bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 12
2 Chronicles 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 13 →
1
Awo Rehobowaamu bwe yamala okwenyweza ku bwakabaka, n'aba wa maanyi, ye wamu n'Abayisirayeli bonna ne bava ku Mateeka ga Mukama.
2
Olw'okuba nga baajeemera Mukama, mu mwaka ogwokutaano ogwa Kabaka Rehobowaamu, Sisaki Kabaka wa Misiri n'alumba Yerusaalemu,
3
ng'alina eggye eryalimu amagaali lukumi mu bibiri, n'abeebagazi b'embalaasi emitwalo mukaaga, n'abaserikale abalala abatabalika: Abalibiya, Abasukimu, n'Abeetiyopiya.
4
N'awamba ebibuga ebiriko ebigo ebigumu mu Buyudaaya, n'atuuka e Yerusaalemu.
5
Awo Semaaya omulanzi n'ajja eri Rehobowaamu n'eri abakungu ba Buyudaaya abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemu okudduka Sisaki. N'abagamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Munvuddeko, nange kyenvudde mbawaayo eri Sisaki.’ ”
6
Kabaka n'abakungu ba Yisirayeli ne beetoowaza, ne bagamba nti: “Mukama mutuufu.”
7
Mukama bwe yalaba nga beetoowazizza, n'agamba Semaaya nti: “Nga bwe beetoowazizza, sijja kubazikiriza, naye nja kubaddiramu. Obusungu bwange sijja kubumalira ku Yerusaalemu, nga Sisaki akirumbye.
8
Wabula baliba baweereza be, balyoke balabe enjawulo mu kuweereza nze, n'okuweereza bakabaka ab'ensi.”
9
Awo Sisaki, Kabaka wa Misiri n'ajja, n'alumba Yerusaalemu, n'anyaga ebyobugagga byonna eby'omu Ssinzizo n'eby'omu lubiri lwa kabaka, n'abitwala byonna. N'atwaliramu n'engabo eza zaabu, Solomooni ze yali akoze.
10
Kabaka Rehobowaamu n'akola engabo ez'ekikomo okudda mu kifo kya ziri n'azikwasa abakulu b'abakuumi b'emiryango gy'olubiri.
11
Kabaka buli lwe yabanga agenda okuyingira mu Ssinzizo, bajjanga ne bazikwata, oluvannyuma ne bazizzaayo mu kisenge ky'abakuumi.
12
Rehobowaamu bwe yeetoowaza, Mukama n'atamusunguwalira kumuzikiriza, ne Buyudaaya, ebintu ne bigigendera bulungi.
13
Bw'atyo Rehobowaamu ne yenyweza mu Yerusaalemu, n'afuga. Yali wa myaka amakumi ana mu gumu we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemu, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu nsi ya Yisirayeli yonna okumusinzizangamu. Nnyina Rehobowaamu, yali Naama Omwammoni.
14
Rehobowaamu yakola bubi, kubanga teyafuba kukola Mukama by'ayagala.
15
Rehobowaamu bye yakola, okuva lwe yatandika okufuga, okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa mu byaliwo mu biseera bya Semaaya Omulanzi, ne Yiddo Omulanzi. Entalo wakati wa Rehobowaamu ne Yerobowaamu zaabangawo lutata.
16
Rehobowaamu, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Mutabani we Abiya n'amusikira.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36