebibuga Soko ne Timuna ne Gimuzo n'ebyalo byabyo, ne babeeranga omwo,
19
kubanga Mukama yatoowaza Buyudaaya olwa Ahazi Kabaka wa Yisirayeli. Ahazi yali akoze eby'effujjo mu Buyudaaya n'anyiiza nnyo Mukama, n'ataba mwesigwa eri Mukama.
20
Awo Tilugati Piluneseri, kabaka wa Assiriya bwe yajja, mu kifo ky'okumuyamba n'amuwakanya, n'amwongera kweraliikirira.
21
Kubanga Ahazi yabaako by'aggya mu Ssinzizo, ne mu lubiri lwe, ne mu nnyumba za bakungu, n'abiwa kabaka wa Assiriya, era ne kitamuyamba.
22
Kabaka oyo Ahazi, ne mu kiseera mwe yabonaabonera, yeeyongera bweyongezi okunyiiza Mukama.
23
N'awaayo ebitambiro eri balubaale b'e Damasiko, abaamuwangula. N'agamba nti: “Balubaale ba bakabaka ba Siriya baabayamba, nange ka mbawe ebitambiro bannyambe.” Wabula ne bamuviiramu okuzikirira, ye ne Yisirayeli yonna.
24
Awo Ahazi n'akuŋŋaanya ebintu ebikozesebwa mu Ssinzizo, n'abyasaayasa byonna. N'aggalawo enzigi z'Essinzizo ne yeekolera alutaari mu buli kafo mu Yerusaalemu.
25
Ne mu buli kibuga kya Buyudaaya n'akolamu ebifo ebigulumivu okwoterezanga balubaale obubaane, n'asunguwaza Mukama Katonda wa bajjajjaabe.
26
Ebirala byonna bye yakola, n'empisa ze zonna okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bassekabaka ba Buyudaaya n'aba Yisirayeli.
27
Ahazi ne yeegatta ku bajjajjaabe. Ne bamuziika mu kibuga, mu Yerusaalemu, kyokka tebaamuyingiza mu masiro ga bassekabaka ba Yisirayeli. Heezeekiya mutabani we n'amusikira.
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36