bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 24
2 Chronicles 24
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 25 →
1
Yowaasi yali wa myaka musanvu we yatandikira okufuga. N'afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Zibiya ow'e Beruseba.
2
Yowaasi n'akola ebisiimibwa Mukama, ebbanga lyonna Yehoyaada kabona lye yamala nga mulamu.
3
Yehoyaada n'amuwasiza abakazi babiri, ne bamuzaalira abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
4
Ebyo bwe byaggwa, Yowaasi n'asalawo okuddaabiriza Essinzizo.
5
N'akuŋŋaanya bakabona n'Abaleevi n'abagamba nti: “Mugende mu bibuga bya Buyudaaya, musolooze ku Bayisirayeli bonna ensimbi ez'okuddaabirizanga buli mwaka Essinzizo lya Katonda wammwe. Era ekyo mukikole mangu.” Kyokka Abaleevi ne balwawo okukikola.
6
Awo kabaka n'ayita Yehoyaada omukulu waabwe, n'amugamba nti: “Lwaki tewasalira Baleevi kuleetanga musolo okuva mu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu, Musa omuweereza wa Katonda gwe yalagira ekibiina ky'Abayisirayeli okuguwanga, olw'okulabiriranga Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama?”
7
Kubanga abawagizi ba Ataliya, omukazi oyo omubi, baali boonoonyeyonoonye Essinzizo, n'ebintu byonna ebyawongerwangamu, nga babiwadde Babbaali.
8
Awo kabaka n'alagira Abaleevi ne bakola essanduuko, ne bagiteeka wabweru ku mulyango gw'Essinzizo.
9
Ne balangirira mu Buyudaaya bwonna ne mu Yerusaalemu, abantu bonna okuleeta eri Mukama omusolo, Musa omuweereza wa Katonda gwe yagerekera Abayisirayeli nga bali mu ddungu.
10
Abakungu bonna n'abantu bonna ne basanyuka, ne baleetanga ensimbi, ne baziteeka mu ssanduuko, okutuusa bonna lwe baamalayo omusolo gwabwe.
11
Awo Abaleevi buli lwe baaleetanga essanduuko ewa kabaka okukebera ekirimu, ne basanga ng'erimu ensimbi nnyingi, omuwandiisi wa kabaka, n'omuweereza wa ssaabakabona bajjanga ne baziggyamu, essanduuko ne bagitwala, ne bagizza mu kifo kyayo. Baakolanga bwe batyo buli lunaku. Bwe batyo ne bakuŋŋaanya ensimbi nnyingi.
12
Kabaka ne Yehoyaada ensimbi baazikwasanga abo abalabirira omulimu gw'okuddaabiriza Essinzizo. Bo ne balagaana n'abasazi b'amayinja, n'ababazzi, n'abaweesa ebyuma n'ekikomo, okuddaabiriza Essinzizo.
13
Abakozi ne bakola n'amaanyi, ne baddaabiriza Essinzizo, ne balizzaayo mu mbeera yaalyo entuufu, ne balinyweza.
14
Bwe baamaliriza omulimu, ensimbi ezaasigalawo ne bazireetera kabaka ne Yehoyaada. Bo ne bazigulamu ebintu eby'omu Ssinzizo, ebikozesebwa nga basinza era nga bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa. Ne bagulamu n'ensaniya ezinyookerezebwako obubaane, era n'ebintu ebirala ebya zaabu ne ffeeza. Ebbanga lyonna Yehoyaada lye yamala nga mulamu, tebaayosanga kuwaayo mu Ssinzizo biweebwayo ebyokebwa.
15
Awo Yehoyaada n'akaddiwa, n'afa ng'awezezza emyaka kikumi mu asatu gy'awangadde.
16
Ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, mu masiro ga bassekabaka, kubanga yali akoledde Katonda n'Essinzizo lye ebirungi mu Yisirayeli.
17
Yehoyaada bwe yamala okufa, abakungu mu Buyudaaya ne bajja ne bavuunamira kabaka. Awo kabaka n'awuliriza bye bamugamba.
18
Ne balekayo okusinzizanga mu Ssinzizo lya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, ne basinzanga lubaale Asera n'ebifaananyi. Olw'omusango gwabwe ogwo, Katonda n'asunguwalira Buyudaaya ne Yerusaalemu.
19
Mukama n'abaweereza abalanzi okubakomyawo gy'ali. Ne babalabula, naye bo ne batafaayo
20
Awo Mwoyo wa Katonda n'ajja ku Zekariya, mutabani wa Yehoyaada kabona. Zekariya n'ayimirira abantu we bayinza okumulabira n'abagamba nti: “Katonda agamba nti: ‘Lwaki mumenya ebiragiro bya Mukama, ne mwereetera emitawaana?’ Mukama abavuddeko, kubanga nammwe mumuvuddeko.”
21
Naye bo ne bamwekobera era nga bakolera ku kiragiro kya kabaka, ne bamukubira amayinja mu luggya lw'Essinzizo.
22
Bw'atyo Kabaka Yowaasi ne yeerabira eby'ekisa, Yehoyaada kitaawe wa Zekariya bye yamukolera, n'atta mutabani we. Zekariya bwe yali ng'anaatera okufa, n'agamba nti: “Mukama akitunuulire, awoolere eggwanga.”
23
Ku nkomerero y'omwaka, ab'eggye ly'Abassiriya ne balumba Yowaasi. Ne bajja mu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu, ne batta abakulembeze bonna ab'abantu, okubamalirawo ddala. Ebintu byonna bye baanyaga ne babiweereza ewa kabaka w'e Damasiko.
24
Eggye ly'Abassiriya lyali ttono. Kyokka Mukama n'aliwa okuwangula eggye lya Buyudaaya eddene ennyo nnyini, kubanga abantu b'omu Buyudaaya baali bamuvuddeko ye Katonda wa bajjajjaabwe. Bw'atyo Yowaasi bwe yabonerezebwa.
25
Abassiriya bwe baamuvaako nga balese afumitiddwa ebiwundu eby'amaanyi, abaweereza be bennyini ne bamukolera olukwe, ne bamutemulira mu kitanda kye. Kino baakikola nga bawoolera eggwanga, kubanga Yowaasi yali asse mutabani wa Yehoyaada kabona. Bw'atyo Yowaasi n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi, wabula nga si mu masiro ga bassekabaka.
26
Abaakola olukwe okumutta, baali Zabadi, mutabani w'omukazi Omwammoni ayitibwa Simayaati, ne Yehozabaadi, mutabani w'omukazi Omumowaabu ayitibwa Simuriti.
27
Ebifa ku batabani ba Yowaasi, n'ebizibu abalanzi bye baalanga ku ye, n'okuzimba obuggya Essinzizo, byawandiikibwa mu kitabo ekinnyonnyola ebya Bassekabaka. Mutabani we Amaziya ye yamusikira.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36