bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 32
2 Chronicles 32
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 33 →
1
Ebyo Heezeekiya bye yakola n'obwesigwa bwe byaggwa, Sennakeribu kabaka w'Assiriya n'ajja n'azinda Buyudaaya n'asiisira okwolekera ebibuga ebiriko ebigo ebigumu, ng'ateekateeka okubiwamba abyefuge.
2
Awo Heezeekiya bwe yalaba nga Sennakeribu azze, era ng'amaliridde okulwanyisa Yerusaalemu,
3
ne yeebuuza ku bakungu be ne ku basajja be ab'amaanyi, okuziba ensulo z'amazzi ezaali ebweru w'ekibuga, ne bamuwagira.
4
Awo abantu bangi ne bakuŋŋaana, ne baziba ensulo zonna ez'amazzi era n'akagga akayita mu kitundu ekyo, nga bagamba nti: “Lwaki bakabaka ba Assiriya basanga amazzi amangi nga bazze?”
5
N'aguma omwoyo, n'azimba ekisenge kyonna ekyali kimenyese n'akisitula okwenkana n'eminaala. N'azimba n'ekisenge ekirala ebweru waakyo. N'anyweza mu Kibuga kya Dawudi ekifo ekyajjuzibwamu ettaka olw'okwerinda ekiyitibwa Millo. N'akola ebyokulwanyisa era n'engabo bingi ddala.
6
Abantu n'abateekako abaduumizi b'amagye okubalabirira. Era n'abakuŋŋaanyiza w'ali mu kifo ekigazi ku wankaaki w'ekibuga n'ayogera nabo ebigambo eby'okubagumya, n'abagamba nti:
7
“Mube ba maanyi era bamalirivu, temutya era temuterebuka okulaba kabaka wa Assiriya, wadde okulaba eggye lyonna eriri naye, kubanga tulina ow'obuyinza okusinga abali naye.
8
Ye ali wamu n'eggye ery'abantu, naye ffe tuli wamu ne Mukama Katonda waffe okutuyamba era n'okulwana entalo zaffe.” Abantu ne baguma olw'ebigambo ebyo, ebya Heezeekiya kabaka wa Buyudaaya.
9
Ebyo bwe byaggwa, Sennakeribu kabaka wa Assiriya eyali azingizizza Lakisi n'amagye ge gonna, n'atuma abaweereza be e Yerusaalemu eri Heezeekiya kabaka wa Buyudaaya, n'eri abantu b'omu Buyudaaya bonna abaali e Yerusaalemu, ng'agamba nti:
10
“Sennakeribu kabaka wa Assiriya agamba bw'ati nti: ‘Mwesiga ki okulinda okuzingizibwa mu Yerusaalemu?’
11
Heezeekiya tababuzaabuza okubawaayo mufe enjala n'ennyonta, bw'agamba nti Mukama Katonda wammwe ajja kubawonya Abassiriya?
12
Heezeekiya oyo si ye yaggyawo ebifo bya Mukama ebigulumivu ne alutaari ze, n'alagira abantu b'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu nti: ‘Munaasinzizanga mu maaso ga alutaari emu yokka, era okwo kwe munaayotererezanga obubaane?’
13
Temumanyi nze ne bajjajjange kye twakola amawanga gonna ag'omu nsi endala? Balubaale b'amawanga g'omu nsi ezo baasobola okubaako kye bakola okuwonya ensi zaabwe okuziggya mu mikono gyange?
14
Lubaale ki ku balubaale bonna ab'amawanga ago bajjajjange ge baazikiririza ddala, eyasobola okuwonya abantu be okubaggya mu mikono gyange, Katonda wammwe alyoke asobole okubawonya mmwe, abaggye mu mikono gyange?
15
Kale Heezeekiya aleme kubalimbalimba wadde okubasendasenda bw'atyo, era temumukkiriza, kubanga tewali lubaale wa ggwanga na limu oba bwakabaka, eyasobola okuwonya abantu be n'abaggya mu mikono gyange n'egya bajjajjange. Kale olwo Katonda wammwe anaabawonya atya okubaggya mu mikono gyange?”
16
Abakungu ba Assiriya ne beeyongera okuvuma Mukama, n'omuweereza we Heezeekiya.
17
Era n'awandiika ebbaluwa okuvvoola Mukama Katonda wa Yisirayeli, n'okumwogerako obubi nti: “Nga balubaale b'amawanga ag'omu nsi endala bwe bataawonya bantu baabwe okubaggya mu mikono gyange, bw'atyo ne Katonda wa Heezeekiya tajja kuwonya bantu be kubaggya mu mikono gyange.”
18
Ababaka ne baleekaana nnyo nga boogera ebigambo ebyo mu lulimi lw'Abayudaaya nga bigamba abantu b'e Yerusaalemu abaali ku kigo ky'ekibuga okubakanga n'okubatiisa, bo balyoke bawambe ekibuga.
19
Ne boogera ku Katonda wa Yerusaalemu nga bwe boogera ku balubaale ab'amawanga ag'omu nsi abantu be beekolera n'emikono gyabwe.
20
Awo Heezeekiya kabaka ne Yisaaya omulanzi mutabani wa Amozi ne basaba Katonda, ne bamwegayirira olw'ekyo.
21
Mukama n'atuma malayika, n'asaanyaawo abaserikale bonna ab'amaanyi abazira n'abaduumizi, n'abakulu b'eggye mu lusiisira lwa kabaka wa Assiriya. Awo kabaka w'Assiriya n'addayo mu nsi ye ng'aswadde. Awo bwe yatuuka mu ssabo lya lubaale we, abamu ku batabani be ne bamutemula n'ekitala.
22
Bw'atyo Mukama n'awonya Heezeekiya n'abo abaali mu Yerusaalemu n'abaggya mu mikono gya Sennakeribu kabaka wa Assiriya, ne mu mikono gy'abalabe baabwe abalala bonna, n'abaluŋŋamya ku njuyi zonna.
23
Awo bangi ne bajja e Yerusaalemu nga baleetera Mukama ebitone, ne Heezeekiya kabaka wa Buyudaaya amakula ag'omuwendo. Okuva olwo Heezeekiya amawanga gonna ne gamussaamu ekitiibwa.
24
Mu biseera ebyo Heezeekiya n'alwala, n'ajula okufa. Ne yeegayirira Mukama, Mukama n'ayogera naye era n'amuwa akabonero nti ajja kuwona.
25
Wabula Heezeekiya ne yeekuza n'ateebaza nga bwe kyali kigwanira olw'ekirungi kye yakolerwa, Mukama kyeyava amusunguwalira ye ne Buyudaaya era ne Yerusaalemu.
26
Kyokka Heezeekiya n'abantu b'omu Yerusaalemu ne beetoowaza olw'okwekuza kwe okwo, Mukama n'atabasunguwalira mu mirembe gya Heezeekiya.
27
Heezeekiya n'afuna obugagga bungi n'ekitiibwa kinene. Ne yeefunira amawanika ag'okuterekamu ffeeza ne zaabu, n'amayinja ag'omuwendo, n'ebyakaloosa, n'engabo, n'ebintu byonna ebirungi,
28
n'amayumba agaterekebwamu ebikungulwa eby'eŋŋaano, n'omwenge gw'emizabbibu, n'omuzigo gw'emizayiti, n'ennyumba ez'ebisolo ebirundibwa ebya buli ngeri, n'amagana mu bisibo.
29
Era ne yeezimbira ebibuga, n'afuna endiga n'embuzi n'ente nnyingi, kubanga Katonda yali amuwadde ebintu bingi nnyo ddala.
30
Era Heezeekiya oyo ye yaziba omukutu gw'amazzi ogw'engulu ogw'Oluzzi lwa Gihoni, n'agatemera ogwo ogw'okugaserengesa ku ludda olw'ebugwanjuba bw'ekibuga kya Dawudi. Heezeekiya yalina omukisa mu byonna bye yakola.
31
Era ne mu by'ababaka b'abakungu b'e Babilooni abaamutumirwa okubuuza ekyamagero ekyatuuka mu nsi ye, Katonda n'amuleka okumugeza alyoke ategeere byonna ebyali mu mutima gwe.
32
N'ebirala byonna ebifa ku Heezeekiya, n'ebikolwa bye ebirungi biwandiikiddwa mu Kulabikirwa kwa Yisaaya Omulanzi, Mutabani wa Amozi, ne mu Kitabo kya Bassekabaka ba Buyudaaya ne Yisirayeli.
33
Awo Heezeekiya ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu kitundu ekya waggulu eky'amasiro ga bazzukulu ba Dawudi. Ab'omu Buyudaaya bonna n'ab'omu Yerusaalemu ne bamussaamu ekitiibwa bwe yafa. Mutabani we Manasse n'amusikira.
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 33 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36