bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 25
2 Chronicles 25
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 26 →
1
Amaziya yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yatandikira okufuga. N'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda. Nnyina yali Yehoyaddini ow'e Yerusaalemu.
2
Amaziya n'akola ebyo ebisiimibwa Mukama, wabula nga tabitaddeeko nnyo mutima.
3
Awo olwamala okwenyweza ku bwakabaka, n'atta abaweereza be abatta kitaawe.
4
Kyokka n'atatta baana baabwe, wabula n'agoberera ekyo ekyawandiikibwa mu kitabo kya Musa, nga Mukama bwe yalagira nti: “Abazadde tebattibwenga olw'emisango gya baana baabwe, n'abaana tebattibwenga olw'emisango bazadde baabwe gye bazza. Omuntu anattibwanga lwa musango ye yennyini gwe yazza.”
5
Amaziya n'akuŋŋaanya abasajja ab'omu Buyudaaya, n'ategeka ab'omu kika kya Yuda n'ab'omu Benyamiini mu bibinja by'abaserikale, ng'asinziira ku nnyumba za bajjajjaabwe, nga bakulemberwa abaduumizi b'olukumi lukumi, n'ab'ekikumi kikumi. N'abala abo abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, n'asanga nga bawera abasajja emitwalo amakumi asatu, abalondemu abayinza okugenda mu lutalo, era abamanyirivu mu kulwanyisa amafumu n'engabo.
6
Era n'apangisa abasajja ab'amaanyi era abazira emitwalo kkumi, ng'abaggya mu Yisirayeli, ku muwendo gwa talanta kikumi eza ffeeza.
7
Kyokka omuntu wa Katonda n'ajja, n'amugamba nti: “Ayi Kabaka, teweekolera n'ogenda n'eggye ly'Abayisirayeli, kubanga Mukama tali wamu nabo, era tali wamu na Beefurayimu bonna.
8
Naye bw'onooyagala okugenda, kikole olage amaanyi n'obuzira mu lutalo. Katonda ajja kukumegga mu maaso g'abalabe. Kubanga Katonda alina obuyinza okuyamba omuntu n'awangula, era alina obuyinza okumuleka ne bamuwangula.”
9
Amaziya n'agamba omuntu wa Katonda nti: “Naye tunaakola tutya talanta ekikumi ze mmaze okusasula eggye lya Yisirayeli?” Omuntu wa Katonda n'addamu nti: “Mukama ayinza okukuwa ekisinga ennyo ku ekyo.”
10
Awo Amaziya n'ayawulamu ab'eggye eryali lizze gy'ali nga livudde mu Efurayimu, n'abasiibula okuddayo ewaabwe. Ne basunguwalira nnyo ab'omu Buyudaaya, ne baddayo ewaabwe nga baliko ekiruyi kingi.
11
Awo Amaziya n'aguma omwoyo, n'akulembera abantu be, n'agenda mu kiwonvu eky'Omunnyo, n'atta abaserikale b'e Seyiri omutwalo gumu.
12
Abayudaaya ne bawamba n'abalala omutwalo gumu, ne babatwala waggulu ku ntikko y'olusozi, ne babasukkiza wansi, bonna ne babetenteka.
13
Naye abasajja ab'omu ggye, Amaziya be yazzaayo n'abagaana okugenda naye mu lutalo, ne balumba ebibuga bya Buyudaaya, okuva e Samariya okutuuka e Beti Horoni, ne battamu abantu enkumi ssatu, ne batwala omunyago mungi.
14
Amaziya bwe yakomawo ng'amaze okutta Abeedomu, n'aleeta balubaale b'abantu abo, ab'e Seyiri, n'abateekawo okuba balubaale be, n'abavuunamira, era n'abootereza obubaane.
15
Mukama kyeyava asunguwalira Amaziya, n'amutumira omulanzi. Omulanzi n'amugamba nti: “Lwaki osinzizza balubaale b'abantu, abataasobola kutaasa bantu baabwe kubaggya mu mikono gyo?”
16
Kyokka bwe yali ng'akyayogera, kabaka n'amugamba nti: “Twali tukulonze okuwanga kabaka amagezi? Oba tonoonya kuttibwa, sirika.” Omulanzi n'asirika, wabula ng'amaze kumugamba nti: “Mmanyi nga Katonda amaliridde okukuzikiriza, kubanga okoze ekyo, era n'otowuliriza magezi ge nkuwadde.”
17
Awo Amaziya kabaka wa Buyudaaya bwe yamala okuteesa n'abo abamuwa amagezi, n'atumira Yowaasi mutabani wa Yehoyahaazi, era muzzukulu wa Yehu kabaka wa Yisirayeli, ng'agamba nti: “Jjangu twolekagane maaso na maaso.”
18
Awo Yowaasi kabaka wa Yisirayeli n'atumira Amaziya kabaka wa Buyudaaya ng'agamba nti: “Omwennyango ogwali ku lusozi Lebanooni gwatumira omuvule era ogwali eyo, nga gugamba nti: ‘Mutabani wange muwe muwala wo amuwase.’ Ensolo ey'omu ttale ey'oku Lebanooni bwe yali eyitawo, n'erinnyirira omwennyango.
19
Kaakano ogamba nti: ‘Laba, mpangudde Abeedomu!’ Ekyo ne kikuleetera okwewaga n'okwegulumiza. Kale beera ewuwo. Lwaki weetakulira emitawaana egy'okukuzikiriza ggwe ne Buyudaaya yonna?”
20
Kyokka Amaziya n'agaana okuwuliriza, kubanga Katonda yayagala okubawaayo bawangulwe abalabe baabwe, kubanga baasinza balubaale ba Edomu.
21
Awo Yowaasi kabaka wa Yisirayeli n'alumba. Ye ne Amaziya kabaka wa Buyudaaya, ne boolekagana maaso na maaso e Betisemesi ekya Buyudaaya.
22
Yisirayeli n'awangula eggye lya Buyudaaya, buli mutabaazi n'adduka n'addayo ewaabwe.
23
Awo Yowaasi kabaka wa Yisirayeli n'awamba Amaziya kabaka wa Buyudaaya, mutabani wa Yowaasi era muzzukulu wa Ahaaziya. Yamuwambira Betisemesi, n'amuleeta e Yerusaalemu. Yowaasi n'amenyaamenya ekigo kya Yerusaalemu, okuva ku Mulyango gwa Efurayimu, okutuuka ku Mulyango ogw'oku Nsonda, bwe buwanvu bwa mita ng'ebikumi bibiri.
24
N'anyaga zaabu ne ffeeza yenna era n'ebintu byonna bye yasanga mu Ssinzizo, nga bikuumibwa Obededomu. N'anyaga n'ebyobugagga eby'omu lubiri lwa kabaka. N'atwala n'abasibe. N'addayo e Samariya.
25
Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Buyudaaya, n'awangaala emyaka kkumi n'etaano nga Yehoyahaazi kabaka wa Yisirayeli amaze okukisa omukono.
26
N'ebirala byonna Amaziya bye yakola, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu Byafaayo bya Bassekabaka ba Buyudaaya n'aba Yisirayeli.
27
Amaziya okuviira ddala lwe yakyuka n'ava ku Mukama, ne bakola olukwe mu Yerusaalemu okumutta. N'addukira mu kibuga ky'e Lakisi. Naye ne baweereza ab'okumulondoola mu Lakisi, ne bamuttirayo.
28
Enjole ye ne bagireetera ku mbalaasi. Ne bamuziika we baaziika bajjajjaabe mu kibuga kya Buyudaaya.
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36