bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 8
2 Chronicles 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 9 →
1
Awo olwatuuka, emyaka amakumi abiri Solomooni gye yamala ng'azimba Essinzizo n'olubiri lwe bwe gyaggwaako,
2
Solomooni n'azimba buggya ebibuga, Hiraamu bye yamuwa, n'asenzaamu Abayisirayeli.
3
Awo Solomooni n'agenda n'awamba ekitundu ky'e Hamati ne Zoba.
4
N'azimba ekibuga Tadumori mu ddungu. N'azimba n'ebibuga byonna mu Hamati, n'abifuula eby'okuterekangamu ebintu bye.
5
Era n'azimba ebibuga Beti Horoni Ekyawaggulu ne Beti Horoni Ekyawansi, ne byetooloozebwa ebigo ebigumu, ebiriko emiryango n'ebigisiba.
6
N'azimba n'ebibuga Baalati, n'ebibuga byonna bye yaterekangamu ebintu, n'ebibuga bye yakuumirangamu amagaali, n'ebibuga ebyabeerangamu basajja be abeebagala embalaasi. N'azimba n'ebintu n'ebirala byonna bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemu, ne mu Lebanooni, n'awalala wonna mu matwale ge.
7
Abantu bonna abatali Bayisirayeli: Abahiiti, n'Abaamori, n'Abaperizi, n'Abahiivi, n'Abayebusi, abaasigalawo,
8
Abayisirayeli be bataazikiriza nga bawamba ensi ya Kanaani, Solomooni n'akozesa bazzukulu baabwe emirimu egy'obuwaze. Era be bakyagikola ne leero.
9
Naye Abayisirayeli bo, Solomooni teyabafuula baddu ba kukola mirimu gye, wabula ne baba balwanyi mu ntalo, n'abakulu mu magye, n'abakulira abavuzi b'amagaali ge, n'abeebagazi b'embalaasi ze.
10
Solomooni yalina abakungu ebikumi bibiri mu ataano abaafuganga abantu.
11
Awo Solomooni n'aggya mukazi we muwala wa Kabaka w'e Misiri mu kibuga kya Dawudi, n'amuteeka mu nnyumba gye yamuzimbira, kubanga yagamba nti: “Mukazi wange tajja kubeera mu lubiri lwa Dawudi Kabaka wa Yisirayeli, kubanga ebifo ebyatuukibwamu Essanduuko ya Mukama bitukuvu.”
12
Awo Solomooni n'awangayo eri Mukama, ebiweebwayo ebyokebwa ku alutaari gye yazimba mu maaso g'Essinzizo.
13
Yabiwangayo nga bwe kyabanga kyetaagibwa buli lunaku, ng'Amateeka ga Musa bwe galagira okubiwaayo ku Sabbaato ne mu kuboneka kwa buli mwezi, ne ku mbaga essatu eza buli mwaka: ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa, n'ey'Amakungula, n'ey'Ensiisira
14
Solomooni yakola nga Dawudi kitaawe bwe yalagira, n'ateekawo empalo, bakabona ze bagoberera nga bakola omulimu gwabwe. N'ateekawo n'ez'Abaleevi ze bakolerako omulimu gwabwe ogw'okuyimba ennyimba, n'okuweereza nga bayamba ku bakabona, nga bwe kyabanga kyetaagibwa buli lunaku. N'ateekawo n'abakuuma emiryango mu mpalo ku buli mulyango. Kubanga bw'atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yali alagidde.
15
Ssekabaka Dawudi bye yalagira bakabona n'Abaleevi ku bintu ebyaterekebwa, ne ku bintu ebirala, ne babituukiriza bulungi.
16
Bw'atyo Solomooni n'amaliriza omulimu gwonna, okuviira ddala ku lunaku lwe baasima omusingi gw'Essinzizo, okutuusa lwe lyaggwa okuzimba. Bwe lityo Essinzizo ne limalirizibwa.
17
Awo Solomooni n'agenda mu Eziyonigeba ne Eloti ku lubalama lw'ennyanja, mu nsi ya Edomu.
18
Hiraamu n'amuweereza amaato n'abalunnyanja. Ne bagenda wamu n'abaweereza ba Solomooni mu nsi y'e Ofiri, ne baggyayo zaabu aweza talanta ebikumi bina mu ataano, ne bamuleeta eri Kabaka Solomooni.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36