bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 6
2 Chronicles 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 7 →
1
Awo Solomooni n'agamba nti: “Ayi Mukama wasiima okunneeraga mu kire ekikutte ekizikiza.
2
Naye nze nkuzimbidde Essinzizo eryekitiibwa, libe ekifo mw'onoobeeranga ennaku zonna.”
3
Awo Kabaka n'akyuka, n'atunuulira ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli, ekyali kiyimiridde awo, n'abasabira omukisa.
4
N'agamba nti: “Mwebaze Mukama, Katonda wa Yisirayeli, atuukirizza kye yasuubiza kitange Dawudi, bwe yamugamba nti:
5
‘Kasookedde nzigya bantu bange mu Misiri, sirondanga kibuga na kimu mu Yisirayeli, mwe bananzimbira Ssinzizo, era sirondanga muntu n'omu wa kukulemberanga bantu bange Abayisirayeli.
6
Naye kaakano neerondedde Yerusaalemu okuba ekifo mwe banansinzizanga. Era nnonze ggwe Dawudi, okulembere abantu bange Abayisirayeli’ ”
7
Solomooni n'ayongera okugamba nti: “Kitange Dawudi yalowooza okuzimbira Mukama Katonda wa Yisirayeli Essinzizo.
8
Naye Mukama n'amugamba nti: ‘Wakola bulungi okulowooza okunzimbira Essinzizo.
9
Naye si ggwe ojja okulinzimbira, wabula mutabani wo ggwe wennyini gw'ozaala, ye alinzimbira Essinzizo.’
10
“Kaakano Mukama atuukirizza ekigambo kye, kye yayogera, kubanga nsikidde kitange Dawudi, ne ntuula ku ntebe y'obwakabaka bwa Yisirayeli, nga Mukama bwe yasuubiza. Era nzimbidde Mukama Katonda wa Yisirayeli Essinzizo.
11
Era nditaddemu Essanduuko erimu Endagaano, Mukama gye yakola n'abantu ba Yisirayeli.”
12
Awo Solomooni n'ayimirira mu maaso ga alutaari ya Mukama, ng'Abayisirayeli bonna bali awo, n'agolola emikono gye.
13
Yali akoze ekituuti eky'ekikomo, kya mita bbiri n'obutundu bubiri obuwanvu era n'obugazi, ne mita emu n'obutundu busatu obugulumivu, ng'akitadde wakati mu luggya. N'alinnya waggulu ku kituuti ekyo, n'afukamira mu maaso g'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli, n'agolola emikono gye eri eggulu.
14
N'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda wa Yisirayeli, mu ggulu ne mu nsi tewali Katonda mulala ali nga ggwe. Kubanga ggwe okuuma endagaano gy'okola n'abantu bo, era obakwatirwa ekisa, bwe bakunywererako n'omutima gwabwe gwonna.
15
Wakuuma kye wasuubiza omuweereza wo kitange Dawudi. Ggwe wakimusuubiza wennyini, era olwaleero okituukirizza.
16
Kale nno, ayi Mukama Katonda wa Yisirayeli, kuuma kye wasuubiza omuweereza wo kitange, bwe wamugamba nti ab'ezzadde lye bwe balibeera abawulize, era ne bakunywererako nga ye bwe yakola, taabulwenga mu bo batuula ku ntebe ya bwakabaka bwa Yisirayeli.
17
Kale kaakano, ayi Mukama Katonda wa Yisirayeli, tuukiriza ekigambo kyo, kye wagamba omuweereza wo Dawudi.
18
“Naye ddala, ayi Katonda, oyinza okubeera n'abantu bo ku nsi? N'eggulu lyennyini olifundamu n'otogyamu. Kale onoogya otya mu Ssinzizo lino lye nzimbye?
19
Wabula ndi muweereza wo, ayi Mukama Katonda wange. Wulira okwegayirira kwange, era ompe bye nkusaba.
20
Kuumanga Essinzizo lino emisana n'ekiro. Wasuubiza nti kino kye kifo mwe banaakusinzizanga. Kale owulirenga bye nnaakusabanga nze omuweereza wo, nga ntunuulidde Essinzizo lino.
21
Era owulirenga bye nkusaba nze omuweereza wo, era n'abantu bo Abayisirayeli bye banaakusabanga, nga batunuulidde ekifo kino. Ddala otuwulire era otusaasire ng'osinziira mu ggulu eyo gy'obeera.
22
“Omuntu bwe banaamulumirizanga nti yazza omusango ku munne, ne baagala okumulayiza okukakasa oba nga talina musango, n'ajja n'alayirira wano mu maaso ga alutaari yo mu Ssinzizo lino,
23
mu ggulu eyo gy'oli owuliranga, n'olamula abaweereza bo, n'obonereza omusobya, ne wejjeereza atalina musango.
24
“Abantu bo Abayisirayeli bwe banaawangulwanga abalabe baabwe olw'okukunyiiza, naye ne badda gy'oli ne bakwenenyeza, ne basaba nga beegayirira mu maaso go mu Ssinzizo lino,
25
eyo gy'oli mu ggulu owuliranga, n'osonyiwa ebibi by'abantu bo Abayisirayeli, n'obakomyawo mu nsi gye wabawa, bo ne bajjajjaabwe.
26
“Eggulu bwe lineesibanga, enkuba n'etetonnya, kubanga abantu bakoze ebibi ne bakunyiiza, naye oluvannyuma ne bakwegayirira nga batunuulidde ekifo kino, ne bakwenenyeza, ne balekayo ebibi byabwe ng'omaze okubabonereza,
27
eyo gy'oli mu ggulu owuliranga n'osonyiwa ebibi by'abaweereza bo, era abantu bo Abayisirayeli, n'obayigiriza okukolanga ebituufu; olwo n'otonnyesa enkuba ku nsi yo eno, gye wawa abantu bo okuba eyaabwe emirembe gyonna.
28
“Mu nsi bwe munaagwangamu enjala, oba bwe munaabangamu endwadde ya kawumpuli, oba ebirime bwe binaagengewalanga, oba ne bijjako obukuku oba ebisaanyi; oba abalabe bwe banaalumbanga abantu bo mu bibuga byabwe, oba bwe wanaabangawo endwadde yonna, oba okulumizibwa okwa buli ngeri,
29
abantu bo Abayisirayeli ne bakusaba era ne bakwegayirira buli omu ku lulwe, oba bonna awamu nga bakugololera emikono, gye boolekeza Essinzizo lino okusinziira ku bulumi ne ku buyinike bwe bawulira,
30
eyo mu ggulu gy'obeera obawuliranga era obasonyiwanga. Buli omu omukoleranga ku bibye nga bw'asaanira, kubanga ggwe wekka, ggwe omanyi emitima gy'abantu,
31
balyoke bakutyenga, era bakuwulirenga, ebbanga lyonna lye balimala mu nsi gye wawa bajjajjaffe.
32
“Omugwira atabeera mu bantu bo Abayisirayeli, bw'anaavanga mu nsi ey'ewala, ng'awulidde obukulu bwo, n'obuyinza bwo, n'engeri gy'okolamu eby'amaanyi, n'ajja n'asinza ng'atunuulidde Essinzizo lino,
33
eyo mu ggulu gy'obeera owuliranga by'akusaba okumukolera, olwo abantu bonna mu nsi balyoke bakumanye era bakuwulire, ng'abantu bo Abayisirayeli bwe bakuwulira, era bamanye nti Essinzizo lino lye nzimbye lya kukusinzizangamu.
34
“Abantu bo bwe banaagendanga gy'onoobanga obatumye okulwanyisa abalabe baabwe, ne bakusinza nga batunuulidde ekibuga kino kye weeroboza, era nga batunuulidde Essinzizo lye nkuzimbidde,
35
owuliranga bye bakusaba. Owuliranga okwegayirira kwabwe, n'obalwanirira, ng'osinziira mu ggulu.
36
“Abantu bo bwe banaakolanga ekibi ne bakunyiiza, nga bwe watali atakola kibi, n'obasunguwalira era n'oleka abalabe baabwe okubawangula ne babatwala mu nsi eri okumpi oba ewala,
37
naye bwe baneerowoozanga nga bali eyo mu nsi gye batwaliddwa nga basibe, ne beenenya, ne bakwegayirira nga bagamba nti: ‘Twayonoona, twawaba, era twakola ebitasaana;’
38
bwe baneenenyezanga ddala mu mazima nga bali eyo mu nsi, gye baatwalibwa nga basibe, ne bakusinza nga batunuulidde ensi yaabwe, gye wawa bajjajjaabwe, era nga batunuulidde ekibuga kye weeroboza, era n'Essinzizo lino lye nkuzimbidde,
39
kale owuliranga bye bakusaba. Eyo mu ggulu gy'obeera, owuliranga okwegayirira kwabwe, n'obalwanirira, era n'osonyiwa abantu bo abakoze ebibi ne bakunyiiza.
40
“Kaakano ayi Katonda wange, weekalirize amaaso, era otege amatu, owulire byonna ebisabirwa mu kifo kino.
41
Situka ayi Mukama Katonda, ojje mu kifo mw'owummulira, obeeremu n'Essanduuko ey'Endagaano, etegeeza obuyinza bwo. Lokola bakabona bo, ayi Mukama Katonda, n'abatukuvu basanyuke olw'ebirungi by'obakolera.
42
Ayi Mukama Katonda, togoba oyo owuwo gwe wasiiga omuzigo. Jjukira okwagala kwe wayagalamu Dawudi, omuweereza wo.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36