bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Samuel 1
1 Samuel 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 2 →
1
Waaliwo omusajja omu ow'e Ramatayimu-Zofimu, mu nsozi za Efurayimu, erinnya lye nga ye Elukana, mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Eliwu, mutabani wa Toku, mutabani wa Zufi, Omwefurayimu.
2
Yalina abakazi babiri; omu nga ye Anna, owookubiri nga ye Peninna. Peninna yalina abaana, ye Anna nga talina.
3
Omusajja ono, buli mwaka yavanga mu kibuga kye n'ayambuka, asinze n'okutambirira Omukama w'Amagye mu Silo. Eyo waaliyo bakabona b'Omukama babiri, Kofuni ne Finekasi, bombi nga batabani ba Eli.
4
Olunaku bwe lwatuukanga Elukana okutambira, ng'awa Peninna mukazi we n'abaana be bonna abalenzi n'abawala emigabo gyabwe.
5
Anna yamuwanga omugabo gwa mirundi ebiri kubanga yali muganzi; kyokka Omukama yali tamuwadde kuzaala.
6
Naye muggya we yamusosonkerezanga amukalaze kubanga Omukama yali tamuwadde kuzaala.
7
Kino nga kibaawo buli mwaka; Anna buli lwe yatuukanga okwambuka mu Nnyumba y'Omukama, ng'amunyiiza bw'atyo; Anna n'akaabanga n'emmere n'emulema okulya.
8
Bba Elukana n'amugamba nti: “Anna, okaabira ki? Lwaki tolya mmere? Lwaki omutima gwo gukwennyise? Nze sikusingira baana ekkumi ab'obulenzi?”
9
Olumu bwe baamala okulya n'okunywa mu Silo, Anna n'asituka. Eli kabona yali atudde ku ntebe awo ku miryango gy'Ekiggwa ky'Omukama.
10
Anna yali anyolwa mu mutima, n'asaba ew'Omukama ng'akaaba nnyo.
11
Ne yeeyama ew'Omukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama w'Amagye, bw'oliba olabye n'otunuulira okubonaabona kw'omuzaana wo, n'ojjukira omuzaana wo, n'otomwerabira, n'omala omuwa omwana ow'obulenzi, ŋŋenda kumuwa Omukama ennaku zonna ez'obulamu bwe; akamwano tekaliyita mu mutwe gwe.”
12
Bwe yali yeegayirira Omukama, Eli nga yekkaanya akamwa ke.
13
Anna yali ayogera mu mutima gwe, emimwa gye gyokka nga gye gyenyeenya, naye ng'eddoboozi lye teriwulikika. Eli n'alowooza nti atamidde.
14
Eli kwe kumugamba nti: “Oneetamiiza kutuusa wa? Gira evviini ekuliko ekwamukeko.”
15
Anna n'ayanukula n'agamba nti: “Si ky'ekyo, ssebo, wabula mukazi wattu nkabiriddwa mu mwoyo. Sinywedde vviini oba ekitamiiza ekirala kyonna, wabula omutima gwange gwe mbikkulidde Omukama.
16
Omuzaana wo tomuyita mukazi mutamiivu; obwedda neegayirira wano n'okutuusa kati olw'obulumi bwange n'ennaku ebingi.”
17
Awo Eli n'amugamba nti: “Genda mu ddembe, ne Katonda wa Yisirayeli akuwe ky'omusabye.”
18
Ye n'amugamba nti: “Singa nno omuzaana wo asanze ekisa mu maaso go!” Omukazi n'agenda amakubo ge; n'alya ku mmere, era amaaso ge tegaddayo kulaga nnaku.
19
Bwe baazuukuka ku makya, ne basinza mu maaso g'Omukama, oluvannyuma ne baddayo ewaabwe mu Rama. Elukana ne yeebaka ne mukazi we Anna; Omukama n'amujjukira.
20
Ennaku bwe zeetooloola Anna n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi, n'amutuuma Samweli, ng'agamba nti: “Kubanga namusaba Omukama.”
21
Elukana bwe yayambuka n'ennyumba ye yonna atambirire Omukama ekitambiro ekya buli mwaka, n'okutuukiriza obweyamo,
22
Anna teyayambuka; naye n'agamba bba nti: “Omwana bw'aliva ku mabeere, ndimutwala ne mmwanjula mu maaso g'Omukama, asigalire ddala eyo ebbanga lyonna.”
23
Bba Elukana n'amugamba nti: “Kola nga bw'osiimye; sigala okutuusa omwana lw'onoomuggya ku mabeere; nsaba kimu kyokka, Omukama atuukirize ekigambo kye.” Omukazi n'asigala awaka, n'ayonsa omwana we okutuusa lwe yamuggya ku mabeere.
24
Omwana olwava ku mabeere, Anna n'ayambuka naye e Silo; yatwala ente ennume ya myaka esatu n'efa ssatu ez'obuwunga, n'endyanga y'evviini; n'amuleeta mu Nnyumba y'Omukama mu Silo. Omwana yali akyali muto.
25
Bwe baamala okutta ente ennume, omwana ne bamuleeta ewa Eli.
26
Anna n'agamba Eli nti: “Ssebo, mazima ggwe ng'oli mulamu, nze mukazi oli eyayimirira mu maaso go wano nga nsaba ew'Omukama.
27
Nali nsaba mwana ono; Omukama yampa kye namusaba.
28
Nange kyenvudde mmuwa Omukama; ennaku zonna ez'obulamu bwe aweereddwa ew'Omukama.” Ne basinziza Omukama mu kifo ekyo.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31