bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 19
2 Chronicles 19
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 20 →
1
Awo Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya, n'akomawo mirembe mu lubiri lwe e Yerusaalemu.
2
Omulanzi Yehu, mutabani wa Hanani n'avaayo okusisinkana Kabaka Yehosafaati, n'amugamba nti: “Kisaanye ggwe okuyamba ababi, n'okwagala abakyawa Mukama? Olw'ekikolwa ekyo, Katonda akusunguwalidde.
3
Kyokka mu ggwe, era mukyalimu ebirungi. Kubanga waggyawo ebifaananyi bya lubaale Asera mu nsi yo, era n'ofuba okukola ebyo Katonda by'ayagala.”
4
Awo Yehosafaati n'abeera mu Yerusaalemu. N'avaayo omulundi omulala, n'agenda mu bantu, okuva e Beruseba okutuuka mu bitundu bya Efurayimu eby'ensozi, n'abakomyawo eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
5
N'assaawo abalamuzi mu buli kibuga ky'omu Buyudaaya ekiriko ekigo ekigumu.
6
N'akuutira abalamuzi abo nti: “Mwetegereze kye mukola, kubanga temulamulira ku buyinza bwa bantu, wabula mulamulira ku bwa Mukama, abeera awamu nammwe nga musala emisango.
7
Kale nno mutye Mukama, musseeko omwoyo ku bye mukola, kubanga Mukama Katonda waffe tagumiikiriza kukyamya nsonga, newaakubadde okusaliriza, wadde okulya enguzi.”
8
Mu Yerusaalemu, Yehosafaati n'ateekamu Abaleevi ne bakabona n'abamu ku bakulu b'empya mu Yisirayeli, okusalanga emisango egy'obumenyi bw'Amateeka ga Mukama, n'okulamulanga enkaayana z'abatuuze. Baabeeranga mu Yerusaalemu.
9
Awo n'abakuutira ng'agamba nti: “Musaana mukole omulimu gwammwe nga mussaamu Mukama ekitiibwa, nga muli beesigwa, era nga mussaako nnyo omwoyo.
10
Baganda bammwe ababeera mu bibuga byabwe, bwe babaleeteranga emisango oba egy'obutemu, oba egy'okumenya amateeka oba ebiragiro oba okusobya ebibalagirwa byonna, mubalabulenga, baleme okunyiiza Mukama, sikulwa nga mmwe ne baganda bammwe abo, Mukama abasunguwalira. Mukolenga bwe mutyo, muleme kubaako musango.
11
Amariya Ssaabakabona, ye anaabalabiriranga mu ebyo byonna ebifa ku Mukama. Zebadiya mutabani wa Yisimayeli, omukulu w'ennyumba ya Yuda, ye anaabalabiriranga mu byonna ebifa ku kabaka. Abaleevi be banaalabanga nti ebisaliddwawo bituukirizibwa. Mube n'obuvumu, mukole, era Mukama ayambenga abakola ebituufu.”
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36