bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 30
2 Chronicles 30
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 31 →
1
Awo Heezeekiya n'atumira ab'omu Yisirayeli bonna n'ab'omu Buyudaaya, era n'awandiikira ab'omu kitundu kya Efurayimu n'ekya Manasse, bajje mu Ssinzizo e Yerusaalemu, okukolera Mukama Katonda wa Yisirayeli Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.
2
Kabaka yali ateesezza n'abakungu be, n'abantu bonna abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemu, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako bagikolere mu mwezi ogwokubiri.
3
Kubanga tebaasobola kugikolera mu nnaku ezo, ng'omuwendo gwa bakabona abeetukuzizza tegumala era nga n'abantu baali tebakuŋŋaanidde Yerusaalemu.
4
Awo kabaka ne bonna abaali bakuŋŋaanye, ne basiima entegeka eyo.
5
Ne balagira okulangirira mu Yisirayeli yonna, okuva e Beruseba okutuuka e Daani nti abantu bajje e Yerusaalemu bakolereyo Mukama Katonda wa Yisirayeli Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Kubanga bangi baali tebagikolangako nga bwe kiragirwa.
6
Ababaka ne bagenda wonna mu Yisirayeli ne mu Buyudaaya, nga batutte amabaluwa ga kabaka n'abakungu be, ng'alagira nti: “Mmwe Abayisirayeli abasigaddewo nga muwonye okutwalibwa bakabaka ba Assiriya, mukyuke mudde eri Mukama Katonda wa Aburahamu, Yisaaka ne Yisirayeli, naye alyoke adde gye muli.
7
Era muleme kuba nga bajjajjammwe ne baganda bammwe abaanyiiza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, n'abawaayo okuzikirizibwa nga bwe mulaba.
8
Kale mmwe temuguguba nga bajjajjammwe, naye mweweeyo eri Mukama, muyingire mu Ssinzizo lye, lye yatukuza emirembe gyonna, musinze Mukama Katonda wammwe, alyoke alekere awo okubasunguwalira ennyo.
9
Kubanga bwe munaakyuka ne mudda eri Mukama, abo abaatwala baganda bammwe n'abaana bammwe, bajja kubakwatirwa ekisa, babaleke bakomewo mu nsi eno. Kubanga Mukama Katonda wammwe wa kisa, era asaasira. Tajja kubakuba mabega nga mukomyewo gy'ali.”
10
Awo ababaka ne bagenda mu buli kibuga, mu kitundu ekirimu ab'Ekika kya Efurayimu ne Manasse, ne batuuka ne mu kitundu kya Zebbulooni. Naye abantu ne babasekerera era ne babajerega.
11
Wabula abamu mu Bika ebya Aseri ne Manasse ne Zebbulooni ne beetoowaza ne bajja e Yerusaalemu.
12
Era Katonda n'ayamba ab'omu Buyudaaya, ne baba n'omutima gumu, okuwulira ekiragiro kabaka n'abakungu be kye baabawa, nga bakolera ku kigambo kya Mukama.
13
Awo abantu bangi nnyo ddala ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemu mu mwezi ogwokubiri okuba ku Mbaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa.
14
Ne basituka ne baggyawo alutaari zonna ezaali mu Yerusaalemu. Ne alutaari zonna ezooterezebwako obubaane, ne baziggyawo, ne bazisuula mu Kagga Kidurooni.
15
Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogwokubiri, ne batta omwana gw'endiga ogw'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Ekyo ne kikwasa bakabona n'Abaleevi ensonyi kubanga baali tebanneetukuza, ne beetukuza, ne baleeta mu Ssinzizo ebiweebwayo ebyokebwa.
16
Ne bayimirira mu kifo kyabwe, nga bwe balagirwa mu Mateeka ga Musa omusajja wa Katonda. Abaleevi ne baweereza bakabona omusaayi gw'ebitambiro, bo ne bagumansira.
17
Mu baali bakuŋŋaanye, mwalimu bangi abaali tebeetukuzizza. N'olwekyo Abaleevi ne baba n'omulimu okuttira buli muntu ateetukuzizza omwana gw'endiga ogw'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, gulyoke guweebweyo eri Mukama.
18
Era mu bantu abangi bwe batyo, bangi mu baali bavudde mu Bika bya Efurayimu, ne Manasse, Yissakaari ne Zebbulooni baali tebeetukuzizza, naye ne balya Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, sso nga si bwe kyalagirwa. Wabula Heezeekiya n'abasabira ng'agamba nti: “Mukama omulungi asonyiwe buli muntu,
19
ataddeyo omutima okusinza Katonda, Mukama Katonda wa bajjajjaabe, wadde nga tatukuziddwa ng'okunaazibwa okw'omu Ssinzizo bwe kuteekwa okuba.”
20
Mukama n'awulira Heezeekiya kye yamusaba, n'asonyiwa abantu, n'atabakolako kabi.
21
Abayisirayeli abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemu, ne bamala ennaku musanvu nga bakola n'essanyu lingi nnyo Embaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa. Abaleevi ne bakabona ne batendereza Mukama buli lunaku, nga bakuba ebivuga eby'amaanyi.
22
Heezeekiya n'ayogera ebizzaamu amaanyi Abaleevi abaalaga bwe bamanyi obulungi okuweereza Mukama. Abantu ne bamala ennaku musanvu nga balya ebyali ku mbaga, nga bawaayo ebitambiro eby'okutabagana, era nga beebaza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
23
Oluvannyuma, bonna abaali bakuŋŋaanye ne bakkiriziganya okumala ennaku endala musanvu mu mbaga eyo. Bwe batyo ne bagimalamu ennaku endala musanvu nga basanyuka.
24
Kubanga Heezeekiya kabaka wa Buyudaaya, yali abawadde ente lukumi, n'endiga kasanvu ez'okutambira. N'abakungu ne bawa abakuŋŋaanye ente lukumi, n'endiga omutwalo gumu. Ne bakabona bangi nnyo ne beetukuza.
25
Kale abantu bonna ab'omu Buyudaaya, wamu ne bakabona n'Abaleevi, n'abantu bonna abaava mu Yisirayeli, n'abagwira abaali basenze mu Yisirayeli ne mu Buyudaaya, ne basanyuka.
26
Ekibuga Yerusaalemu ne kijjula essanyu. Kubanga waali tewabangawo kiri ng'ekyo, okuva mu biseera bya Solomooni, mutabani wa Dawudi Kabaka wa Yisirayeli.
27
Awo bakabona n'Abaleevi, ne basituka ne basabira abantu omukisa. Katonda n'awulira eddoboozi lyabwe, n'asiima okusaba kwabwe mu kifo kye ekitukuvu gy'abeera mu ggulu.
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 31 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36