bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 35
2 Chronicles 35
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 34
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 36 →
1
Awo Yosiya n'akolera Mukama mu Yerusaalemu Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Ne batta omwana gw'endiga ogw'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogw'olubereberye.
2
N'awa bakabona emirimu egy'okukola mu Ssinzizo, n'abagumya okugikola obulungi.
3
Abaleevi abaayigirizanga abantu mu Yisirayeli mwonna era abaali abatukuvu eri Mukama, n'abagamba nti: “Muteeke Essanduuko Entukuvu mu Ssinzizo, Solomooni mutabani wa Dawudi kabaka wa Yisirayeli lye yazimba. Tewakyali kugitwaliranga ku bibegabega byammwe. Kaakano muweereze Mukama Katonda wammwe n'abantu be Abayisirayeli.
4
Mweteeketeeke mu mpalo zammwe ng'ennyumba za bajjajjammwe bwe ziri, nga mugoberera entegeka eyawandiikibwa Dawudi kabaka wa Yisirayeli, ne Solomooni mutabani we.
5
Era muyimirire mu Kifo Ekitukuvu, nga mugoberera ebibinja by'ennyumba za bajjajja ba baganda bammwe abatali Baleevi, buli kibinja kibeeko ab'ennyumba ya bajjajja b'Abaleevi.
6
Mutte omwana gw'endiga ogw'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, mwetukuze, era muteekereteekere baganda bammwe okukola nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa.”
7
Awo Yosiya n'atoola mu magana ge ne mu bisibo bye abaana b'endiga n'ab'embuzi emitwalo esatu, n'ente ennume enkumi ssatu, n'aziwa abantu bonna abaaliwo abatali Baleevi zibe ez'ebiweebwayo eby'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.
8
N'abakungu be nga beeyagalidde ne bawa abantu ne bakabona n'Abaleevi ebintu eby'okukozesa. Hilukiya ne Zekariya ne Yehiyeeli abakulira Essinzizo, ne bawa bakabona abaana b'endiga n'ab'embuzi enkumi bbiri mu lukaaga, n'ente ennume ebikumi bisatu ez'ebiweebwayo eby'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.
9
Era ne Konaniya ne Semaaya ne Nataneeli baganda be, ne Hasabiya ne Yayeli ne Yozabadi abakulu b'Abaleevi, ne bawa Abaleevi abaana b'endiga n'ab'embuzi enkumi ttaano ez'ebiweebwayo eby'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.
10
Ebikolebwa okweteekateeka bwe byaggwa, bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe, nga kabaka bwe yalagira.
11
Ne batta omwana gw'endiga ogw'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, Abaleevi ne bagubaaga. Bakabona ne bamansira omusaayi, nga gubaweebwa Abaleevi,
12
ne baggyayo ebiweebwayo ebyokebwa babiwe ebibinja by'ennyumba za bajjajja b'abantu abatali Baleevi, okuwaayo eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa. Era bwe batyo bwe baakola ku nte.
13
Ne bookya omwana gw'endiga ogw'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, nga bwe kiragirwa. N'ebiweebwayo ebitukuvu, ne babifumba mu ntamu ne mu sseffuliya ne mu nsaka, ne babitwalira mangu abantu bonna abatali Baleevi.
14
Oluvannyuma bo bennyini ne beeteekerateekera era ne bateekerateekera ne bakabona ab'olulyo lwa Arooni kubanga bakabona tebaalina bbanga, nga bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa, era n'amasavu okutuusa obudde okuziba, Abaleevi kyebaava beeteekerateekera bo bennyini ne bateekerateekera ne bakabona ab'olulyo lwa Arooni.
15
Abayimbi ab'olulyo lwa Asafu baali mu bifo byabwe, nga Dawudi ne Asafu ne Hemani, ne Yedutuuni omulabi wa kabaka bwe baalagira. N'abaggazi ne batava ku miryango, kubanga baganda baabwe Abaleevi baabateekerateekera.
16
Bwe gutyo omukolo gwonna ogw'okusinza Mukama ne guteekebwateekebwa ku lunaku olwo, okukola Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, n'okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku alutaari ya Mukama, nga kabaka Yosiya bwe yalagira.
17
Okumala ennaku musanvu Abayisirayeli bonna abaaliyo, ne bakola mu kiseera ekyo Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, n'Embaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa.
18
Okuva mu biseera bya Samweli omulanzi waali tewabangawo Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako ng'eno mu Yisirayeli. Era mu bassekabaka waali tewabangawo akola Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako nga Yosiya gye yakola. Bakabona n'Abaleevi n'ab'omu Buyudaaya bonna n'ab'omu Yerusaalemu baaliyo.
19
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'obufuzi bwa Yosiya, Embaga eno Ejjuukirirwako Okuyitako lwe yaliwo.
20
Ebyo byonna bwe byaggwa, Yosiya ng'amaze okuteekateeka Essinzizo, Neeko kabaka w'e Misiri n'ajja okulwanira olutalo e Karukemisi ku Mugga Ewufuraate. Yosiya n'agenda okumulwanyisa.
21
Wabula Neeko n'amutumira ababaka ng'agamba nti: “Nkulinako luyombo ki ggwe kabaka wa Buyudaaya? Ku mulundi guno sizze kulumba ggwe, wabula ab'ennyumba gye naggulako olutalo, era Katonda andagidde okwanguwa. Vva ku Katonda ali nange, aleme okukuzikiriza.”
22
Kyokka Yosiya n'agaana okumuvaako, n'atawuliriza bigambo bya Neeko, Katonda bye yamwogeza, wabula ne yeefuulafuula n'agenda okulwanira mu kiwonvu Megiddo.
23
Abalasi b'obusaale ne balasa Kabaka Yosiya, n'agamba abaweereza be nti “Munzigyewo, kubanga nfumitiddwa nnyo.”
24
Awo abaweereza be ne bamuggya mu kigaali kye, ne bamuteeka mu kigaali ekyokubiri kye yalina, ne bamutwala e Yerusaalemu. N'akisa omukono, n'aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe. Ab'omu Buyudaaya bonna n'ab'omu Yerusaalemu ne bakaabira Yosiya.
25
Ne Yeremiya n'akungubagira Yosiya. Abayimbi bonna abasajja n'abakazi ne bagifuula mpisa mu Yisirayeli okuyimba ku Yosiya nga bamukungubagira n'okutuusa kati. Era ennyimba zaabwe zaawandiikibwa mu z'okukungubaga.
26
N'ebirala byonna ebifa ku Yosiya n'ebirungi bye yakola ng'agoberera ebyawandiikibwa mu Mateeka ga Mukama
27
n'ebimufaako ebyasooka n'ebyasembayo, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bassekabaka ba Yisirayeli ne Buyudaaya.
← Chapter 34
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 36 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36