bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 31
2 Chronicles 31
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 32 →
1
Ebyo byonna bwe byaggwa, Abayisirayeli bonna abaali bali awo ne bagenda mu bibuga bya Buyudaaya, ne bamenyaamenya empagi ez'amayinja n'ebifaananyi bya lubaale Asera, ne zaalutaari, ne baseeteeza n'ebifo ebigulumivu bye basinzizaamu. Ne bakola bwe batyo mu bitundu byonna ebya Yuda ne Benyamiini ne Efurayimu ne Manasse, okutuusa lwe baabizikiririza ddala byonna. Awo Abayisirayeli bonna ne baddayo mu bibuga by'ewaabwe buli omu ku butaka bwe.
2
Awo Heezeekiya n'azzaawo ebitongole bya bakabona n'Abaleevi, nga baweereza mu mpalo, buli bamu, bakabona n'Abaleevi ng'omulimu gwabwe bwe gwali, okuwaangayo ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebiweebwayo olw'okutabagana, n'okuweerezanga, okwebazanga n'okutenderezanga Mukama ku miryango gy'Essinzizo.
3
Kabaka n'atoola ku bintu ebibye ku bubwe, n'awaayo omutemwa ogw'ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli nkya n'akawungeezi n'ebya buli Sabbaato, n'ebya buli mbaga ey'okuboneka kw'omwezi n'eby'embaga zonna eziragirwa, nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka ga Mukama.
4
Era n'alagira abantu ab'omu Yerusaalemu okuwangayo omugabo ogw'okuyimirizaawo bakabona n'Abaleevi, basobolenga okwewaayo okutuukiriza Amateeka ga Mukama.
5
Ekiragiro ekyo bwe kyalangirirwa, Abayisirayeli ne baleeta mu bungi ebisooka okukungulwa eby'eŋŋaano n'omwenge, eby'omuzigo ogw'emizayiti, n'omubisi gw'enjuki, n'eby'ebirime byabwe byonna, n'ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'ebintu byabwe byonna. Ne baleeta bingi nnyo.
6
Abantu b'omu Yisirayeli n'ab'omu Buyudaaya abaali babeera mu bibuga bya Buyudaaya ne baleeta ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'omuwendo gw'ente n'endiga zaabwe n'ekimu eky'ekkumi eky'ebintu ebyawongebwa ne byawulirwa Mukama Katonda waabwe. Ne babituuma entuumu.
7
Mu mwezi ogwokusatu mwe baatandikira okutuuma entuumu, ne bazimaliriza mu mwezi ogw'omusanvu.
8
Awo Heezeekiya n'abakungu be bwe bajja ne balaba entuumu, ne beebaza Mukama n'abantu be Abayisirayeli.
9
Awo Heezeekiya ne bakabona ne beebuuzaganya ebifa ku ntuumu.
10
Azariya Ssaabakabona ow'omu nnyumba ya Zadooki n'amugamba nti: “Abantu okuva lwe baatandika okuleeta ebiweebwayo mu Ssinzizo, tulya emmere ne tukkuta ne tulemerwanawo, kubanga Mukama awadde abantu be omukisa, ne tusobola n'okusigazaawo emmere eno.”
11
Awo Heezeekiya n'alagira bategeke ebisenge mu Ssinzizo, ne babitegeka.
12
Ne bayingizaamu n'obwegendereza ebiweebwayo n'ebitundu eby'ekkumi, n'ebintu ebyawongebwa. Eyakulira ogw'okubirabirira yali Kononiya Omuleevi, Simeeyi muganda we nga ye amuddirira.
13
Ate Yehiyeeli ne Azizaaya, ne Nahati, ne Asaheeli, ne Yerimooti ne Yozabadi, ne Eliyeeli, ne Yisumakiya, ne Mahati ne Benaaya be baali ku gw'okulabirira, nga bayamba ku Kononiya ne Simeeyi muganda we, nga balondeddwa Heezeekiya Kabaka ne Azariya omukungu akulira Essinzizo.
14
Ne Koore mutabani wa Yimuna Omuleevi, omuggazi w'omulyango ogw'ebuvanjuba, ye yali alabirira ebyo abantu bye bawaayo eri Katonda nga beeyagalidde, nga ye agabanyaamu ebirabo bya Mukama era nga ye agaba n'ebitukuvu ennyo.
15
Edeni ne Miniyamini ne Yeswa ne Semaaya, Amariya, ne Sekaniya, be basajja abeesigwa abaamuyambangako mu bibuga bya bakabona, okugabira baganda baabwe ebintu mu bitongole byabwe, abakulu n'abato.
16
Okwo tekwali abo abaali bawandiikiddwa mu kitabo ekiraga ennyiriri z'obuzaale bwabwe nga bwe ziri, abasajja n'abaana ab'obulenzi bonna, okuva ku myaka esatu egy'obukulu n'okusingawo, abaagendanga mu Ssinzizo okuweereza mu mpalo z'ebitongole byabwe. Eyo bo gye baafunanga omugabo gwabwe ogwa buli lunaku.
17
Bakabona baawandiikibwanga obuzaale bwabwe okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe nga bwe ziri. N'Abaleevi baawandiikibwanga okuva ku b'emyaka amakumi abiri egy'obukulu n'okusingawo okusinziira ku mirimu gye baakolanga mu bitongole byabwe.
18
Bakabona baawandiikibwanga wamu ne bakazi baabwe n'abaana baabwe abato n'abakulu, ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'ab'omu maka gaabwe bonna, kubanga baabanga beesigwa ku mulimu gwabwe ne beekuuma nga batukuvu okukola omulimu gwabwe ekiseera kyonna.
19
Ebikwata ku bazzukulu ba Arooni, bakabona abaabeeranga mu nnimiro ez'omu byalo eby'ebibuga byabwe waaliwo abantu abamanyiddwa n'amannya gaabwe, abaaweebwa omulimu ogw'okuwanga omugabo buli musajja abalirwa mu bakabona na buli Muleevi eyawandiikibwa.
20
Era bw'atyo Heezeekiya bwe yakola mu Buyudaaya yonna. N'akola ebirungi era ebituufu ebisiimibwa Mukama Katonda we era eby'obwesigwa.
21
Yafuna omukisa, kubanga buli mulimu gwe yatandika ogw'okuweereza mu Ssinzizo, n'okukuuma Amateeka n'ebiragiro n'okusinza Mukama Katonda we, yagukola n'omutima gwe gwonna.
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 32 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36