bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 33
2 Chronicles 33
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 34 →
1
Manasse yali wa myaka kkumi n'ebiri we yafuukira kabaka, n'afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemu.
2
N'akola ebitasiimibwa Mukama, ng'agoberera empisa embi ddala ez'ab'amawanga amalala, Mukama be yagoba mu nsi eyo ng'Abayisirayeli bajja.
3
Kubanga yazimba buggya ebifo ebigulumivu Heezeekiya kitaawe bye yali amenyeemenye. N'ateerawo Baali alutaari, n'akola ebifaananyi bya lubaale Asera, era n'asinza ebyakira mu ggulu, n'abiweerezanga.
4
N'azimba zaalutaari mu Ssinzizo, Mukama lye yayogerako nti: “Mu Yerusaalemu mwe banansinzizanga ennaku zonna.”
5
Era n'azimbira ebyakira mu ggulu byonna zaalutaari mu mpya ebbiri ez'Essinzizo.
6
Era n'ayokera batabani be mu kiwonvu kya mutabani wa Hinnomu ng'ekiweebwayo ekyokebwa era ne yeebuuzanga ku mmandwa ne ku balaguzi, n'akola eby'obulogo, n'akolagananga n'abasamize. N'akola ebibi bingi n'asunguwaza Mukama.
7
Ekifaananyi kya lubaale kye yakola, n'akiteeka mu Ssinzizo, Katonda lye yagamba Dawudi ne Solomooni mutabani we nti: “Mu Ssinzizo lino, ne mu Yerusaalemu, ekibuga kye neeroboza mu bibuga by'Ebika byonna ebya Yisirayeli, mwe baba bansinzizanga ennaku zonna.
8
Era siriddamu kuggya Bayisirayeli mu nsi gye nawa bajjajjaabwe, bwe banassangayo omwoyo okukola byonna bye mbalagidde n'okukuuma amateeka gonna n'ebiragiro n'obulombolombo, bye nabawa nga mbiyisa mu Musa.”
9
Manasse n'awabya ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu, ne bakola ebibi okusinga n'ab'amawanga Mukama ge yazikiriza ng'Abayisirayeli bajja mu nsi eyo.
10
Awo Mukama n'ayogera ne Manasse n'abantu be, naye ne batafaayo.
11
Mukama kyeyava aleka abaduumizi b'eggye lya kabaka w'Assiriya ne bakwata Manasse n'ebyuma ebiri ng'amalobo ne bamusiba ku njegere ez'ekikomo ne bamutwala e Babilooni.
12
Awo bwe yali mu kubonaabona, ne yeegayirira Mukama Katonda we, ne yeetoowaza nnyo mu maaso ga Katonda wa bajjajjaabe.
13
N'asaba Katonda, Katonda n'akkiriza okwegayirira kwe n'awulira by'amusaba, n'amukomyawo e Yerusaalemu mu bwakabaka bwe. Awo Manasse n'amanya nga Mukama ye Katonda.
14
Ebyo bwe byaggwa, Manasse n'azimba ekigo eky'ebweru ku kibuga kya Dawudi ku ludda olwa Gihoni olw'ebugwanjuba mu kiwonvu, okutuuka awayingirirwa mu Mulyango gw'Ebyennyanja n'okutuuka mu kitundu ky'ekibuga ekiyitibwa Ofeli. N'akigulumiza waggulu ddala, n'ateeka abaduumizi b'amagye mu bibuga byonna ebya Buyudaaya ebiriko ebigo.
15
N'aggya mu Ssinzizo balubaale b'abagwira, n'ekifaananyi kye yali ataddemu, ne zaalutaari ze yali azimbye ku lusozi olw'Essinzizo n'awalala mu Yerusaalemu. Ebyo byonna n'abisuula ebweru w'e kibuga.
16
N'azimba buggya alutaari ya Mukama, n'aweerayo ebitambiro ebiweebwayo olw'okutabagana, n'eby'okwebaza, n'alagira ab'omu Buyudaaya okuweerezanga Mukama Katonda wa Yisirayeli.
17
Newaakubadde abantu baali bakyaweerayo ebitambiro mu bifo ebigulumivu, wabula nga babiwaayo eri Mukama Katonda waabwe yekka.
18
N'ebirala byonna Manasse bye yakola, n'okusaba kwe yasabamu Katonda we, n'ebigambo abalanzi bye baayogeranga naye mu linnya lya Mukama Katonda wa Yisirayeli, byawandiikibwa mu Bikolwa bya Bassekabaka ba Yisirayeli.
19
Kye yasaba Katonda era nga Katonda bwe yakkiriza kye yamusaba, ebibi bye byonna n'okusobya kwe, n'ebifo ebigulumivu bye yazimba okusinzizangamu, n'ebifaananyi bya lubaale Asera bye yateekawo, wamu n'ebifaananyi ebyole bye yakola nga tannaba kwetoowaza, byonna byawandiikibwa mu Byafaayo bya Hozayi.
20
Awo Manasse ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu lubiri lwe, Amoni mutabani we n'amusikira.
21
Amoni yali wa myaka amakumi abiri mu ebiri we yatandikira okufuga. N'afugira emyaka ebiri mu Yerusaalemu.
22
N'akola ebitasiimibwa Mukama, nga Manasse kitaawe bye yakola. Amoni n'awangayo ebitambiro eri ebifaananyi ebyole, Manasse kitaawe bye yakola, n'abisinzanga.
23
Ye n'ateetoowaliza Mukama nga Manasse kitaawe bwe yeetoowaza, wabula Amoni oyo ne yeeyongera bweyongezi okusobya.
24
Abakungu be ne bamukolera olukwe, ne bamuttira mu lubiri lwe.
25
Kyokka abantu b'omu nsi eyo ne batta bonna abaakolera Kabaka Amoni olukwe, ne bateekako mutabani we Yosiya, n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 34 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36