bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 11
2 Chronicles 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 12 →
1
Awo Rehobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemu, n'akuŋŋaanya mu Kika kya Yuda n'ekya Benyamiini abasajja abazira emitwalo kkumi na munaana, okulwanyisa Abayisirayeli abo, alyoke abakomyewo mu bwakabaka bwe.
2
Kyokka Mukama Katonda n'agamba musajja we Semaaya nti:
3
“Gamba Rehobowaamu mutabani wa Solomooni, Kabaka wa Buyudaaya, n'Abayisirayeli bonna ab'omu Kika kya Yuda n'ekya Benyamiini nti:
4
‘Mukama agamba nti temulumba baganda bammwe kubalwanyisa. Muddeeyo buli omu mu maka ge, kubanga ebyabaawo, nze nayagala bibe bwe bityo.’ ” Awo ne bawulira ekigambo kya Mukama, ne baddayo, ne batagenda kulumba Yerobowaamu.
5
Awo Rehobowaamu n'abeera mu Yerusaalemu, n'azimba mu Buyudaaya ebibuga bino eby'okwerindiramu:
6
Betilehemu ne Etamu ne Tekowa,
7
ne Betizuuri ne Soko ne Adullamu,
8
ne Gaati ne Moresa ne Zifu;
9
ne Adorayimu ne Lakisi, ne Azeka;
10
ne Zora ne Ayalooni, ne Heburooni, ebiriko ebigo ebigumu mu kitundu kya Yuda ne mu kya Benyamiini.
11
N'abinywereza ddala, n'abiteekamu ababikulira, era n'aterekamu emmere n'omuzigo n'omwenge Ogw'emizabbibu.
12
Era ebibuga ebyo byonna n'abiteekamu engabo n'amafumu. Bw'atyo n'akuuma ab'omu Kika kya Yuda n'ekya Benyamiini nga babe.
13
Awo bakabona n'Abaleevi ab'omu Yisirayeli yonna ne bava yonna gye baali babeera, ne bajja eri Rehobowaamu.
14
Abaleevi baalekangayo amalundiro gaabwe n'ebibanja, ne bajja mu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu, kubanga Yerobowaamu n'abaamusikira, baabagoba, ne babagaana okukola omulimu gwabwe ogw'okuweereza Mukama mu bwakabona.
15
Yerobowaamu yeeteerawo bakabona ababe, ab'emisambwa mu bifo ebigulumivu, n'ab'ebifaananyi by'ennyana bye yakola.
16
Abantu ab'omu bika byonna ebya Yisirayeli abaalina omutima ogwagala okusinza Mukama Katonda wa Yisirayeli, ne bajja e Yerusaalemu okuwaayo ebitambiro eri Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe.
17
Bwe batyo ne banyweza obwakabaka bwa Buyudaaya, era ne bamala emyaka esatu nga bawagira Rehobowaamu, mutabani wa Solomooni. Era mu myaka egyo esatu, obulamu ne buba nga bwe bwabanga mu biseera bya Dawudi n'ebya Solomooni.
18
Awo Rehobowaamu n'awasa Mahalati muwala wa Yerimooti, mutabani wa Dawudi, nga nnyina ye Abihayili, muwala wa Eliyaabu, mutabani wa Yesse.
19
N'amuzaalira abaana ab'obulenzi: Yewusi ne Samariya, ne Zahumu.
20
Bwe yamala okuwasa oyo, n'awasa ne Maaka, muwala wa Abusaalomu, eyamuzaalira Abiya, ne Attayi, ne Ziza, ne Selomiti.
21
Rehobowaamu yayagala Maaka, muwala wa Abusaalomu okukira bakyala be abalala bonna n'abazaana be bonna. Bonna awamu yawasa abakyala kkumi na munaana, n'abazaana nkaaga. N'azaala abaana ab'obulenzi amakumi abiri mu munaana, n'ab'obuwala nkaaga.
22
Rehobowaamu yalondamu Abiya, mutabani wa Maaka okukulira baana banne bonna, kubanga gwe yayagala amusikire.
23
Yakozesa magezi, n'ateeka batabani be mu bitundu byonna ebya Yuda n'ebya Benyamiini, okubirabirira, mu bibuga ebiriko ebigo ebigumu. N'abawa ebintu bingi, era n'abawasiza abakazi bangi.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36