bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Chronicles 26
2 Chronicles 26
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 27 →
1
Awo abantu bonna ab'omu Buyudaaya ne balonda Wuzziya ow'emyaka ekkumi n'omukaaga okusikira Amaziya kitaawe.
2
Wuzziya ye yazimba Elati obuggya n'akiddiza Buyudaaya nga Amaziya amaze okuddayo eri bajjajjaabe.
3
Wuzziya yatandika okufuga nga wa myaka kkumi na mukaaga. N'afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Yekoliya ow'e Yerusaalemu.
4
Wuzziya n'akola ebyo Mukama by'asiima, ng'ebyo Amaziya kitaawe bye yakola.
5
Ne yeewaayo okuweereza Katonda, mu biseera bya Zekariya eyamuyigiriza okussaamu Katonda ekitiibwa. Era ebbanga lyonna lye yamala ng'aweereza Mukama, Katonda n'amuwa omukisa.
6
Yagenda mu lutalo n'alwanyisa Abafilistiya, n'amenyera ddala ekigo ky'ekibuga Gaati ne Yabune ne Asudoodi, n'azimba ebibuga mu bitundu by'e Asudoodi n'awalala mu nsi y'Abafilistiya.
7
Katonda n'amuyamba okuwangula Abafilistiya, n'Abawarabu abaabeeranga e Gurubaali, n'Abamewuni.
8
Abammoni ne bawanga Wuzziya omusolo, n'amanyika nnyo n'okutuusa ku nsalo ne Misiri, kubanga yali wa maanyi nnyo.
9
Wuzziya era n'azimba eminaala mu Yerusaalemu ku Mulyango ogw'omu Nsonda, ne ku Mulyango ogw'omu Kiwonvu, n'ekigo we kiwetera, n'aginyweza.
10
Era n'azimba eminaala mu ddungu, n'asima n'enzizi nnyingi, kubanga yalina amagana mangi mu biwonvu ne mu nsenyi. Era yalina abalimi n'abasalira emizabbibu mu nsonzi ne mu nnimiro eŋŋimu, kubanga yayagalanga nnyo okulima.
11
Wuzziya era yalina eggye ly'abaserikale abeetegese okulwana olutalo mu bibinja ebirimu abaserikale ababaliddwa ne bawandiikibwa Yeyeli omuwandiisi omukulu, ne Maaseya omukungu, nga balabirirwa Hananiya, omu ku baami ba kabaka abaduumizi.
12
Omuwendo gwonna ogw'abakulu b'ennyumba, abasajja ab'amaanyi era abazira gwali enkumi bbiri mu lukaaga.
13
Bano baakuliranga eggye ly'abaserikale emitwalo amakumi asatu mu kasanvu mu bitaano, abaasobolanga okulwana n'amaanyi amangi, okuyamba kabaka okulwanyisa abalabe.
14
Wuzziya yategekera eggye lyonna engabo, n'amafumu, n'enkuufiira n'ebizibaawo eby'ekyuma, n'emitego gy'obusaale, n'envuumuulo ezikasuka amayinja.
15
N'akola mu Yerusaalemu ebyuma ebyayiiyizibwa abasajja ab'amagezi, ebiteekebwa ku minaala ne ku nsonda z'ekigo okulasa obusaale, n'okukanyuga amayinja amanene. Ettutumu lye ne lituuka wala, n'aba wa maanyi olw'obuyambi obungi ennyo bwe yafuna.
16
Kyokka Kabaka Wuzziya bwe yafuna amaanyi, ne yeekuza, ne kimuviiramu okukola ebikyamu n'anyiiza Mukama Katonda we. Kubanga yayingira mu Ssinzizo lya Mukama okwotereza obubaane ku alutaari eyoterezebwako obubaane.
17
Azariya kabona ng'ali wamu ne bakabona ba Mukama kinaana, abasajja abazira, n'ayingira ng'amuvaako emabega.
18
Ne baziyiza Kabaka Wuzziya, nga bamugamba nti: “Wuzziya, si mulimu gwo okwotereza Mukama obubaane, wabula gwa bakabona ab'olulyo lwa Arooni, abaayawulibwa okubwotereza. Vva mu kifo ekitukuvu, kubanga osobezza. Era Mukama Katonda tajja kukuwa kitiibwa.”
19
Awo Wuzziya n'asunguwala nnyo. Yali ayimiridde awo mu Ssinzizo okuliraana n'alutaari eyoterezebwako obubaane, ng'akutte ekyoterezo kyabwo. Bwe yasunguwalira bakabona, ebigenge ne bimukwata mu kyenyi nga bakabona balaba.
20
Awo Azariya Ssaabakabona ne bakabona bonna, bwe bamutunuulira ne beetegereza ebigenge ebimukutte mu kyenyi, ne bamugoba ave mangu mu Ssinzizo. Era naye yennyini n'ayanguwa okufuluma kubanga Mukama yali amubonerezza.
21
Kabaka Wuzziya n'aba mugenge obulamu bwe bwonna. Era olw'okuba omugenge, n'abeeranga mu nnyumba eyiye yekka, era nga takkirizibwa kuyingira mu Ssinzizo. Mutabani we Yonatamu n'akulira olubiri, nga ye afuga abantu b'ensi eyo.
22
Ebirala Wuzziya bye yakola okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa Yisaaya omulanzi, mutabani wa Amozi.
23
Awo Wuzziya ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa kumpi ne we baaziikibwa sso si mu masiro ga bassekabaka, kubanga baagamba nti mugenge.
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36